LUKKA 5
5
Yesu ayita abayigirizwa ababereberye
(Laba ne Mat 4:18-22; Mak 1:16-20)
1Lwali lumu, Yesu bwe yali ayimiridde ku lubalama lw'ennyanja Gennesareeti, abantu bangi ne bajja nga basindikagana, batuuke w'ali okuwulira ekigambo kya Katonda.#Laba ne Mat 13:1-2; Mak 3:9-10; 4:1 2Yesu n'alaba amaato abiri nga gali awo ku lubalama, ng'abavubi bagavuddemu era nga booza obutimba bwabwe. 3Awo n'asaabala mu limu ku maato ago, eryali erya Simooni, n'asaba Simooni alisembezeeyo katono okuva ku lukalu, n'ayigiriza abantu ng'atudde mu lyo.
4Bwe yamaliriza okwogera, n'agamba Simooni nti: “Eryato lyongereyo ebuziba, mutege obutimba bwammwe, mukwase ebyennyanja.”
5Simooni n'amugamba nti: “Mukama wange, ekiro kyonna twateganye ne tutakwasa kantu. Naye olw'okubanga olagidde, obutimba ka mbutege.”#Laba ne Yow 21:3
6Awo bwe baabutega, ne bakwasa ebyennyanja bingi nnyo, era obutimba bwabwe ne buba kumpi okukutuka.#Laba ne Yow 21:6 7Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato eddala, bajje babayambe. Ne bajja, ne bajjuza amaato gombi ebyennyanja, ne gaba kumpi okusaanawo.
8Simooni Peetero bwe yalaba kino, n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, n'agamba nti: “Ndeka Mukama wange, kubanga nze ndi muntu mwonoonyi!”
9Peetero yayogera bw'atyo kubanga ye ne bonna be yali nabo, baali bakwatiddwa entiisa olw'obungi bw'ebyennyanja bye baakwasa. 10Mu ngeri ye emu Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo, era banne ba Simooni, ne bakwatibwa entiisa. Awo Yesu n'agamba Simooni nti: “Totya, okuva kati, ojja kuba muvubi wa bantu.”
11Bwe baakomyawo amaato gaabwe ku lukalu, ne baleka byonna, ne bagenda ne Yesu.
Yesu awonya omugenge
(Laba ne Mat 8:1-4; Mak 1:40-45)
12Lwali lumu, Yesu bwe yali mu kibuga ekimu, ne wajjawo omusajja ajjudde ebigenge. Bwe yalaba Yesu, n'afukamira, n'amwegayirira nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.”
13Yesu n'agolola omukono n'amukwatako, n'agamba nti: “Njagala, wona.” Amangwago ebigenge ne bimuwonako. 14Yesu n'amugaana okubuulirako omuntu n'omu, wabula n'amulagira nti: “Genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.”#Laba ne Leev 14:1-32
15Kyokka ettutumu lya Yesu ne lyeyongera bweyongezi okubuna, era abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaananga okumuwuliriza, era n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe. 16Wabula emirundi egimu Yesu yavangawo, n'alaga mu bifo ebitaalimu bantu, n'asinza Katonda.
Yesu awonya omulwadde w'olukonvuba
(Laba ne Mat 9:1-8; Mak 2:1-12)
17Awo, ku lunaku olumu, Yesu bwe yali ng'ayigiriza, waaliwo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka nga batudde awo. Baali bavudde mu byalo byonna eby'e Galilaaya n'eby'e Buyudaaya era ne mu kibuga Yerusaalemu. Amaanyi ga Katonda gaali ne Yesu, ne gamusobozesa okuwonya abalwadde. 18Awo ne wajjawo abasajja abaaleeta omuntu akonvubye. Baamuleetera ku katanda, ne bagezaako okumuyingiza n'okumuteeka awali Yesu. 19Olw'obungi bw'abantu, ne balemwa okuzuula we bamuyisa okumuyingiza. Ne balinnya waggulu ku kasolya k'ennyumba, ne bakasereekululako ekitundu, ne bamuyisa mu mwagaanya ogwo ng'ali ku katanda, ne bamussa mu bantu wakati awali Yesu. 20Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n'agamba nti: “Mwana wange, ebibi byo mbikusonyiye.”
21Awo abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne batandika okwebuuzaganya nti: “Ono ye ani? Yeeyita Katonda? Ggwe kale ani alina obuyinza okusonyiwa ebibi, okuggyako Katonda yekka?”
22Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Mwebuuza ki mu mitima gyammwe? 23Ekisingako obwangu kye kiruwa: okugamba nti ‘Ebibi byo mbikusonyiye,’ oba nti: ‘Yimirira, otambule?’ 24Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti: “Yimirira, weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.”
25Amangwago omusajja n'ayimirira, bonna nga balaba, n'asitula akatanda kw'abadde agalamidde, n'addayo ewuwe ng'agulumiza Katonda. 26Bonna ne beewuunya, ne bagulumiza Katonda, era entiisa n'ebakwata, ne bagamba nti: “Olwaleero tulabye ebyewuunyisa!”
Yesu ayita Leevi
(Laba ne Mat 9:9-13; Mak 2:13-17)
27Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'ava mu kifo ekyo, n'alaba omusolooza w'omusolo ayitibwa Leevi, ng'atudde we basolooleza omusolo. Yesu n'amugamba nti: “Jjangu, oyitenga nange.” 28Leevi n'asituka, n'aleka awo byonna, n'amugoberera. 29Era mu maka ge, n'afumbira Yesu embaga nnene. Abasolooza b'omusolo bangi nnyo era n'abantu abalala ne batuula ne balya wamu nabo. 30Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne beemulugunya nga bagamba abayigirizwa ba Yesu nti: “Lwaki muliira era ne munywera wamu n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?”#Laba ne Luk 15:1-2
31Yesu n'abaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. 32Abalungi si be najja okuyita beenenye, wabula aboonoonyi.”
Okusiiba
(Laba ne Mat 9:14-17; Mak 2:18-22)
33Awo abantu abamu ne bagamba Yesu nti: “Abayigirizwa ba Yowanne basiiba emirundi mingi era ne beegayirira Katonda, n'abayigirizwa b'Abafarisaayo nabo bwe bakola, naye ababo balya era banywa.”
34Yesu n'abagamba nti: “Abayite ku mbaga y'obugole temuyinza kubagaana kulya, ng'awasizza omugole akyali nabo. 35Naye ekiseera kijja kutuuka, awasizza omugole abaggyibweko. Olwo nno balitandika okusiiba.”
36Era n'abagerera olugero nti: “Omuntu tayuza kiwero mu lugoye luggya n'akitunga mu lugoye lukadde. Singa akola kino, olugoye oluggya alussaamu ekituli, ate olugoye olukadde ne lutasaaniramu kiwero kiggya. 37Era omwenge ogw'emizabbibu omusu tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. 38Wabula omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya. 39N'ekirala, omuntu amanyidde okunywa omwenge ogw'emizabbibu omukulu, tayagala musu, kubanga agamba nti: ‘Omukulu gwe gusinga okuwooma.’ ”
Currently Selected:
LUKKA 5: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: