Lukka 21:25-27

Lukka 21:25-27 LBR

“Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo; abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebyo ebijja ku nsi: kubanga amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa. Ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu kire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene.