LUKKA 7:7-9
LUKKA 7:7-9 LB03
era kye navudde ndowooza nti sisaanira kujja gy'oli nze nzennyini. Wabula yogera bwogezi kigambo, omuddu wange anaawona. Nange ndi muntu alina bakama bange abanfuga, era nga nnina abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba ono nti: ‘Genda,’ agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kola kino,’ akikola.” Yesu bwe yawulira ebyo, n'amwewuunya. N'akyukira ekibiina ky'abantu ekyali kimugoberera, n'agamba nti: “Mbagamba nti sisanganga alina kukkiriza nga kuno, wadde mu Bayisirayeli!”