LUKKA 12
12
Akabi k'obukuusa
(Laba ne Mat 10:26-27)
1Mu kiseera ekyo, abantu nkumi na nkumi bwe baakuŋŋaana ne batuuka n'okulinnyaganako, Yesu n'asookera ku bayigirizwa be n'abagamba nti: “Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo, bwe bukuusa.#Laba ne Mat 16:6; Mak 8:15 2Buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli ekikisiddwa, kirimanyibwa.#Laba ne Mak 4:22; Luk 8:17 3Byonna bye mwali mwogedde mu nzikiza, birirangirirwa mu musana, ne kye mwali mwogedde mu kaama mu bisenge, kirirangirirwa ku ntikko z'ennyumba.
Asaanidde okutiibwa
(Laba ne Mat 10:28-31)
4“Mbagamba mmwe mikwano gyange nti temutyanga abo abatta omubiri, oluvannyuma nga tebalina kisingawo kye bayinza kukola. 5Naye ka mbalage gwe muteekwa okutya: mutyenga Katonda alina obuyinza ng'amaze okutta, okusuula mu muliro ogutazikira. Weewaawo mbagamba nti: mumutyenga!
6“Enkazaluggya ttaano tezigula busente mpa we buzira?#12:6 busente mpa we buzira: Mu Luyonaani zaali “Assarion” bbiri. “Assarion” ke kasente akaali ak'omuwendo ogusingirayo ddala obutono. Naye tewali wadde emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda. 7Era n'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zonna mbale. Temutya, muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi.
Okwatula n'okwegaana Kristo
(Laba ne Mat 10:32-33; 12:32; 10:19-20)
8“Era mbagamba nti buli anjatula mu maaso g'abantu, n'Omwana w'Omuntu alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 9Naye oyo anneegaana mu maaso g'abantu, alyegaanibwa mu maaso ga bamalayika ba Katonda.
10“Era buli ayogera obubi ku Mwana w'Omuntu, alisonyiyibwa; naye oyo avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa.#Laba ne Mat 12:32; Mak 3:29 11Bwe babatwalanga mu makuŋŋaaniro, oba mu maaso g'abalamuzi oba ag'ab'obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaayanukula, oba kye munaayogera.#Laba ne Mat 10:19-20; Mak 13:11; Luk 21:14-15 12Mwoyo Mutuukirivu alibategeeza mu kiseera ekyo kyennyini, bye musaanidde okwogera.”
Olugero lw'omugagga omusirusiru
13Awo omu mu kibiina ky'abantu, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by'obusika bwaffe.” 14Yesu n'amugamba nti: “Owange, ani yanteekawo okubalamula oba okubagabanyizaamu ebyammwe?” 15Awo n'agamba abaaliwo nti: “Mutunule era mwekuume okululunkanira ebintu, kubanga obulamu bw'omuntu tebuba mu bya kufuna ne bw'aba na bingi bitya.”
16Awo n'abagerera olugero ng'agamba nti: “Waaliwo omuntu omugagga eyalina ennimiro, n'eyeza ebibala. 17Ne yeebuuza mu mutima gwe nti: ‘Kiki kye nnaakola? Sirina we nnaateeka bibala byange!’ 18N'agamba nti: ‘Kiikino kye nnaakola. Nja kumenyawo ennyumba zange mwe ntereka, nzimbe ezisingawo obunene. Omwo mwe nnaatereka ebirime byonna eby'empeke, n'ebintu byange ebirala. 19Olwo ndigamba omwoyo gwange nti mwoyo gwange, olina ebintu bingi ebiterekeddwa okumala emyaka mingi. Wummula, olye, onywe, osanyuke!’ 20Kyokka Katonda n'amugamba nti: ‘Musirusiru ggwe! Mu kiro kino obulamu bwo bwa kukuggyibwako. Kale by'otegese binaaba by'ani?’ 21Bw'atyo bw'aba eyeeterekera ebyobugagga, sso nga si mugagga mu bya Katonda.”
Okwesiga Katonda
(Laba ne Mat 6:25-34)
22Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya, newaakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala. 23Obulamu bwa muwendo okusinga emmere, n'omubiri gwa muwendo okusinga ebyokwambala. 24Mutunuulire nnamuŋŋoona. Tasiga, takungula, era talina kisenge wadde ennyumba mw'atereka, naye Katonda amuwa emmere. Mmwe temusinga nnyo ebinyonyi? 25Era ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku buwanvu bw'obulamu bwe? 26Kale oba nga temuyinza kukola wadde ekintu ekitono ng'ekyo, lwaki mweraliikirira ebirala? 27Mutunuulire amalanga. Tegakola mulimu, wadde okuluka engoye, naye mbagamba nti newaakubadde Solomooni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.#Laba ne 1 Bassek 10:4-7; 2 Byom 9:3-6 28Oba nga Katonda ayambaza bw'atyo omuddo oguliwo mu nnimiro olwaleero, ate enkeera ne gusuulibwa ku kikoomi, talisingawo nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono?
29“Mmwe temwemaliranga ku kunoonya kye munaalya, oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga. 30Ebyo byonna abantu ab'ensi bye beemalirako. Mmwe Kitammwe amanyi nti bino mubyetaaga. 31Naye mwemalirenga ku Bwakabaka bwe, ebyo nabyo biribaweebwa.
Obugagga mu ggulu
(Laba ne Mat 6:19-21)
32“Temutya, mmwe ekibiina ekitono, kubanga Kitammwe yasiima okubawa Obwakabaka. 33Mutunde ebintu byammwe, mugabire abaavu, mwekolere ensawo ezitaggwaamu nsimbi, mweterekere obugagga obutaggwaawo mu ggulu, omubbi gy'atatuuka, era eteri nnyenje kubwonoona, 34kubanga obugagga bwammwe gye buba n'omutima gwammwe gye guba.
Abaddu abeetegekera mukama waabwe
35“Mube beetegefu nga mwesibye ebimyu byammwe, era n'ettaala zammwe nga zaaka.#Laba ne Mat 25:1-13 36Era mube ng'abantu abalindirira mukama waabwe okudda ng'ava ku mbaga ey'obugole, balyoke bamuggulirewo amangwago nga yaakakonkona.#Laba ne Mak 13:34-36 37Ba mukisa abaddu abo, mukama waabwe bw'alijja, b'alisanga nga batunula. Mazima mbagamba nti alyesiba ekimyu n'abatuuza okulya, n'agenda ng'abaweereza. 38Singa ajja ekiro mu luwalo olwokubiri oba olwokusatu olw'okukuuma, n'abasanga bwe batyo, abaddu abo ba mukisa. 39Era mumanye kino nti singa nnannyini nnyumba amanya essaawa omubbi gy'anajjiramu, yanditunudde, n'ataleka nnyumba ye kumenyebwa na kuyingirwa.#Laba ne Mat 24:43-44 40Nammwe mubenga beetegefu, kubanga Omwana w'Omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.”
Abaddu abategekera mukama waabwe
(Laba ne Mat 24:45-51)
41Peetero n'agamba nti: “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe oba olugeredde bonna?” 42Mukama waffe n'agamba nti: “Kale ani omuwanika omwesigwa omwegendereza, mukama we gw'aliteekawo okulabirira abaweereza be, abawe omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo? 43Wa mukisa omuddu oyo, mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo. 44Mazima mbagamba nti alimuteekawo okulabirira ebintu bye byonna. 45Naye omuddu oyo singa agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aluddewo okujja,’ n'atandika okukuba abaddu n'abazaana, era n'atandika okulya n'okunywa, n'okutamiira, 46kale mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamulindirira, ne mu ssaawa gy'atamanyi. Alimutemamu wabiri, n'amuteeka wamu n'abatakkiriza.
47“Ate omuddu eyamanya mukama we ky'ayagala, kyokka n'atategeka oba n'atakola nga mukama we bw'ayagala, alikubibwa emiggo mingi. 48Wabula oyo ataamanya, n'akola ekimusaanyiza okukubibwa, alikubwa mitono. Buli eyaweebwa ebingi, alisabibwa bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, balimubuuza ebisingawo ku bye yateresebwa.
Yesu ayawukanya
(Laba ne Mat 10:34-36)
49“Najja kukoleeza muliro ku nsi. Singa nno gwase! 50Nnina okubatizibwa kwe ŋŋenda okubatizibwamu, era neeraliikirira nnyo okutuusa lwe kulituukirizibwa.#Laba ne Mak 10:38 51Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbagamba nti si bwe kiri, wabula okwawukana. 52Okuva kati, abataano mu nnyumba emu balyesalamu, abasatu ne bawakanya ababiri, n'ababiri ne bawakanya abasatu. 53Bano balyesalamu: nnyina w'omwana ne muwala we; omuwala ne nnyina; nnyazaala ne muka mwana we; muka mwana ne nnyazaala we.”#Laba ne Mi 7:6
Okutegeera ekiseera
(Laba ne Mat 16:2-3)
54Ate n'agamba n'ebibiina by'abantu nti: “Bwe mulaba ekire nga kiva ebugwanjuba, amangwago mugamba nti: ‘Enkuba eneetonnya.’ Era bwe kityo bwe kiba. 55Era empewo ey'omu bukiikaddyo bw'efuuwa, mugamba nti: ‘Omusana gujja kwaka nnyo.’ Era bwe kiba. 56Bakuusa mmwe! Mumanyi okunnyonnyola amakulu g'endabika y'ensi n'ey'eggulu. Kale lwaki temumanyi makulu ga kiseera kino?
Tegeeragana n'omulabe wo
(Laba ne Mat 5:25-26)
57“Lwaki mmwe mwennyini temwesalirawo kituufu? 58Bw'oba ng'ogenda ew'omulamuzi n'omuntu akuwawaabira, fuba okutabagana naye nga mukyali mu kkubo, aleme okukutwala ew'omulamuzi, n'omulamuzi okukuwa omuserikale, n'omuserikale n'akusuula mu kkomera. 59Nkugamba nti omwo tolivaamu okutuusa lw'olisasula ssente esembayo.”
S'ha seleccionat:
LUKKA 12: LBwD03
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.