YOWANNE 15
15
Yesu gwe muzabbibu gwennyini
1“Nze muzabbibu gwennyini, ate Kitange ye mulimi. 2Buli ttabi eriri mu Nze eritabala bibala aliggyawo, ate buli ttabi eribala ebibala, alisalira liryoke lyeyongere okubala ebibala. 3Kaakano mmwe muli balongoofu olw'ebigambo bye mbagambye. 4Mubeere mu nze nange mbeere mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe kityo nammwe, temuyinza kubala bibala, bwe mutabeera mu nze.
5“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Abeera mu nze, nange ne mbeera mu ye, abala ebibala bingi. Nze we ssiri, temuliiko kye muyinza kukola. 6Atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, era akala. Amatabi ng'ago, bagakuŋŋaanya ne bagasuula mu muliro, ne gookebwa.
7“Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange ne bibeera mu mmwe, musabenga kyonna kye mwagala, kinaabakolerwanga. 8Bwe mubala ebibala ebingi, ne mufuukira ddala bayigirizwa bange, Kitange aweebwa ekitiibwa. 9Nga Kitange bw'anjagala, nange bwe mbaagala mmwe. Mubeerenga mu kwagala kwange. 10Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange, nga nze bwe nkwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe.
11“Ebyo mbibagambye, essanyu lye nnina liryoke libeere ne mu mmwe, era essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 12Ekiragiro kyange kye kino, mwagalanenga, nga nze bwe nabaagala mmwe.#Laba ne Yow 13:34; 15:17; 1 Yow 3:23; 2 Yow 5 13Tewali alina kwagala okusinga okw'oyo awaayo obulamu bwe olw'abo b'ayagala.
14“Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira. 15Sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya mukama we by'akola. Naye mbayita mikwano gyange, kubanga byonna bye nawulira eri Kitange, mbibategeezezza mmwe.
16“Si mmwe mwannonda nze, wabula nze nabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, era ebibala byammwe biremenga kuggwaawo. Era buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, anaakibawanga. 17Kye mbalagira kye kino, mwagalanenga.
Obukyayi bw'ensi
18“Ensi bw'ebakyawanga mmwe, mumanye nga yasooka kukyawa nze. 19Singa mubadde ba nsi, ensi yandibaagadde mmwe ng'abaayo. Naye kubanga nze nabalonda, temukyali ba nsi. Ensi kyeva ebakyawa. 20Mujjukire ekigambo kye nabagamba nti omuddu tasinga mukama we. Oba nga nze banjigganya, nammwe banaabayigganyanga. Oba nga baakwata ebigambo byange, n'ebyammwe banaabikwatanga.#Laba ne Mat 10:24; Luk 6:40; Yow 13:16 21Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw'okubeera nze, kubanga eyantuma tebamumanyi.
22“Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi. Naye kaakano tewali kibaggyako musango gwa kibi kyabwe. 23Ankyawa, akyawa ne Kitange. 24Singa saabakoleramu bikolwa ebitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi. Naye kaakano babirabye, ne bankyawa nze, ne Kitange. 25Naye ekyawandiikibwa mu Mateeka gaabwe nti: ‘Bankyayira bwereere’, kiteekwa okutuukirira.#Laba ne Zab 35:19; 69:4
26“Bwe ndigenda eri Kitange, ndibatumira mmwe Omubeezi, ye Mwoyo amanyisa abantu amazima, ava mu Kitange. Ye bw'alijja, aliba mujulirwa wange. 27Era nammwe muli bajulirwa bange, kubanga mubadde nange okuva olubereberye.
Currently Selected:
YOWANNE 15: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: