LUKKA 7
7
Yesu awonya omuddu w'omuserikale Omurooma
(Laba ne Mat 8:5-13)
1Yesu bwe yamaliriza ebigambo byonna bye yayagala okutegeeza abamuwuliriza, n'ayingira mu kibuga Kafarunawumu. 2Waaliwo Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale, eyalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo. Omuddu oyo yali mulwadde, ng'ali kumpi okufa. 3Omukulu w'ekitongole ky'abaserikale bwe yawulira ebifa ku Yesu, n'amutumira abamu ku Bayudaaya abakulu, ng'amusaba ajje awonye omuddu we. 4Nabo bwe baatuuka awali Yesu, ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti: “Omusajja oyo asaanira omukolere ky'akusaba, 5kubanga ayagala abantu b'eggwanga lyaffe, era yatuzimbira ekkuŋŋaaniro.”
6Awo Yesu n'agenda nabo. Bwe yali ng'ali kumpi okutuuka ku nnyumba, omukulu w'ekitongole oyo n'atuma banne okumugamba nti: “Ssebo, leka kweteganya, kubanga sisaanira ggwe okuyingira mu nnyumba yange, 7era kye navudde ndowooza nti sisaanira kujja gy'oli nze nzennyini. Wabula yogera bwogezi kigambo, omuddu wange anaawona. 8Nange ndi muntu alina bakama bange abanfuga, era nga nnina abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba ono nti: ‘Genda,’ agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kola kino,’ akikola.”
9Yesu bwe yawulira ebyo, n'amwewuunya. N'akyukira ekibiina ky'abantu ekyali kimugoberera, n'agamba nti: “Mbagamba nti sisanganga alina kukkiriza nga kuno, wadde mu Bayisirayeli!” 10Abaali batumiddwa bwe batuuka mu maka ge, ne basanga ng'omuddu we awonye.
Yesu azuukiza mutabani wa nnamwandu
11Awo olwatuuka, nga wayiseewo ekiseera kitono, Yesu n'alaga mu kibuga ekiyitibwa Nayini, abayigirizwa be n'abantu abalala bangi ne bagenda naye.
12Bwe yali ng'atuuka ku mulyango gw'ekibuga, ne wavaayo abantu abaali bafulumya omulambo gw'omuvubuka, eyali omwana omu yekka ow'omukazi nnamwandu. Abantu bangi nnyo ab'omu kibuga baali ne nnamwandu oyo. 13Mukama waffe bwe yamulaba, n'amukwatirwa ekisa, n'amugamba nti: “Tokaaba.” 14Olwo n'asembera n'akwata ku katanda akasituliddwako omulambo. Abaali bagusitudde ne bayimirira. Yesu n'agamba nti: “Omuvubuka, nkulagira, golokoka.” 15Eyali afudde n'atuula, n'atandika okwogera. Yesu n'amuddiza nnyina.
16Bonna ne bakwatibwa entiisa era ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Omulanzi omukulu alabise mu ffe, era Katonda azze okulokola abantu be.”
17Awo ettutumu lya Yesu ne libuna mu Buyudaaya bwonna ne mu kitundu ekiriraanyeewo.
Yowanne Omubatiza atuma ababaka
(Laba ne Mat 11:2-19)
18Awo abayigirizwa ba Yowanne ne bamubuulira ebyo byonna. Yowanne n'ayita babiri ku bo, 19n'abatuma eri Mukama waffe, okumubuuza nti: “Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?”
20Abasajja abo bwe baatuuka awali Yesu, ne bagamba nti: “Yowanne Omubatiza atutumye gy'oli ng'abuuza nti: ‘Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?’ ”
21Mu kiseera ekyo kyennyini, Yesu n'awonya bangi endwadde n'okulumizibwa okwa buli ngeri, n'emyoyo emibi, era n'azibula amaaso ga bamuzibe bangi. 22Awo n'addamu ababaka ba Yowanne nti: “Mugende mutegeeze Yowanne bye mulabye ne bye muwulidde: ababadde bamuzibe balaba; ababadde abalema, batambula; abagenge bawonyezebwa, ababadde bakiggala bawulira; abafu bazuukira, abaavu bategeezebwa Amawulire Amalungi.#Laba ne Yis 35:5-6; 61:1 23Wa mukisa oyo atambuusabuusaamu.”
24Ababaka ba Yowanne bwe bavaawo, Yesu n'atandika okutegeeza ekibiina ky'abantu ebifa ku Yowanne nti: “Bwe mwagenda eri Yowanne mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa empewo? 25Kale mwagenda kulaba ki? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Abo abambala engoye ez'omuwendo era ababa mu bulamu obw'okwejalabya basangibwa mu mbiri za bakabaka. 26Kale mwagenda kulaba ki? Mulanzi? Ddala mbagamba nti asinga n'omulanzi. 27Yowanne oyo, ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Laba, ntuma omubaka wange akukulembere, ng'akwerulira ekkubo gy'ogenda.’#Laba ne Mal 3:1 28Mbagamba nti Yowanne asinga abantu bonna ekitiibwa, abaali bazaaliddwa. Kyokka oyo asembayo okuba oweekitiibwa ekitono mu Bwakabaka bwa Katonda, asinga Yowanne oyo ekitiibwa.”
29Abasolooza b'omusolo n'abantu abalala bonna bwe baawuliriza ebigambo ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga bali babatizibwa Yowanne.#Laba ne Mat 21:32; Luk 3:12 30Kyokka Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka beggya ku nteekateeka ya Katonda, ne bagaana okubatizibwa.
31Yesu n'ayongera okugamba abaali bamuwuliriza nti: “Abantu ab'omulembe guno nnaabageraageranya na ki? Kiki kye bafaanana? 32Bafaanana ng'abaana abato, abatuula mu katale ne bakoowoolagana ne bagamba nti: ‘Twabafuuyidde endere, ne mutazina; twakubye ebiwoobe, ne mutakaaba.’ 33Yowanne Omubatiza bwe yajja ng'asiiba era nga tanywa mwenge, mwagamba nti: ‘Aliko omwoyo omubi!’ 34Omwana w'Omuntu bwe yajja ng'alya era ng'anywa, ne mugamba nti: ‘Omuntu oyo wa mululu, mutamiivu, era mukwano gwa basolooza ba musolo n'aboonoonyi.’ 35Wabula abo bonna abakolera ku magezi ga Katonda, bakakasa nti matuufu.”
Yesu mu maka ga Simooni Omufarisaayo
36Awo Omufarisaayo omu n'ayita Yesu okulya naye. Yesu n'agenda n'ayingira mu nnyumba y'Omufarisaayo oyo, n'atuula okulya. 37Mu kibuga ekyo mwalimu omukazi omwonoonyi. Omukazi oyo bwe yamanya nti Yesu atudde okulya mu nnyumba y'Omufarisaayo, n'aleeta eccupa erimu omuzigo oguwunya akawoowo,#Laba ne Mat 26:7; Mak 14:3; Yow 12:3 38n'abeera emabega, kumpi n'ebigere bya Yesu. N'akaaba era n'atandika okutobya ebigere bya Yesu n'amaziga, era n'abisiimuuza enviiri ez'oku mutwe gwe. N'abinywegera, era n'abisiiga omuzigo oguwunya akawoowo.
39Omufarisaayo eyayita Yesu bwe yalaba kino, n'agamba mu mutima gwe nti: “Singa omusajja ono abadde mulanzi, yanditegedde omukazi amwekwatako bw'atyo bw'ali omwonoonyi.”
40Awo Yesu n'amwatulira, n'agamba nti: “Simooni, nnina kye nkugamba.” Ye n'agamba nti: “Muyigiriza, yogera.”
41Yesu n'atandika nti: “Waaliwo abantu babiri, abaali babanjibwa omuwozi w'ensimbi. Omu yali abanjibwa denaari ebikumi bitaano, ate omulala denaari amakumi ataano.#7:41 denaari: Denaari emu ye yabanga empeera y'omupakasi ey'olunaku. 42Bwe baalemwa okusasula, bombi n'abasonyiwa. Kale ani ku bo anaasinga okumwagala?”
43Simooni n'addamu nti: “Ndowooza nti oyo gwe yasonyiwa ebbanja erisinga obunene.” Yesu n'amugamba nti: “Osaze bulungi.” 44Awo n'akyukira omukazi, n'agamba Simooni nti: “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba bigere, naye ono atobezza ebigere byange n'amaziga ge, era n'abisiimuuza enviiri ze. 45Tewannywegedde, naye ono okuviira ddala lwe nayingidde, tannalekayo kunywegera bigere byange. 46Tewansiize muzigo mu mutwe, naye ono ebigere byange abisiize omuzigo oguwunya akawoowo. 47N'olwekyo nkugamba nti asonyiyiddwa ebibi bye ebingi, kubanga alina okwagala kungi. Kyokka asonyiyibwa ebitono, aba n'okwagala kutono.”
48Awo Yesu n'agamba omukazi nti: “Ebibi byo mbikusonyiye.”
49Abaali batudde ne Yesu nga balya ne batandika okwebuuzaganya nti: “Ono ani asobola n'okusonyiwa abantu ebibi?”
50Awo Yesu n'agamba omukazi nti: “Owonye olw'okukkiriza kwo, genda mirembe.”
Currently Selected:
LUKKA 7: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.