Lukka 18
18
1 #
Bar 12:12, Bak 4:2, 1 Bas 5:17 N'abagerera olugero bwe kibagwanira okusabanga bulijjo, obutakoowanga; 2n'agamba nti Waaliwo omulamuzi mu kibuga kimu, ataatya Katonda, era nga tassaamu muntu kitiibwa; 3era waaliwo nnamwandu mu kibuga ekyo; n'ajjanga w'ali ng'agamba nti Nnamula n'omulabe wange. 4N'atasooka kukkiriza; naye oluvannyuma n'ayogera munda mu ye nti Newakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa; 5#Luk 11:7,8naye olw'okunteganya nnamwandu ono kw'anteganya nnaamulamula, aleme okuntengezza ng'ajja olutata. 6Mukama waffe n'agamba nti Muwulire omulamuzi oyo atali mutuukirivu ky'agamba. 7Kale ne Katonda taliramula balonde be abamukaabirira emisana n'ekiro, ng'akyagumiikiriza? 8Mbagamba nti Alibalamula mangu. Naye Omwana w'omuntu bw'alijja, aliraba okukkiriza ku nsi?
9N'abalala abaali beerowooza ku bwabwe okuba abatuukirivu nga banyooma abalala bonna, n'abagamba olugero luno, nti 10Abantu babiri baalinnya mu yeekaalu okusaba, omu Mufalisaayo, omulala muwooza. 11#Is 58:2,3, Luk 16:15Omufalisaayo n'ayimirira n'asaba yekka ebigambo bino nti Ai Katonda, nkwebaza kubanga siri nga bantu balala bonna, abanyazi, abalyazaamaanyi, abenzi, newakubadde ng'ono omuwooza. 12#Mat 23:23Nsiiba emirundi ebiri mu ssabbiiti; mpaayo ekitundu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna. 13#Zab 51:1Naye omuwooza n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge mu ggulu, naye ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti Ai Katonda, onsaasire nze alina ebibi. 14#Luk 14:11, Mat 23:12, Ez 21:26Mbagamba nti Oyo yakka okuddayo mu nnyumba ye ng'aweereddwa obutuukirivu okusinga oli; kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.
15 #
Mat 19:13-15, Mak 10:13-16 Awo ne baleeta n'abaana abato w'ali, okubakomako: naye abayigirizwa bwe baabalaba, ne bababoggolera. 16Naye Yesu n'abayita ng'agamba nti Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng'abo obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe. 17#Mat 18:3Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.
18 #
Mat 19:16-29, Mak 10:17-30 N'omuntu omukulu omu n'amubuuza ng'agamba nti Omuyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo? 19Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda. 20#Kuv 20:12-16, Ma 5:16-20Amateeka ogamanyi nti Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko. 21N'agamba nti Ebyo byonna nnabikwatanga okuva mu buto bwange. 22#Mat 6:20Yesu bwe yawulira n'amugamba nti Okyaweebuuseeko kimu; tunda by'oli nabyo byonna, obigabire abaavu, kale oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere. 23Naye bwe yawulira ebyo n'anakuwala nnyo kubanga yali mugagga nnyo. 24Awo Yesu bwe yamulaba n'agamba nti Nga kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25Kubanga kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 26Abaawulira ne bagamba nti Kale ani ayinza okulokoka? 27Naye n'agamba nti Ebitayinzika eri abantu biyinzika eri Katonda. 28Peetero n'agamba nti Laba, ffe twaleka ebyaffe ne tukugoberera. 29N'abagamba nti Mazima mbagamba nti Tewali muntu eyaleka ennyumba, oba mukazi, oba ba luganda, oba bazadde, oba baana, olw'obwakabaka bwa Katonda, 30ataweebwa nate emirundi mingi mu biro bino, ne mu biro ebigenda okujja obulamu obutaggwaawo.
31 #
Luk 9:22,44 #
Mat 20:17-19, Mak 10:32-34 N'atwala abo ekkumi n'ababiri n'abagamba nti Laba, tulinnya e Yerusaalemi, n'ebyo byonna ebyawandiikibwa bannabbi birituukirira ku Mwana w'omuntu. 32Kubanga aliweebwayo mu b'amawanga aliduulirwa, aligirirwa ekyejo, aliwandirwa amalusu: 33balimukuba enkoba balimutta; era ku lunaku olw'okusatu alizuukira. 34#Mak 9:32Nabo ne batategeerawo ku ebyo n'ekimu; n'ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa, ne batategeera ebyayogerwa.
35 #
Mat 20:29-34, Mak 10:46-52 Awo olwatuuka bwe yali ng'anaatera okutuuka e Yeriko, omuzibe w'amaaso yali ng'atudde ku kkubo ng'asabiriza; 36awo bwe yawulira ekibiina nga kiyita, n'abuuza nti kiki ekyo. 37Ne bamubuulira nti Yesu Omunazaaleesi ayita. 38N'ayogerera waggulu ng'agamba nti Yesu, omwana wa Dawudi, onsaasire. 39N'abo abaali bakulembedde ne bamuboggolera okusirika; naye ye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Ggwe omwana wa Dawudi, onsaasire. 40Yesu n'ayimirira, n'alagira okumuleeta w'ali; awo bwe yasembera okumpi n'amubuuza 41nti Oyagala nkukolere ki? N'agamba nti Mukama wange, njagala okuzibula. 42#Luk 17:19Yesu n'amugamba nti Zibula: okukkiriza kwo kukulokodde. 43Amangu ago n'azibula, n'amugoberera ng'agulumiza Katonda: n'abantu bonna bwe baalaba ne batendereza Katonda.
S'ha seleccionat:
Lukka 18: LUG68
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.