LUKKA 10
10
Yesu atuma abayigirizwa nsanvu mu babiri
1Ebyo bwe byaggwa, Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu mu babiri, n'abatuma babiri babiri okumukulemberamu mu buli kibuga ne mu buli kifo ye yennyini gye yali anaatera okugenda. 2N'abagamba nti: “Eby'okukungula bingi, naye abakozi batono. Kale musabe nnannyini byakukungula, asindike abakozi mu nnimiro ye.#Laba ne Mat 9:37-38 3Mugende. Mbatuma nga muli ng'endiga ento mu misege.#Laba ne Mat 10:16 4Temugenda na nsawo eterekebwamu nsimbi, newaakubadde ensawo ng'ey'abasabiriza, newaakubadde engatto. Era temulwa mu kkubo nga mulamusa abantu.#Laba ne Mat 10:7-14; Mak 6:8-11; Luk 9:3-5 5Buli nnyumba gye muyingirangamu, musookenga kugamba nti: ‘Emirembe gibe n'abantu b'omu nnyumba eno.’ 6Singa eribaamu omuntu asaanira okufuna emirembe, emirembe gye mubaagalizza girisigala naye. Bw'atalibaamu, giridda gye muli. 7Mu nnyumba eyo, mwe mubanga musula. Mulyenga era munywenga bye babawa, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temukyusanga kisulo.#Laba ne 1 Kor 9:14; 1 Tim 5:18 8Bwe muyingiranga mu kibuga ne babaaniriza, mulyenga emmere gye babawa. 9Muwonyanga abalwadde abali mu kibuga ekyo, era mugambanga abantu baamu nti: ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’ 10Naye bwe muyingiranga mu kibuga ne batabaaniriza, muyimiriranga mu nguudo zaakyo ne mugamba nti:#Laba ne Bik 13:51 11‘N'enfuufu ey'omu kibuga kyammwe etukutte ku bigere, tugibakunkumulira mmwe. Naye mumanye kino nti Obwakabaka bwa Katonda busembedde.’ 12Mbagamba mmwe nti: ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Sodoma kiriddirwamu okusinga ekibuga ekyo.#Laba ne Nta 19:24-28; Mat 11:24; 10:15
Ebibuga ebitalina kukkiriza
(Laba ne Mat 11:20-24)
13“Oli wa kubonaabona ggwe Koraziini! Ennaku za kukulaba ggwe Betusayida! Ebyamagero ebyakolerwa mu mmwe singa byali bikoleddwa mu Tiiro ne mu Sidoni, abantu baayo bandibadde baayambala dda ebikutiya, ne beesiiga n'evvu, okulaga nti beenenyezza.#Laba ne Yis 23:1-18; Ezek 26:1–28:26; Yol 3:4-8; Am 1:9-10 Zek 9:2-4 14Ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Tiiro ne Sidoni biribonerezebwa katono okusinga mmwe. 15Ate ggwe Kafarunawumu, oligulumira okutuuka mu bire? Nedda, ogenda kussibwa wansi emagombe.#Laba ne Yis 14:13-15
16“Awulira mmwe, ng'awulidde nze. Era anyooma mmwe, ng'anyoomye nze. Ate anyooma nze, ng'anyoomye oyo eyantuma.”#Laba ne Mat 10:40; Mak 9:37; Luk 9:48; Yow 13:20
Ensanvu mu ababiri bakomawo
17Awo abayigirizwa ensanvu mu ababiri ne bakomawo nga basanyuka, ne bagamba nti: “Mukama waffe, n'emyoyo emibi gyatuwuliranga nga tukozesezza erinnya lyo.”
18Yesu n'abagamba nti: “Nalaba Sitaani bw'agwa, ng'ali ng'okumyansa okuva mu ggulu. 19Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez'obusagwa, era mbawadde okuwangula amaanyi gonna ag'omulabe. Tewali kintu na kimu kiribakolako kabi.#Laba ne Zab 91:13 20Naye muleme kusanyuka lwa kuba nti emyoyo emibi gibawulira, wabula musanyuke kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”
Okusanyuka kwa Yesu
(Laba ne Mat 11:25-27; 13:16-17)
21Mu kiseera ekyo kyennyini, Mwoyo Mutuukirivu n'ajjuza Yesu essanyu, Yesu n'agamba nti: “Nkutendereza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abategeera, n'obimanyisa abaana abato. Weewaawo Kitange, kubanga bw'otyo bwe wayagala.
22“Kitange byonna yabimpa. Ate nze Mwana tewali ammanyi okuggyako Kitange. Era tewali amanyi Kitange okuggyako nze Mwana, n'oyo gwe mba njagadde amanye Kitange.”#Laba ne Yow 3:35; 10:15
23Awo Yesu bwe yasigala n'abayigirizwa be bokka, n'abakyukira n'agamba nti: “Muli ba mukisa okulaba bino bye mulaba! 24Mbagamba nti abalanzi bangi ne bakabaka beegomba okulaba bye mulaba, ne batabiraba. n'okuwulira bye muwulira, ne batabiwulira.”
Omusamariya omulungi
25Awo omunnyonnyozi w'amateeka n'asituka, n'agamba Yesu, ng'amukema, nti: “Muyigiriza, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”#Laba ne Mat 22:35-40; Mak 12:28-34 26Yesu n'amugamba nti: “Kiki ekyawandiikibwa mu mateeka ga Katonda? Osoma otya?” 27N'addamu nti: “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna. Era yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.”#Laba ne Leev 19:18; Ma 6:5 28Yesu n'amugamba nti: “Ozzeemu bulungi. Kolanga bw'otyo, olifuna obulamu.”#Laba ne Leev 18:5 29Kyokka omunnyonnyozi w'amateeka olw'okwagala okulaga nti ky'abuuzizza kisaanidde, n'agamba Yesu nti: “Muntu munnange oyo, ye ani?”
30Yesu n'addamu nti: “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemu, ng'aserengeta e Yeriko, n'agwa mu batemu, ne bamwambulamu engoye, ne bamukuba, ne bamuleka ng'abulako katono okufa, ne bagenda. 31Ne wabaawo kabona, era naye eyaserengeta mu kkubo eryo, n'amulaba, n'amwebalama, n'ayitawo. 32N'Omuleevi yakola bw'atyo. Bwe yatuuka mu kifo ekyo n'amulaba, n'amwebalama, n'ayitawo. 33Naye Omusamariya eyali ku lugendo lwe, n'atuuka w'ali. Bwe yamulaba, n'amukwatirwa ekisa,#Laba ne 2 Byom 28:15 34n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu, ng'amaze okubifukamu omuzigo n'omwenge ogw'emizabbibu, n'amussa ku nsolo ye eyeebagalwa, n'amutwala mu nnyumba y'abagenyi, n'amujjanjaba. 35Ku lunaku olwaddirira, n'aggyayo denaari#10:35 denaari: Laba ebinnyonnyola ku 7:41. bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba, n'amugamba nti: ‘Mujjanjabe. Ssente zonna z'olikozesa nga zisukka ku zino, ndizikusasula amadda.’
36“Ani ku abo abasatu, gw'olowooza nti ye yali munne w'oyo eyagwa mu batemu?” 37Omunnyonnyozi w'amateeka n'addamu nti: “Oyo eyamukwatirwa ekisa.” Awo Yesu n'amugamba nti: “Naawe genda okolenga bw'otyo.”
Yesu akyalira Marita ne Mariya
38Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali mu lugendo lwabwe, Yesu n'atuuka mu kyalo ekimu. Omukazi erinnya lye Marita n'amukyaza mu nnyumba ye.#Laba ne Yow 11:1 39Marita yalina muganda we ayitibwa Mariya. Mariya oyo n'atuula kumpi n'ebigere bya Mukama waffe, ng'awuliriza ekigambo kye. 40Marita yali atawuka mu mirimu mingi, ng'aweereza. Marita n'agenda awali Yesu n'agamba nti: “Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? Kale mugambeko annyambe.” 41Mukama waffe n'amuddamu nti: “Marita, Marita, weeraliikirira era otawaana mu bingi, 42naye ekyetaagibwa kiri kimu. Mariya nno ye alonze omugabo omulungi ogutalimuggyibwako.”
Currently Selected:
LUKKA 10: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.