Lukka 21

21
1 # Mak 12:41-44 Awo n'ayimusa amaaso, n'alaba abagagga abaali basuula ebirabo byabwe mu ggwanika. 2N'alaba nnamwandu omu omwavu ng'asuula omwo ebitundu by'eppeesa bibiri. 3#2 Kol 8:12N'agamba nti Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna: 4kubanga abo bonna basuddemu ku bibafikkiridde mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.
5 # Mat 24:1-21, Mak 13:1-19 Era abamu bwe baali boogera ku yeekaalu, bwe yayonjebwa n'amayinja amalungi n'ebiweebwayo, n'agamba nti 6#Luk 19:44Bino bye mulaba, ennaku zigenda kujja, lwe watalirekebwa jjinja eriri ku jjinja wano eritalisuulibwa. 7Ne bamubuuza nga bagamba nti Omuyigiriza, kale ebyo biribaawo ddi? Kabonero ki akalibaawo ebyo bwe biriba nga bigenda okubaawo? 8#Dan 7:22N'agamba nti Mutunule muleme okukyamizibwa; kubanga bangi abalijja n'erinnya lyange, nga boogera nti Nze nzuuno; era nti Obudde bunaatera okutuuka: temubagobereranga. 9#Dan 2:28Era bwe muwuliranga entalo n'ebikankano, temwekanga: kubanga ebyo kibigwanira okusooka okujja; naye enkomerero terituuka mangu ago.
10 # Is 19:2, 2 Byom 15:6 N'alyoka abagamba nti Eggwanga lirirumba eggwanga, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka; 11walibaawo n'ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene obuva mu ggulu. 12#Luk 12:11Naye ebyo byonna nga tebinnabaawo, balibassaako emikono, balibayigganya, nga babawaayo mu makuŋŋaaniro ne mu makomera nga babatwala eri bakabaka n'abaamasaza olw'erinnya lyange. 13Kiriba mujulirwa gye muli. 14#Mat 10:19Kale mukiteeke mu mitima gyammwe, obutasookanga kulowooza bye muliddamu: 15#Bik 6:10kubanga nze ndibawa akamwa n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakana nabyo newakubadde okubigaana. 16Naye muliweebwayo abazadde bammwe, n'ab'oluganda, n'ab'ekika, n'ab'omukwano; n'abamu ku mmwe balibassa. 17Nammwe mulikyayibwa bonna olw'erinnya lyange. 18#Luk 12:7, 1 Sam 14:45N'oluviiri olw'oku mitwe gyammwe terulibula n'akatono. 19#2 Byom 15:7, Beb 10:36Mu kugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu bwammwe.
20Naye bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka. 21Mu biro ebyo ababanga mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n'ababanga wakati mu kyo bakifulumangamu; n'ababanga mu byalo tebakiyingirangamu. 22#Ma 32:35, Kos 9:7, Yer 5:29Kubanga ezo ze nnaku ez'okuwalana eggwanga, ebyawandiikibwa byonna biryoke bituukirire. 23#1 Kol 7:26Ziribasanga abaliba n'embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! kubanga waliba okulaba ennaku ennyingi ku nsi n'obusungu eri abantu abo. 24#Ma 28:64, Zek 12:3, Is 63:18, Zab 79:1, Dan 8:10, Bar 11:25, Kub 11:2Balittibwa n'obwogi bw'ekitala, balinyagibwa okutwalibwa mu mawanga gonna; ne Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab'amawanga okutuusa ebiro by'ab'amawanga lwe birituukirira. 25#Zab 65:7Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'ennyanja n'amayengo; 26#Is 34:4abantu nga bazirika olw'entiisa n'olw'okutunuulira ebyo ebijja ku nsi: kubanga amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa. 27#Dan 7:13, Mat 26:64Ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu kire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene. 28Naye ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka. 29#Mat 24:32-35, Mak 13:31N'abagamba olugero; nti Mulabe omutiini n'emiti gyonna; 30kale bwe gitojjera, mulaba ne mutegeera mwekka, nti kaakano okukungula kuli kumpi. 31Era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo mumanyanga nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi. 32Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono okutuusa ebyo byonna lwe biribaawo. 33#Luk 16:17Eggulu n'ensi biriggwaawo; naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.
34 # Luk 17:27, Mak 4:19, Mat 24:49 Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwa nga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng'ekyambika; 35#Is 24:17, 1 Bas 5:3kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna. 36#Mak 13:33, Kub 6:17Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu.
37 # Luk 19:47, Yok 8:1 Awo buli lunaku yayigirizanga mu yeekaalu; bwe bwazibanga n'afuluma n'asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni. 38Abantu bonna ne bakeeranga enkya okugenda gy'ali mu yeekaalu okumuwulira.

S'ha seleccionat:

Lukka 21: LUG68

Subratllat

Comparteix

Copia

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió