LUKKA 6
6
Omwana w'Omuntu ne Sabbaato
(Laba ne Mat 12:1-8; Mak 2:23-28)
1Awo olwatuuka, ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu bwe yali ng'ayita mu nnimiro z'eŋŋaano, abayigirizwa be ne banoga ku birimba, ne babikunya mu bibatu byabwe, ne balya.#Laba ne Ma 23:25 2Abafarisaayo abamu ne bagamba nti: “Lwaki mukola ekitakkirizibwa okukolebwa ku Sabbaato?”
3Awo Yesu n'abaddamu nti: “Temusomangako Dawudi kye yakola, ye ne be yali nabo bwe baalumwa enjala?#Laba ne 1 Sam 21:1-6 4Yayingira mu Nnyumba ya Katonda, n'atoola n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda, era n'awaako n'abaali naye, sso nga kyali tekikkirizibwa emigaati egyo okuliibwako abantu abalala, wabula bakabona bokka.”#Laba ne Leev 24:9
5Awo Yesu n'agamba Abafarisaayo nti: “Omwana w'Omuntu alina obuyinza okusalawo ekisaanye okukolebwa ku Sabbaato.”
Yesu awonya omuntu ow'omukono ogukaze
(Laba ne Mat 12:9-14; Mak 3:1-6)
6Ku Sabbaato endala, Yesu n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'ayigiriza. Mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu ow'omukono ogwa ddyo ogukaze. 7Abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne beekaliriza Yesu amaaso, balabe oba ng'era anaawonya ku Sabbaato, balyoke bafune ensonga kwe banaasinziira okumuwawaabira. 8Yesu yamanya ebirowoozo byabwe, n'agamba omuntu ow'omukono ogukaze nti: “Situka oyimirire bonna we bayinza okukulabira.” N'asituka n'ayimirira awo. 9Yesu n'abagamba nti: “Mbabuuza mmwe: kiki ekikkirizibwa ku Sabbaato? Kukola bulungi, oba bubi? Kuwonya bulamu, oba kubuzikiriza?”
10Awo bonna n'abeebunguluza amaaso, n'agamba omuntu oyo nti: “Omukono gwo gugolole.” N'agugolola, ne guwonera ddala. 11Naye abalabe ba Yesu ne bajjula obusungu, ne beebuuzaganya kye banaakola Yesu.
Yesu alonda abatume ekkumi n'ababiri
(Laba ne Mat 10:1-4; Mak 3:13-19)
12Awo mu nnaku ezo, Yesu n'alaga ku lusozi okusinza Katonda, n'amala ekiro kyonna ng'asinza. 13Obudde bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be. Mu bo n'alondamu kkumi na babiri, n'abafuula abatume, 14be bano: Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya muganda wa Simooni oyo, ne Yakobo, ne Yowanne, ne Filipo, ne Barutolomaayo, 15ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo mutabani wa Alufaayo, ne Simooni ayitibwa Omulwanirizi w'eddembe ly'eggwanga lye, 16ne Yuda muganda wa Yakobo, ne Yuda Yisikaryoti, eyamulyamu olukwe.
Okuyigiriza n'okuwonya abalwadde
(Laba ne Mat 4:23-25)
17Awo Yesu n'aserengeta nabo, n'ayimirira mu kifo eky'omuseetwe, awaali wakuŋŋaanidde abayigirizwa be abangi n'abantu abalala bangi nnyo, abaava mu Buyudaaya bwonna ne mu kibuga Yerusaalemu, era ne mu kitundu eky'olubalama lw'ennyanja, ekirimu ebibuga Tiiro ne Sidoni. 18Abantu bano bonna bajja okumuwuliriza era n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Era abo abaali bateganyizibwa emyoyo emibi, ne bawonyezebwa. 19Abantu bonna baagezangako okumukwatako, kubanga obuyinza bwavanga mu ye ne buwonya bonna.
Essanyu n'ennaku
(Laba ne Mat 5:1-12)
20Awo Yesu n'atunuulira abayigirizwa be, n'agamba nti: “Muli ba mukisa abaavu, kubanga Obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
21“Muli ba mukisa abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkusibwa.
“Muli ba mukisa abakaaba kaakano, kubanga mulisanyuka.
22“Muli ba mukisa abantu bwe banaabakyawanga, bwe banaabagobaganyanga, bwe banaabavumanga era bwe banaabayitanga ababi, nga babalanga Omwana w'Omuntu.#Laba ne 1 Peet 4:14 23Musanyuke nga babayisizza bwe batyo, era mubuuke olw'essanyu, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. Bwe batyo ne bajjajjaabwe bwe baayisa abalanzi.#Laba ne 2 Byom 36:16; Bik 7:52
24“Naye mmwe abagagga, muli ba kubonaabona, kubanga essanyu lyammwe mumaze okulifuna.
25“Mmwe kaakano abakkuse, muli ba kubonaabona, kubanga mulirumwa enjala. Mwe kaakano abaseka, muli ba kubonaabona kubanga mulinakuwala era mulikaaba.
26“Muli ba kubonaabona mmwe, abantu bwe banaabatendanga, kubanga ne bajjajjaabwe bwe batyo bwe baatendanga abalanzi ab'obulimba.
Okwagala abalabe
(Laba ne Mat 5:38-48; 7:12a)
27“Naye abampuliriza mbagamba nti: mwagalenga abalabe bammwe, mukolerenga bulungi ababakyawa. 28Musabirenga omukisa abo ababakolimira. Ababavuma mubasabirenga eri Katonda. 29Omuntu bw'akukubanga ku ttama, omukyusizanga n'eddala. Era omuntu bw'akuggyangako ekkooti yo, omulekeranga n'ekkanzu. 30Buli abangako ky'akusaba omuwanga, n'oyo akuggyangako ebibyo, tomusabanga kubikuddiza. 31Mukolerenga abalala ebyo nammwe bye mwagala babakolere.#Laba ne Mat 7:12
32“Singa mwagala abo bokka ababaagala mmwe, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo baagala abo ababaagala! 33Era singa mukolera bulungi abo bokka ababakolera mmwe ebirungi, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo kye bakola! 34Era singa muwola abo bokka be musuubira okubasasula, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo bawola boonoonyi bannaabwe, nga ba kusasulwa kyonna kye bawoze. 35Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe, era mubakolerenga ebirungi. Muwolenga nga temusuubira kusasulwa. Olwo empeera yammwe eriba nnene, era muliba baana ba Katonda Atenkanika, kubanga ye wa kisa eri abatasiima n'ababi. 36Mube ba kisa nga Kitammwe bw'ali ow'ekisa.
Okusalira abalala omusango
(Laba ne Mat 7:1-5)
37“Temusalanga musango, nammwe tegulibasalirwa. Temusaliranga balala musango kubasinga, nammwe tegulibasalirwa kubasinga. Musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa. 38Mugabenga, nammwe muligabirwa. Bye mulifuna biribapimirwa mu kipimo ekituufu ekikkatiddwa, ne kisuukundibwa, ne kijjulira ddala ne kibooga. Ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, era kye kirikozesebwa okupimira mmwe.”
39Awo Yesu n'abagerera olugero, nti: “Muzibe takulembera muzibe munne. Singa amukulembera, bombi bagwa mu bunnya.#Laba ne Mat 15:14 40Ayigirizibwa tasinga amuyigiriza, wabula buli ayigirizibwa bw'amala okuyigirizibwa obulungi, aba ng'oyo amuyigirizza.#Laba ne Mat 10:24-25; Yow 13:16; 15:20
41“Lwaki otunuulira akasubi akali ku liiso lya muganda wo, kyokka n'otofa ku kisiki ekiri ku liryo? 42Oyinza otya okugamba muganda wo nti: ‘Muganda wange, leka nzigye akasubi ku liiso lyo’, sso nga ggwe wennyini tofa ku kisiki ekiri ku liryo? Mukuusa ggwe, sooka oggye ekisiki ku liiso eriryo, olwo olyoke osobole okulaba obulungi, n'okuggya akasubi ku liiso lya muganda wo.
Omuti n'ebibala byagwo
(Laba ne Mat 7:16-20; 12:33-35)
43“Omuti omulungi tegubala bibala bibi, n'omuti omubi tegubala bibala birungi. 44Buli muti gumanyirwa ku bibala byagwo. Ebibala by'omutiini tebabinoga ku busaana, n'ebibala by'emizabbibu tebabinoga ku kawule.#Laba ne Mat 12:33
45“Omuntu omulungi, aggya ku birungi ebiri mu mutima gwe okukola ebirungi, n'omuntu omubi, aggya ku bibi ebiri mu mutima gwe, okukola ebibi. Ebijjula mu mutima gw'omuntu, akamwa ke bye koogera.#Laba ne Mat 12:34
Abazimbi ababiri
(Laba ne Mat 7:24-27)
46“Lwaki mumpita nti: ‘Mukama waffe, Mukama waffe’, ate ne mutakola bye mbagamba? 47Buli ajja gye ndi, n'awuliriza ebigambo byange, era n'abikolerako, ka mbalage nga bw'afaanana. 48Afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba ng'asimye omusingi, ne gukka nnyo wansi okutuuka ku lwazi. Omugga bwe gwajjula ne gwalaala, ne gukuluggukira awali ennyumba eyo, kyokka ne gutasobola kuginyeenya, kubanga yazimbibwa bulungi. 49Wabula omuntu awulira ebigambo byange n'atabikolerako, afaanana ng'omuntu eyazimba ku ttaka eryokungulu nga tasimye musingi. Omugga bwe gwakuluggukira w'eri, n'egwa amangwago, n'emenyekerawo ddala.”
Currently Selected:
LUKKA 6: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: