Lukka 18:4-5

Lukka 18:4-5 LUG68

N'atasooka kukkiriza; naye oluvannyuma n'ayogera munda mu ye nti Newakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa; naye olw'okunteganya nnamwandu ono kw'anteganya nnaamulamula, aleme okuntengezza ng'ajja olutata.