YOWANNE Ennyanjula
Ennyanjula
Amawulire Amalungi aga Yesu Kristo nga bwe gaawandiikibwa Yowanne, galaga Yesu nga ye Kigambo wa Katonda ow'olubeerera. Ng'ekitabo kino kyennyini bwe kigamba, Amawulire Amalungi gano gaawandiikibwa okuyamba abagasoma bakkirize nga Yesu ye Mulokozi eyasuubizibwa abantu, era Omwana wa Katonda, era mu kumukkiriza balyoke bafune obulamu (20:31).
Ekitundu ekisooka eky'ekitabo kino, olumala ennyanjula eraga nga Yesu ye Kigambo wa Katonda eyafuuka omuntu, kinyumya ebyewuunyo ebitali bimu ebikakasa nga ddala Yesu ye Mulokozi Omusuubize, era nga Mwana wa Katonda. Ebyo biddirirwa ebigambo ebinnyonnyola ekyo ekiragirwa mu byewuunyo ebyo. Ekitundu kino kiraga ng'abantu abamu bakkiriza Yesu ne bafuuka abayigirizwa be, kyokka ng'abalala baamuwakanya, ne bagaana okumukkiriza.
Emitwe 13-17 gittottola akafubo akaaliwo wakati wa Yesu n'abayigirizwa be mu kiro abalabe be kye baamukwatiramu, n'ebigambo ebiteekateeka era ebigumya abayigirizwa abo ku lunaku olwakulembera okukomererwa kwe ku musaalaba.
Emitwe egisembayo ginyumya nga Yesu bwe yakwatibwa n'asalirwa ogw'okufa, n'akomererwa ku musaalaba kwe yafiira, ate oluvannyuma n'azuukira, era n'alabikira abayigirizwa be ng'amaze okuzuukira.
Ebigambo ebinyumya omukazi eyakwatibwa mu bwenzi (8:1-11), bisibiddwa mu bukomera [ ] kubanga ebiwandiiko bingi, omuli n'ebimu ku ebyo ebyasooka okuvvuunulwamu ekitabo kino, tebibiteekamu, ate n'ebimu bibiteeka mu kifo kirala.
Yowanne aggumiza ekirabo eky'obulamu obutaggwaawo kye tufunira mu Kristo, ng'era ekirabo ekyo tukifunirawo kaakano kasita tukkiriza nti Yesu lye kkubo, ge mazima, era bwe bulamu. Ekyewuunyisa ku Yowanne, kwe kuddira ebintu ebisangibwa mu bulamu obwabulijjo obw'omubiri, okugeza amazzi, omugaati, ekitangaala, omusumba n'endiga, omulimi n'ebirime era n'ebibala, n'abikozesa okutulaga ebintu ebikulu eby'obulamu obw'omwoyo.
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Omuwandiisi by'asookerako 1:1-18
Yowanne Omubatiza n'abayigirizwa ba Yesu abaasooka 1:19-51
Omulimu gwa Yesu ogw'olwatu 2:1–12:50
Ennaku za Yesu ezaasembayo mu Yerusaalemu n'emiriraano 13:1–19:21
Okuzuukira kwa Yesu n'okulabikira abantu be 20:1-31
Ebifundikira: Yesu era alabikira abayigirizwa be e Galilaaya 21:1-25
Currently Selected:
YOWANNE Ennyanjula: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.