YOWANNE 8
8
Omukazi eyakwatibwa mu bwenzi
1Awo Yesu n'alaga ku Lusozi olw'emiti Emizayiti. 2Ku makya ennyo n'akomawo mu Ssinzizo, abantu bonna ne bajja gy'ali, n'atuula n'abayigiriza. 3Awo abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, ne baleeta omukazi gwe baakwata ng'ayenda, ne bamuteeka bonna we bayinza okumulabira. 4Ne bagamba Yesu nti: “Muyigiriza, omukazi ono asangiddwa ng'ayenda ne bamukwata. 5Mu mateeka, Musa yatulagira, ow'engeri eyo okumukuba amayinja afe. Ggwe ogamba ki?”#Laba ne Leev 20:10; Ma 22:22-24
6Ekyo baakyogera nga bamukema, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira. Naye Yesu n'akutama, n'awandiika ku ttaka n'olunwe lwe.
7Bwe beeyongera okumubuuza, n'akutaamulukuka, n'agamba nti: “Mu mmwe atayonoonangako, ye aba asooka okumukuba ejjinja.” 8N'addamu okukutama, n'awandiika ku ttaka n'olunwe lwe. 9Bo bwe baawulira ebyo, ne bavaawo kinnoomu, abasinga obukulu nga be basooka. Yesu n'omukazi eyali ayimiridde awo, ne basigalawo bokka.
10Yesu n'akutaamulukuka, n'amugamba nti: “Mukazi wattu, baluwa? Tewali akusalidde musango kukusinga?”
11Omukazi n'addamu nti: “Tewali, Ssebo.” Yesu n'agamba nti: “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”]#7:53–8:11 Ebiwandiiko ebimu eby'edda bingi ebitalina bigambo ebiri mu 7:53–8:11. Ebimu bibiteeka awo ng'omazeeko Yowanne 21:24, ebirala awo ng'omazeeko Lukka 21:38. Era waliyo n'ekimu ekibiteeka awo ng'omazeeko Yowanne 7:36.
Yesu ekitangaala ky'ensi
12Awo Yesu n'ayongera okwogera nabo, n'agamba nti: “Nze kitangaala ky'ensi. Angoberera, taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n'ekitangaala eky'obulamu.”#Laba ne Mat 5:14; Yow 9:5
13Abafarisaayo ne bamugamba nti: “Weeyogerako, by'oyogera si bya mazima.”#Laba ne Yow 5:31
14Yesu n'abaddamu nti: “Newaakubadde nga neeyogerako, bye njogera bya mazima, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva, wadde gye ndaga. 15Mmwe musala omusango ng'abantu obuntu. Nze sisalira muntu musango. 16Naye mba kusala musango, ensala yange yandibadde ya mazima, kubanga siri bw'omu, ndi wamu ne Kitange eyantuma. 17Ne mu Mateeka gammwe kyawandiikibwa nti obujulizi bw'ababiri kye bukakasa, kiba kya mazima.#Laba ne Ma 17:6; 19:15 18Nze neeyogerako, ne Kitange eyantuma akakasa bye njogera.”
19Awo ne bamubuuza nti: “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n'addamu nti: “Nze temummanyi, ne Kitange temumumanyi. Singa nze mummanyi, ne Kitange mwandimumanye.”
20Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ng'ayigiriza mu Ssinzizo. Ne wataba n'omu amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka.
Temuyinza kujja nze gye ndaga
21Awo Yesu n'abagamba nate nti: “Nze ŋŋenda. Mulinnoonya, naye mulifiira mu bibi byammwe. Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo.”
22Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Agenda kwetta, kyava agamba nti: ‘Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo’?”
23Yesu n'abagamba nti: “Mmwe muli ba ku nsi, nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, nze siri wa ku nsi kuno. 24Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti Ye Nze#8:24 Ye Nze: Oba “Nze Ndi.” Laba ne 8:28, mulifiira mu bibi byammwe.”
25Ne bamubuuza nti: “Ggwe ani?” Yesu n'abaddamu nti: “Nga bwe mbagambye olubereberye. 26Nnina bingi eby'okuboogerako, n'okubasalira omusango okubasinga, kyokka oyo eyantuma ddala gyali era ebyo bye nawulira gy'ali, bye ntegeeza abantu.”
27Tebaategeera nti Yesu yali abagamba ku Kitaawe. 28Awo n'abagamba nti: “Bwe mulimala okuwanika Omwana w'Omuntu, ne mulyoka mutegeera nga Ye Nze, era nga Nze siriiko kye nkola ku bwange, wabula nga njogera ebyo, Kitange bye yanjigiriza. 29Era oyo eyantuma ali nange, tandekanga bw'omu, kubanga bulijjo nkola by'ayagala.”
30Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo, bangi ne bamukkiriza.
Abaddu n'abatali baddu
31Awo Yesu, Abayudaaya abaamukkiriza, n'abagamba nti: “Bwe munywerera ku bye mbayigiriza, muba bayigirizwa bange ddala, 32era mulitegeera amazima, n'amazima galibafuula ba ddembe.”
33Ne bamuddamu nti: “Ffe tuli bazzukulu ba Aburahamu. Tetubangako baddu ba muntu n'omu. Oyinza otya okugamba nti: ‘Mulifuuka ba ddembe?’ ”#Laba ne Mat 3:9; Luk 3:8
34Yesu n'abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti buli akola ekibi, aba muddu wa kibi. 35Omuddu taba wa lubeerera mu maka, naye omwana aba waamu ennaku zonna. 36Kale Omwana bw'alibafuula ab'eddembe, mulibeera ddala ba ddembe. 37Mmanyi nga muli bazzukulu ba Aburahamu, naye musala amagezi okunzita, kubanga bye njigiriza temubikkiriza. 38Nze njogera ebyo Kitange bye yandaga, nammwe mukola ebyo kitammwe bye yababuulira.”
39Ne bamuddamu nti: “Kitaffe ye Aburahamu.” Yesu n'abagamba nti: “Singa mubadde baana ba Aburahamu, mwandikoze ebyo Aburahamu bye yakola. 40Naye kaakano, nze omuntu ababuulidde amazima ge nawulira okuva eri Katonda, musala amagezi okunzita. Aburahamu ekyo takikolanga. 41Mmwe mukola ebyo kitammwe bye yakola.”
Ne bamugamba nti: “Ffe tetwazaalibwa mu bwenzi. Kitaffe tulina omu, ye Katonda.”
42Yesu n'abagamba nti: “Singa Katonda ye Kitammwe, mwandinjagadde, kubanga nava eri Katonda ne njija, era sajja ku bwange, wabula ye ye yantuma. 43Lwaki temutegeera bye njogera? Kyemuva mutabitegeera, kubanga temwagala kuwulira#8:43 temwagala kuwulira: Ekyawandiikibwa newaakubadde kigamba nti: “Temuyinza kuwulira,” naye abantu abo tebaaliko kikyamu kibaziyiza kuwulira okuggyako nti baali tebaagala bwagazi kuwulira. bigambo byange.
44“Kitammwe ye Sitaani, era mwagala okukola ebyo kitammwe bye yeegomba. Ye okuviira ddala olubereberye mutemu, tanywereranga ku mazima, kubanga mu ye temuli mazima. Bw'ayogera eky'obulimba, aba ayogera ekikye ddala, kubanga ye mulimba, era ye nsibuko y'obulimba. 45Naye nze kubanga njogera amazima, temunzikiriza.
46“Ani ku mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima lwaki temunzikiriza? 47Omuntu wa Katonda, awulira ebigambo bya Katonda. Mmwe kyemuva mulema okubiwulira, kubanga temuli ba Katonda.”
Yesu ne Aburahamu
48Abayudaaya ne baddamu Yesu nti: “Tetuli batuufu okugamba nti oli Musamariya, era oliko omwoyo omubi?”
49Yesu n'addamu nti: “Nze siriiko mwoyo mubi, wabula nzisaamu Kitange ekitiibwa, naye mmwe temunzisaamu kitiibwa. 50Nze sinoonya kitiibwa kyange. Akinoonya, era alisala omusango waali. 51Mazima ddala mbagamba nti buli akwata ekigambo kyange talifa emirembe n'emirembe.”
52Abayudaaya ne bamugamba nti: “Kaakano tutegeeredde ddala ng'oliko omwoyo omubi. Aburahamu yafa, n'abalanzi baafa. Ate ggwe ogamba nti: ‘Buli akwata ekigambo kyange, talifa emirembe n'emirembe.’ 53Ggwe mukulu okusinga jjajjaffe Aburahamu eyafa? Abalanzi nabo baafa. Ggwe weeyita ani?”
54Yesu n'addamu nti: “Singa nze neegulumiza, ekitiibwa kyange tekyandibaddemu kantu. Angulumiza ye Kitange, mmwe gwe mugamba nti ye Katonda wammwe. 55Sso temumumanyi, kyokka nze mmumanyi bulungi. Era singa ŋŋamba nti: ‘Simumanyi,’ nandibadde mulimba nga mmwe. Nze mmumanyi, era nkwata ekigambo kye. 56Kitammwe Aburahamu yajjula essanyu olw'okusuubira okulaba olunaku lwange. Yalulaba, n'asanyuka.”
57Awo Abayudaaya ne bamugamba nti: “Ggwe atannaweza myaka makumi ataano, ggwe walaba Aburahamu?” 58Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti Aburahamu yali tannabaawo, nga Nze wendi.#8:58 nga Nze wendi: Kye kiggyayo amakulu ga “Nga Nze NDI.” 59Awo ne bakwata amayinja okumukuba, kyokka Yesu ne yeekweka, n'afuluma mu Ssinzizo.
S'ha seleccionat:
YOWANNE 8: LBwD03
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.