YouVersion Logo
Search Icon

ENTANDIKWA 45

45
Yosefu yeeyanjula eri baganda be
1Yosefu n'alemwa okwefugira mu maaso g'abaweereza be, n'alagira bonna bafulume bave w'ali. Ne watasigalawo n'omu nga Yosefu yeeyoleka eri baganda be.#Laba ne Bik 7:13 2N'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka, Abamisiri n'ab'omu lubiri lwa kabaka, ne bawulira. 3Yosefu n'agamba baganda be nti: “Nze Yosefu. Kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batya nnyo, okulaba nga bayimiridde mu maaso ge, ne batasobola kumuddamu.
4Yosefu n'agamba baganda be nti: “Musembere we ndi, mbeegayiridde!” N'agamba nti: “Nze Yosefu muganda wammwe, gwe mwatunda mu Misiri. 5Era kaakano temunakuwala, wadde okwesunguwalira olw'okuntunda muno, kubanga Katonda ye yansindika okubakulemberamu mmwe, okuwonya obulamu bw'abantu. 6Enjala yaakamala mu nsi emyaka ebiri, ng'ate wakyasigadde emyaka emirala etaano, gye batagenda kulimiramu, wadde okukunguliramu. 7Katonda yansindika okubakulemberamu mmwe, mulyoke mukuumibwe nga muli balamu ku nsi, n'okubawonya mmwe, ne bazzukulu bammwe mu ngeri eyeewuunyisa. 8Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda. Era yanfuula nga kitaawe wa kabaka w'ensi eno, alabirira ebibye byonna, era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri.
9“Mwanguwe, muddeeyo eri kitange, mumugambe nti omwana wo Yosefu agamba bw'ati nti: ‘Katonda yanfuula omufuzi wa Misiri yonna. Jjangu gye ndi awatali kulwa.#Laba ne Bik 7:14 10Onoobeeranga mu nsi y'e Goseni, obeerenga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, ne bazzukulu bo, n'endiga zo n'embuzi zo, ne byonna by'olina. 11Nnaakulabiriranga ng'oli eyo, ggwe n'ab'omu maka go, ne byonna by'olina, oleme kwavuwala, kubanga wakyasigaddeyo emyaka emirala etaano egy'enjala.’ 12Kaakano mmwe mwennyini mulaba, era ne muganda wange Benyamiini alaba, nga nze Yosefu yennyini ayogera nammwe. 13Mubuulire kitange ekitiibwa kyange kyonna kye nnina mu Misiri, era mumutegeeze ne byonna bye mulabye. Mwanguwe muleete kitange wano.”
14Awo Yosefu n'agwa muganda we Benyamiini mu kifuba, era n'akaaba amaziga. Benyamiini naye n'akaaba amaziga ng'amuwambaatidde. 15Yosefu n'anywegera baganda be bonna, nga bw'akaaba amaziga. Ebyo bwe byaggwa, baganda be ne banyumya naye.
16Ebigambo bwe byatuuka mu lubiri lwa kabaka nti baganda ba Yosefu bazze, kabaka n'abakungu be ne basanyuka nnyo. 17Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Gamba baganda bo nti: ‘Mutikke ebintu ku nsolo zammwe, muddeyo mu nsi ya Kanaani, 18muggyeyo kitammwe n'ab'omu maka gammwe, mujje gye ndi. Ndibawa ettaka erisinga obugimu mu Misiri, era munaalyanga ku birungi eby'omu nsi eno.’ 19Era balagire nti: ‘Mukole bwe muti: nga muva mu nsi ey'e Misiri, mugende n'amagaali kwe mulireetera abaana bammwe abato ne bakazi bammwe, mujje ne kitammwe. 20Era temweraliikirira kulekayo bintu byammwe, kubanga ebisinga obulungi mu nsi ey'e Misiri yonna, biriba byammwe.’”
21Batabani ba Yisirayeli ne bakola bwe batyo. Yosefu n'abawa amagaali nga kabaka bwe yalagira. N'abawa n'entanda ey'okuliira mu kkubo. 22Buli omu ku bonna, n'amuwa engoye ez'okukyusizaamu, naye Benyamiini n'amuwa ebintu bya ffeeza ebikumi bisatu, n'engoye ez'okukyusizaamu za mirundi etaano. 23N'aweereza kitaawe endogoyi kkumi, ezeetisse ebintu ebirungi eby'omu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi ezetisse eŋŋaano, emigaati, n'ebyokulya ebirala, kitaawe by'aliriira mu kkubo. 24N'asiibula baganda be, n'agamba nti: “Mwekuume, muleme okuyombera mu kkubo!”
25Ne bava mu Misiri, ne bajja eri Yakobo kitaabwe, mu nsi ya Kanaani. 26Ne bamubuulira nti: “Yosefu akyali mulamu, era ye afuga ensi yonna ey'e Misiri.” Yakobo n'awuniikirira, n'atabakkiriza. 27Naye bwe baamunyumiza ebyo byonna Yosefu bye yabagamba, era bwe yalaba amagaali Yosefu ge yaweereza okumutwaliramu, n'addamu amaanyi. 28Yisirayeli n'agamba nti: “Kimala, omwana wange akyali mulamu. Nja kugenda mmulabeko nga sinnafa.”

Currently Selected:

ENTANDIKWA 45: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in