YOWANNE 4
4
Yesu n'omukazi Omusamariya
1Yesu bwe yamanya ng'Abafarisaayo bawulidde nti afuna era abatiza abayigirizwa bangi okusinga Yowanne, (2sso nno Yesu yennyini si ye yabatizanga, wabula abayigirizwa be), 3n'ava mu Buyudaaya, n'addayo e Galilaaya. 4Yali ateekwa okuyita mu Samariya.
5Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samariya, ekiyitibwa Sikari, ekiriraanye ennimiro Yakobo gye yawa mutabani we Yosefu.#Laba ne Nta 33:19; Yos 24:32 6Mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Yesu n'atuula awo ku luzzi, ng'olugendo lumukooyezza. Essaawa zaali nga mukaaga ez'omu ttuntu.
7Omukazi Omusamariya n'ajja okusena amazzi. Yesu n'amugamba nti: “Mpa ku mazzi nnyweko.” 8Abayigirizwa ba Yesu baali bagenze mu kibuga okugula emmere.
9Awo omukazi Omusamariya n'amuddamu nti: “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamariya amazzi okunywa?” (Abayudaaya baali tebatabagana na Basamariya).#Laba ne Ezer 4:1-5; Neh 3:32–4:2
10Yesu n'amuddamu nti: “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, era ng'omanyi oyo akugamba nti: ‘Mpa ku mazzi nnyweko,’ ggwe wandimusabye, era yandikuwadde amazzi amalamu.”
11Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, tolina ky'osenya, ate oluzzi luwanvu. Onoggya wa amazzi ago amalamu? 12Ggwe mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno mwe yanywanga ye, n'abaana be, era n'ensolo ze?”
13Yesu n'amuddamu nti: “Buli muntu anywa ku mazzi gano, aliddamu okulumwa ennyonta. 14Naye buli anywa ku mazzi ge ndimuwa, taliddayo kulumwa nnyonta emirembe n'emirembe, kubanga amazzi ge ndimuwa, mu ye galifuuka ensulo eneevangamu amazzi amalamu, n'emuwa obulamu obutaggwaawo.”
15Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, mpa ku mazzi ago, nneme kulumwanga nnyonta, wadde okujjanga wano okusena amazzi.” 16Yesu n'amugamba nti: “Genda oyite balo, okomewo wano.” 17Omukazi n'amuddamu nti: “Sirina baze.”
Yesu n'amugamba nti: “Oli mutuufu okugamba nti tolina balo, 18kubanga walina babalo bataano, era oyo gw'olina kati si balo ddala. Ekyo oyogedde kya mazima.”
19Omukazi n'agamba Yesu nti: “Ssebo, ndaba ng'oli mulanzi. 20Ffe Abasamariya, bajjajjaffe ku lusozi luno kwe baasinzizanga Katonda. Naye mmwe Abayudaaya mugamba nti Yerusaalemu kye kifo, mwe tuteekwa okusinzizanga Katonda.”
21Yesu n'amugamba nti: “Mukazi wattu, nzikiriza, ekiseera kirituuka, nga Kitaffe tebakyamusinziza ku lusozi luno, wadde mu Yerusaalemu. 22Mmwe musinza kye mutamanyi. Ffe tusinza kye tumanyi, kubanga obulokozi buva mu Bayudaaya. 23Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza mu ngeri entuufu, basinzenga Kitaffe mu mwoyo era mu mazima, kubanga Kitaffe abamusinza bwe batyo, b'ayagala. 24Katonda Mwoyo, n'abo abamusinza bateekwa okumusinziza mu mwoyo era mu mazima.”
25Omukazi n'amugamba nti: “Mmanyi nga Messiya, ayitibwa Kristo, ajja. Ye bw'alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” 26Yesu n'amugamba nti: “Ye Nze ayogera naawe.”
27Amangwago abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okusanga ng'ayogera n'omukazi. Kyokka ne wataba abuuza mukazi nti: “Oyagala ki?” Oba abuuza Yesu nti: “Lwaki oyogera naye?”
28Olwo omukazi n'aleka awo ensuwa ye, n'addayo mu kibuga, n'agamba abantu nti: 29“Mujje mulabe omuntu antegeezezza byonna bye nakolanga. Ayinza okuba nga ye Kristo!” 30Ne bava mu kibuga, ne bagenda eri Yesu.
31Mu kiseera ekyo, abayigirizwa baali nga beegayirira Yesu, nga bagamba nti: “Muyigiriza, lya ku mmere.” 32Ye n'abaddamu nti: “Nze nnina emmere gye ndya, mmwe gye mutamanyi.” 33Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti: “Waliwo omuntu amuleetedde emmere?”
34Yesu n'abagamba nti: “Emmere yange, kwe kukola ebyo eyantuma by'ayagala, n'okutuukiriza omulimu gwe. 35Mmwe temulina njogera egamba nti: ‘Esigaddeyo emyezi ena, amakungula gatuuke?’ Nze mbagamba nti muyimuse amaaso, mulabe ennimiro. Ebibala byengedde, bituuse okukungula.
36“Omuntu akungula aweebwa empeera, obulamu obutaggwaawo n'abukuŋŋaanyiza ebibala. Oyo asiga, n'oyo akungula, ne balyoka basanyukira wamu, 37kubanga enjogera eno ya mazima egamba nti: ‘Asiga mulala, n'akungula mulala.’ 38Nze mbatumye okukungula kye mutaateganira. Abalala be baategana, mmwe ne musanga ebibala by'entuuyo zaabwe.”
39Bangi ku Basamariya ab'omu kibuga ekyo, ne bakkiriza Yesu, olw'ekigambo ky'omukazi kye yabagamba nti: “Antegeezezza byonna bye nakolanga.” 40Awo Abasamariya bwe baatuuka Yesu w'ali ne bamwegayirira abeereko ewaabwe. N'amalayo ennaku bbiri.
41Bwe yayogera nabo, n'abalala bangi ne bamukkiriza. 42Ne bagamba omukazi nti: “Kaakano tukkiriza, si lwa bigambo byo, wabula kubanga tumwewuliridde ffe ffennyini, ne tumanya ng'ono, ddala ye Mulokozi w'ensi.”
Yesu awonya omwana w'omukungu
43Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, Yesu n'avaayo, n'agenda e Galilaaya. 44Yesu yennyini yakakasa nti: “Omulanzi tassibwamu kitiibwa mu nsi y'ewaabwe.”#Laba ne Mat 13:57; Mak 6:4; Luk 4:24 45Awo bwe yatuuka e Galilaaya, Abagalilaaya ne bamwaniriza, kubanga nabo baali bagenze e Yerusaalemu, ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne balaba byonna bye yakola ku Mbaga eyo.#Laba ne Yow 2:23
46Awo Yesu n'addayo e Kaana eky'e Galilaaya, gye yafuulira amazzi omwenge ogw'emizabbibu. Waaliyo omukungu wa kabaka, eyalina mutabani we, ng'alwalidde e Kafarunawumu.#Laba ne Yow 2:1-11 47Bwe yawulira nti Yesu avudde mu Buyudaaya atuuse mu Galilaaya, n'agenda gy'ali, n'amwegayirira aserengete e Kafarunawumu, awonye mutabani we, eyali ng'ali kumpi okufa. 48Awo Yesu n'amugamba nti: “Bwe mutalaba byewuunyo na bya magero, temukkiriza.”
49Omukungu n'amuddamu nti: “Ssebo, serengetayo ng'omwana wange tannafa.” 50Yesu n'amugamba nti: “Genda, omwana wo mulamu.”
Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda. 51Bwe yali ng'akyali mu kkubo, abaddu be ne bamusisinkana, ne bamutegeeza nti omwana we mulamu. 52N'ababuuza essaawa mwe yatandikidde okuba obulungi. Ne bamugamba nti: “Omusujja gwamuwonako jjo, ku ssaawa musanvu.” 53Awo kitaawe w'omwana n'ajjukira nti eyo ye ssaawa yennyini, Yesu mwe yamugambira nti: “Omwana wo mulamu.” Awo ye, awamu n'ab'omu maka ge bonna, ne bakkiriza.
54Kino kye kyewuunyo ekyokubiri Yesu kye yakola, ng'akomyewo e Galilaaya okuva e Buyudaaya.
S'ha seleccionat:
YOWANNE 4: LBwD03
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.