Lukka 21
21
Ekirabo kya nnamwandu
(Mak 12:41-44)
1Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba abagagga abaali bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika lya Yeekaalu.#Mak 12:41-44 2N'alaba nnamwandu omu omwavu ng'ateekamu ebitundu by'eppeesa bibiri. 3N'agamba nti, “ Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga abalala bonna:#2 Kol 8:12 4kubanga abo abalala bonna basuddemu ku bibafikkiridde mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe kwonna asuddemu byonna by'ali nabyo, ebibadde eby'okuyamba obulamu bwe bwonna.”
Yesu ayogera ku kuzikirizibwa kwa Yeekaalu
(Mat 24:1-2, Mak 13:1-2)
5Era abamu bwe baali boogera ku Yeekaalu, nga bwe yayonjebwa n'amayinja amalungi n'ebiweebwayo, n'agamba nti,#Mat 24:1-21, Mak 13:1-19 6“Bino bye mulaba, ennaku zigenda kujja, lwe watalirekebwa jjinja eririsigala ku jjinja wano eritalisuulibwa.”#Luk 19:44
Obubonero bwe kiseera eky'enkomerero
(Mat 24:3-6, Mak 13:3-7)
7Ne bamubuuza nga bagamba nti, “Omuyigiriza, kale ebyo biribaawo ddi? Kabonero ki akalibaawo ebyo bwe biriba nga bigenda okubaawo?” 8N'agamba nti, “Mutunule muleme okukyamizibwa; kubanga bangi abalijja nga beeyita erinnya lyange, nga boogera nti Nze nzuuno; era nti Obudde bunaatera okutuuka: temubagobereranga.#Dan 7:22 9Era bwe muwuliranga entalo n'ebikankano, temwekanganga: kubanga ebyo kibigwanira okusooka okujja; naye enkomerero terituuka mangwago.”#Dan 2:28
Eggwanga okulumba eggwanga
(Mat 24:7-14, Mak 13:8-13)
10 N'alyoka abagamba nti, “ Eggwanga lirirumba eggwanga, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka; #
Is 19:2, 2 Byom 15:6 11walibaawo n'ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene obuva mu ggulu. 12Naye ebyo byonna nga tebinnabaawo, balibakwata, balibayigganya, nga babawaayo mu makuŋŋaaniro ne mu makomera nga babatwala mu maaso ga bakabaka n'abaamasaza olw'erinnya lyange.#Luk 12:11 13Kiriba mujulirwa gye muli. 14Kale mukiteeke mu mitima gyammwe, obutasookanga kulowooza bye muliddamu:#Mat 10:19 15kubanga nze ndibawa ebigambo mu kamwa n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakana nabyo newakubadde okubigaana.#Bik 6:10 16Naye muliweebwayo abazadde bammwe, n'ab'oluganda, n'ab'ekika, n'ab'omukwano; n'abamu ku mmwe balibatta. 17Nammwe mulikyayibwa abantu bonna olw'erinnya lyange. 18N'oluviiri olumu olw'oku mitwe gyammwe terulibula n'akatono.#Luk 12:7, 1 Sam 14:45 19Mu kugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu bwammwe.” #2 Byom 15:7, Beb 10:36
Yesu ayogera ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi
(Mat 24:15-21, Mak 13:14-19)
20 “Naye bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka. 21Mu biro ebyo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n'abaliba wakati mu kyo bakifulumangamu; n'abaliba mu byalo tebakiyingirangamu. 22Kubanga ezo ze nnaku ez'okuwalana eggwanga, ebyawandiikibwa byonna biryoke bituukirire.#Ma 32:35, Kos 9:7, Yer 5:29 23Ziribasanga abaliba n'embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! kubanga waliba okulaba ennaku ennyingi ku nsi n'obusungu eri abantu abo.#1 Kol 7:26 24Balittibwa n'obwogi bw'ekitala, balinyagibwa okutwalibwa mu mawanga gonna; ne Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab'amawanga amalala okutuusa ebiro by'abamawanga lwe birituukirira.#Ma 28:64, Zek 12:3, Is 63:18, Zab 79:1, Dan 8:10, Bar 11:25, Kub 11:2
Okujja kw'omwana w'omuntu
(Mat 24:29-31, Mak 13:24-27)
25 “Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo; #
Zab 65:7
26abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebyo ebijja ku nsi: kubanga amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa.#Is 34:4 27Ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu kire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene.#Dan 7:13, Mat 26:64 28Naye ebigambo ebyo bwe bitandikanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.”
Okuyigira ku muti omutiini
(Mat 24:32-35, Mak 13:28-31)
29Yesu n'abagamba olugero; nti, “Mulabe omutiini n'emiti emirala gyonna;#Mat 24:32-35, Mak 13:31 30kale bwe gitojjera, mulaba ne mutegeera mwekka, nti kaakano obudde obw'ekyeya buli kumpi. 31Era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo mumanyanga nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi. 32Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono okutuusa ebyo byonna lwe biribaawo. 33Eggulu n'ensi biriggwaawo; naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.”#Luk 16:17
Mwekuumenga
34 “Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng'ekyambika; #
Luk 17:27, Mak 4:19, Mat 24:49 35kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna.#Is 24:17, 1 Bas 5:3 36Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu.”#Mak 13:33, Kub 6:17
37Awo buli lunaku yayigirizanga mu Yeekaalu; bwe bwazibanga n'afuluma n'asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni.#Luk 19:47, Yok 8:1 38Abantu bonna ne bakeeranga enkya okugenda gy'ali mu Yeekaalu okumuwuliriza.
S'ha seleccionat:
Lukka 21: LBR
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.