Lukka 7

7
1 # Mat 8:5-13 Awo bwe yamala okwogerera ebigambo bye byonna mu bantu, n'ayingira e Kaperunawumu.
2 # Yok 4:47 Awo waaliwo omwami w'ekitongole omuddu we gwe yali ayagala ennyo yali ng'alwadde ng'agenda kufa. 3N'oyo bwe yawulira ebigambo bya Yesu n'atuma bakadde b'Abayudaaya gy'ali ng'amusaba okujja okulokola omuddu we. 4Nabo bwe bajja eri Yesu, ne bamwegayirira nnyo, ne bagamba nti Asaanidde ggwe okumukolera ekyo; 5kubanga ayagala eggwanga lyaffe, n'ekkuŋŋaaniro ye yalituzimbira. 6Awo Yesu n'agenda nabo. Awo bwe yali nga tali wala n'ennyumba, omwami oyo n'atuma mikwano gye gy'ali, ng'amugamba nti Ssebo, teweeteganya kujja, kubanga nze sisaanira ggwe kuyingira wansi wa kasolya kange: 7era kyenvudde nnema okwesaanyiza nzekka okujja gy'oli, naye yogera kigambo bugambo, n'omwana wange anaawona. 8Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala: bwe ŋŋamba omu nti Genda, agenda, n'omulala nti Jjangu, ajja, n'omuddu wange nti Kola kino, akola. 9Yesu bwe yawulira ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyali bimugoberera n'agamba nti Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno newakubadde mu Isiraeri. 10Awo abantu abaatumibwa bwe baakomawo mu nnyumba, ne basanga omuddu ng'awonye.
11Awo olwatuuka bwe waayitawo ebbanga ttono n'agenda mu kibuga ekiyitibwa Nayini; abayigirizwa be n'ekibiina kinene ne bagenda naye. 12#Luk 8:42, 1 Bassek 17:17Awo bwe yasembera ku wankaaki w'ekibuga, laba, omulambo nga gufulumizibwa ebweru, gwa mwana nnyina gwe yazaala omu, ne nnyina oyo nga nnamwandu; n'abantu bangi ab'omu kibuga omwo nga bali naye. 13Awo Mukama waffe bwe yamulaba n'amusaasira, n'amugamba nti Tokaaba. 14N'asembera n'akoma ku lunnyo: bali abaali beetisse ne bayimirira. N'agamba nti Omulenzi, nkugamba nti Golokoka. 15#1 Bassek 17:23, 2 Bassek 4:36Oyo eyali afudde n'agolokoka, n'atuula n'atanula okwogera. N'amuwa nnyina. 16#Luk 1:68; 19:44Obuti ne bubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; nga bagamba nti Nnabbi omukulu ayimukidde mu ffe: era Katonda akyalidde abantu be. 17N'ekigambo kye ekyo ne kibuna mu Buyudaaya bwonna ne mu nsi yonna eriraanyeewo.
18 # Mat 11:2-19 Awo abayigirizwa ba Yokaana ne bamubuulira ebigambo ebyo byonna. 19#Zab 40:7; 118:26, Mal 3:1, Dan 9:26Yokaana n'ayita abayigirizwa be babiri n'abatuma eri Mukama waffe, ng'agamba nti Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala? 20Awo abantu abo bwe baatuuka gy'ali, ne bagamba nti Yokaana Omubatiza atutumye gy'oli ng'agamba nti Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala? 21Awo mu kiseera ekyo n'awonya bangi endwadde n'okubonaabona ne dayimooni, n'abazibe b'amaaso bangi n'abawa okulaba. 22#Is 35:5; 61:1Yesu n'addamu n'abagamba nti Mugende, mubuulire Yokaana ebyo bye mulabye, ne bye muwulidde; abazibe b'amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukira, abaavu babuulirwa enjiri. 23Era alina omukisa oyo atalinneesittalako. 24Awo ababaka ba Yokaana bwe baamala okugenda n'atanula okwogera n'ebibiina ebya Yokaana nti Kiki kye mwagenderera mu ddungu okulaba? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo? 25Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba, abambala engoye ez'obuyonjo, abalya emmere ennungi, baba mu mpya za bakabaka. 26#Luk 1:76Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi. 27#Mal 3:1Oyo ye yawandiikibwako nti
Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go,
Alirongoosa oluguudo lwo gy'ogenda.
28 # Luk 1:15 Mbagamba nti Mu abo abazaalibwa abakazi, temuli asinga Yokaana obukulu: naye omuto mu bwakabaka bwa Katonda ye mukulu okusinga ye. 29#Luk 3:7,12, Mat 21:32N'abantu bonna bwe baawulira n'abawooza ne bakkiriza Katonda okuba omutuukirivu abaabatizibwa mu kubatiza kwa Yokaana. 30#Bik 13:46Naye Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne beegaanira okuteesa kwa Katonda kubanga tebaabatizibwa ye. 31Kale abantu ab'emirembe gino n'abafaananya ki? era balinga ki? 32Balinga abaana abatuula mu katale, nga bayitaŋŋana; abagamba nti Tubafuuyidde emirere ne mutazina; tukubye ebiwoobe, ne mutakaaba maziga. 33#Luk 15:2Kubanga Yokaana Omubatiza yajja nga talya mmere so nga tanywa mwenge; ne mugamba nti Aliko dayimooni. 34Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne mugamba nti Laba, omuntu omuluvu, omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi! 35Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'abaana baago bonna.
36 # Luk 11:37 Awo Omufalisaayo omu n'amuyita okulya naye. N'ayingira mu nnyumba ey'Omufalisaayo oyo n'atuula ku mmere. 37#Mat 26:7-13, Yok 12:3-8Kale, laba, omukazi eyali mu kibuga omwo, eyalina ebibi, bwe yamanya ng'atudde ku mmere mu nnyumba ey'Omufalisaayo, n'aleeta eccupa ey'amafuta ag'omugavu, 38n'ayimirira emirannamiro ku bigere bye ng'akaaba, n'atanula okumutonnyeza amaziga ku bigere bye n'abisangula n'enviiri ez'oku mutwe gwe, n'anywegera ebigere bye n'abisiiga amafuta ago. 39Awo Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba, n'ayogera munda mu ye nti Omuntu ono, singa abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako bw'ali, era bw'afaanana, ng'alina ebibi. 40Yesu n'addamu n'amugamba nti Simooni, ndiko kye njagala okukubuulira. N'agamba nti Omuyigiriza, yogera. 41Waliwo omuntu eyawolanga, naye yalina b'abanja babiri; omu ng'abanjibwa eddinaali bitaano, n'omulala ataano. 42Awo bwe baali nga tebalina kya kumusasula n'abasonyiwa bombi. Kale ku abo alisinga okumwagala aluwa? 43Simooni n'addamu n'agamba nti Ndowooza oyo gwe yasinga okusonyiwa ennyingi. N'amugamba nti Osaze bulungi. 44#Lub 18:4N'akyukira omukazi oyo, n'agamba Simooni nti Olaba omukazi ono? Nnyingidde mu nnyumba yo, n'otompa mazzi ga bigere byange: naye ono atonnyezza amaziga ge ku bigere byange, n'abisiimuuza enviiri ze. 45#Bar 16:16Tonnywegedde ggwe: naye ono we nnaakayingirira tannalekayo kunywegera bigere byange. 46Tonsiize mafuta ku mutwe gwange: naye ono ansiize amafuta ag'omugavu ku bigere byange. 47Kyenva nkugamba nti Asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi; naye asonyiyibwa akatono, okwagala kwe kutono. 48#Luk 5:20,21N'amugamba nti Osonyiyiddwa ebibi byo. 49Awo abaali batudde ku mmere naye ne batanula okwogera bokka na bokka nti Ono y'ani asonyiwa n'ebibi? 50#Luk 8:48; 17:19; 18:42N'agamba omukazi nti Okukkiriza kwo kukulokodde; genda mirembe.

S'ha seleccionat:

Lukka 7: LUG68

Subratllat

Comparteix

Copia

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió