1
Lukka 16:10
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi.
Compara
Explorar Lukka 16:10
2
Lukka 16:13
Tewali muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu n'anyooma omulala. Temuyinza kuweerezanga Katonda ne mamona.
Explorar Lukka 16:13
3
Lukka 16:11-12
Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw'amazima? Era bwe mutaabenga beesigwa ku ekyo ekya beene, ekyammwe ani alikibawa?
Explorar Lukka 16:11-12
4
Lukka 16:31
N'amugamba nti Nga bwe batawulira Musa ne bannabbi, era newakubadde omu ku bafu bw'alizuukira, talibakkirizisa.
Explorar Lukka 16:31
5
Lukka 16:18
Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we n'awasa omulala, ng'ayenze; n'oyo anaawasanga eyagobebwa bba ng'ayenze.
Explorar Lukka 16:18
Inici
La Bíblia
Plans
Vídeos