YOWANNE 16
16
1“Ebyo mbibabuulidde, muleme kuterebuka. 2Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro. Era ekiseera kirituuka, buli abatta n'alowooza nti aweereza Katonda. 3Ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamumanyi, era nange tebammanyi. 4Naye ebyo mbibabuulidde, ekiseera kyabyo bwe kirituuka, mulyoke mujjukire nga nze nabibabuulira.
Omulimu gwa Mwoyo Mutuukirivu
“Mu kusooka, ebyo saabibabuulira, kubanga nali nkyali wamu nammwe. 5Naye kaakano ŋŋenda eri oyo eyantuma, era ku mmwe tewali ambuuza nti: ‘Ogenda wa?’ 6Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku. 7Naye mbategeeza amazima nti kibagasa nze okugenda, kubanga bwe sigenda, Omubeezi talijja gye muli. Kyokka bwe ŋŋenda, ndimubatumira. 8Ye bw'alijja, alirumiriza abantu b'ensi nti bawubwa ku bikwata ku kibi, ne ku butuukirivu, ne ku kusala omusango; 9ku bikwata ku kibi, kubanga tebanzikiriza, 10ku bikwata ku butuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, era munaaba temukyandaba; 11ku bikwata ku kusala omusango, kubanga omufuzi w'ensi eno asaliddwa omusango.
12“Nkyalina bingi eby'okubabuulira, naye kaakano temubisobola. 13Naye Mwoyo amanyisa abantu amazima bw'alijja, anaabaluŋŋamyanga mu by'amazima byonna, kubanga taayogerenga ku bubwe, wabula anaayogeranga by'awulira, era anaababuuliranga ebigenda okujja. 14Oyo anangulumizanga, kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe. 15Byonna byonna Kitange by'alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe.
Okunakuwala n'okusanyuka
16“Mu bbanga ttono munaaba nga temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono, ne mundaba.”
17Abamu ku bayigirizwa be ne bagambagana nti: “Kiki ekyo ky'atugamba nti: ‘Mu bbanga ttono munaaba nga temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono ne mundaba,’ era nti: ‘Ŋŋenda eri Kitange?’ ” 18Ne beebuuza nti: “Kiki ekyo ky'agamba nti ‘Ebbanga ttono?’ Tetumanyi ky'agamba.”
19Yesu n'amanya nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti: “Kino kye mwebuuzaganyaako, kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono ne mundaba? 20Mazima ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka. Mmwe mulinakuwala, naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu.
21“Omukazi ng'azaala, aba mu bulumi bungi, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw'amala okuzaalibwa, omukazi nga takyajjukira bulumi olw'essanyu ery'okuzaala omuntu ku nsi. 22Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndibalaba, nate emitima gyammwe ne gisanyuka, era essanyu lyammwe tewaliba alibaggyako.
23“Ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Mazima ddala mbagamba nti Kitange alibawa buli kye mulisaba mu linnya lyange. 24Okutuusa kati mubadde temusaba mu linnya lyange. Musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.
Okuwangula ensi
25“Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka, nga sikyayogera nammwe mu ngero, wabula nga mbabuulira lwatu ebifa ku Kitange. 26Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange. Sso sibagamba nti ndibasabira eri Kitange. 27Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagala era mukkirizza nga nava eri Katonda. 28Nava eri Kitange ne nzija ku nsi. Kaakano ndeka ensi, ŋŋenda eri Kitange.”
29Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Kaakano oyogera lwatu, toyogera mu ngero. 30Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, era nga tekyetaagisa muntu n'omu kukubuuza kibuuzo. Kyetuva tukkiriza nga wava wa Katonda.”
31Yesu n'abaddamu nti: “Kaakano mukkiriza? 32Laba, ekiseera kijja, era kimaze n'okutuuka, musaasaane, buli muntu adde ewuwe, mundeke bwomu. Sso siri bwomu, kubanga Kitange ali wamu nange. 33Ebyo mbibabuulidde, mulyoke mube n'emirembe mu nze. Ku nsi mujja kubonaabona, naye mugume, nze mpangudde ensi.”
Currently Selected:
YOWANNE 16: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: