Yokaana 11
11
1 #
Luk 10:38,39 Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow'e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali; 2#Yok 12:3Malyamu oyo eyasiiga Mukama waffe amafuta n'amuttaanya ebigere n'enviiri ze ye yalina mwannyina Lazaalo eyali alwadde. 3Awo bannyina abo ne bamutumira, nga bagamba nti Mukama waffe, laba, gw'oyagala alwadde. 4#Yok 9:3Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw'ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n'ekitiibwa olw'obwo. 5Naye Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo. 6Awo bwe yawulira ng'alwadde, n'ayosaawo ate ennaku bbiri mu kifo kye yalimu. 7Ate n'alyoka agamba abayigirizwa nti Tuddeyo e Buyudaaya. 8#Yok 8:59; 10:31Abayigirizwa ne bamugamba nti Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda? 9#Yok 9:4,5, 1 Yok 2:10Yesu n'addamu nti Essaawa ez'emisana si kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba omusana ogw'ensi eno. 10#Yok 12:35, 1 Yok 2:11Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye. 11#Mat 9:24, Luk 8:52Yayogera bw'ati, n'alyoka abagamba nti Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa. 12Awo abayigirizwa ne bamugamba nti Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka. 13Naye Yesu yayogera ku kufa kwe: naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka kwa tulo. 14Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti Lazaalo afudde. 15Nange nneesiimye ku lwammwe kubanga saaliyo, mulyoke mukkirize; naye tugende gy'ali. 16#Mak 10:32; 14:31Awo Tomasi ayitibwa Didumo n'agamba bayigirizwa banne nti Naffe tugende tufiire wamu naye.
17Awo Yesu bwe yatuuka, n'asanga nga yaakamala ennaku nnya mu ntaana. 18Naye Bessaniya yali kumpi ne Yerusaalemi nga sutadyo kkumi na ttaano; 19Abayudaaya bangi baali bazze eri Maliza ne Malyamu okubakubagiza olwa mwannyinaabwe. 20Awo Maliza bwe yawulira nga Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana: naye Malyamu n'asigala mu nju. 21#Yok 11:3,22Awo Maliza n'agamba Yesu nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde. 22Era kaakano mmanyi nga byonna by'onoosaba Katonda, Katonda anaabikuwa. 23Yesu n'amugamba nti Mwannyoko ajja kuzuukira 24#Yok 5:29; 6:40, Luk 14:14Maliza n'amugamba nti Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw'olunaku olw'enkomerero. 25Yesu n'amugamba nti Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu: 26#Yok 5:24; 8:51na buli muntu mulamu akkiriza nze talifa emirembe n'emirembe. Okkiriza ekyo? 27#Yok 6:69N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange: nze nzikirizza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ajja mu nsi. 28Bwe yamala okwogera bw'ati, n'agenda, n'ayita muganda we Malyamu kyama, ng'agamba nti Omuyigiriza azze, akuyita. 29Naye bwe yawulira, n'agolokoka mangu, n'ajja gy'ali. 30#Yok 11:20Yesu yali tannatuuka mu mbuga, naye ng'akyali mu kifo Maliza kye yamusangamu. 31Awo Abayudaaya abaali naye mu nnyumba, nga bamukubagiza, bwe baalaba Malyamu ng'ayimiridde mangu okufuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti agenda ku ntaana okukaabira eyo. 32#Yok 11:21Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy'ali n'amulaba, n'agwa ku bigere bye, n'amugamba nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde. 33#Yok 13:21Awo Yesu bwe yamulaba ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nga bakaaba, n'asinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira, 34n'agamba nti Mwamuteeka wa? Ne bamugamba nti Mukama waffe, jjangu olabe. 35#Luk 19:41Yesu n'akaaba amaziga. 36Awo Abayudaaya ne boogera nti Laba bw'abadde amwagala. 37Naye abamu ku bo ne boogera nti Omuntu ono, eyazibula amaaso ga muzibe w'amaaso teyayinza kulobera ono okufa? 38#Mat 27:60Awo Yesu bwe yasinda ate mu nda ye, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eteekeddwako ejjinja kungulu. 39#Yok 20:1Yesu n'agamba nti Muggyeewo ejjinja. Maliza, mwannyina w'oli eyafa, n'amugamba nti Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya. 40#Yok 11:4,23,25,26Yesu n'amugamba nti Sikugambye nti Bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda? 41Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'ayogera nti Kitange, nkwebaza kubanga wampulira. 42#Yok 12:30Nange nnamanya ng'ompulira bulijjo: naye njogedde ku lw'ekibiina ekinneetoolodde, bakkirize nga ggwe wantuma. 43Bwe yamala okwogera bw'ati, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene nti Lazaalo, fuluma ojje. 44Eyali afudde n'afuluma, ng'azingiddwa mu mabugo amagulu n'emikono; n'ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. Yesu n'abagamba nti Mumusumulule, mumuleke agende.
45 #
Luk 16:31, Yok 10:42; 12:42 Awo bangi ab'omu Bayudaaya, abajja ewa Malyamu, bwe baalaba ky'akoze, ne bamukkiriza. 46Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafalisaayo, ne bababuulira Yesu by'akoze.
47Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋaanya olukiiko, ne bagamba nti Tukole tutya? kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi. 48Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n'Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n'eggwanga lyaffe. 49Naye omu ku bo, Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, n'abagamba nti Mmwe temuliiko kye mumanyi, 50#Yok 18:14so temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n'eggwanga lyonna lireme okubula. 51#Lub 50:20, Kuv 28:30, Kubal 27:21Ekyo teyakyogera mu magezi ge yekka; naye kubanga yali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, yalagula nti Yeus agenda okufiirira eggwanga eryo; 52#Yok 10:16, 1 Yok 2:2, Mat 12:30so si lwa ggwanga eryo lyokka, naye akuŋŋaanyize wamu abaana ba Katonda abaasaasaana. 53Awo okuva ku lunaku olwo ne bateesa okumutta.
54Awo Yesu n'atatambula nate mu Buyudaaya mu lwatu, naye n'avaayo n'agenda mu kifo ekiri okumpi n'eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu; n'abeera eyo n'abayigirizwa. 55#2 Byom 30:17, Mak 10:32, Bik 21:24,26Naye Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka: bangi abaava mu byalo ne balinnya e Yerusaalemi Okuyitako nga kukyali, beerongoose. 56Awo Yesu ne bamunoonya, ne boogera bokka na bokka, nga bayimiridde mu yeekaalu, nti Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga? 57Naye bakabona abakulu n'Abafalisaayo baali balagidde nti Omuntu bw'ategeera w'ali, ababuulire balyoke bamukwate.
S'ha seleccionat:
Yokaana 11: LUG68
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.