LUKKA 13
13
Kwenenya oba kuzikirira
1Awo mu kiseera ekyo, ne wabaawo abaabuulira Yesu ku Bagalilaaya Pilaato be yatta, n'atabula omusaayi gwabwe wamu n'ogw'ebitambiro byabwe. 2Yesu n'abaddamu nti: “Olw'okubanga Abagalilaaya bano baabonyaabonyezebwa batyo, mulowooza nti baali boonoonyi okusinga Abagalilaaya abalala bonna? 3Mbagamba nti si bwe kiri. Naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira. 4Oba bali ekkumi n'omunaana, omunaala be gwagwako e Silowaamu ne gubatta mulowooza nti bo baali boonoonyi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemu? 5Mbagamba nti si bwe kiri. Naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira.”
Olugero lw'omuti omutiini ogutabala
6Awo Yesu n'agera olugero luno nti: “Waaliwo omuntu eyalina omuti omutiini, ogwali gusimbiddwa mu nnimiro ye ey'emizabbibu. N'ajja okugunoonyaako ebibala, n'atasangako na kimu. 7N'agamba omulimi w'ennimiro nti: ‘Laba, kati emyaka esatu nga nzija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne sibisangako. Gutemewo, ate gwonoonera ki ettaka?’ 8Kyokka omulimi w'ennimiro n'amuddamu nti: ‘Mukama wange, guleke ne mu mwaka guno, mmale okugutemeratemera n'okuguteekako ebigimusa. 9Singa gulibala ebibala omwaka ogujja, kirungi; bwe gutalibala, oligutemawo.’ ”
Yesu awonya omukazi ku Sabbaato
10Ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu yali ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro. 11Waaliwo omukazi eyaliko omwoyo omubi, ogwali gumumazeemu amaanyi okumala emyaka kkumi na munaana. Yali yeewese, era nga tayinza kwegolola n'akatono. 12Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti: “Mukazi wattu, oggyiddwako obulwadde bwo.” 13N'amukwatako, amangwago omukazi n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda.
14Kyokka omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'anyiiga, kubanga Yesu awonyezza ku Sabbaato. N'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Ennaku ziri mukaaga eziteekwa okukolerwako emirimu. Kale mujjenga ku ezo muwonyezebwe, naye si ku lunaku lwa Sabbaato.”#Laba ne Kuv 20:9-10; Ma 5:13-14
15Mukama waffe n'amuddamu nti: “Bakuusa mmwe! Buli omu ku mmwe tayimbula nte ye, oba ndogoyi ye mu kisibo ku Sabbaato, n'agitwala okunywa? 16Kale omukazi ono, muzzukulu wa Aburahamu, Sitaani gw'abadde asibye okumala emyaka ekkumi n'omunaana, abadde tasaanidde kuggyibwa mu busibe buno ku lunaku lwa Sabbaato?”
17Bwe yali ng'ayogera bino, abalabe be ne bakwatibwa ensonyi, ate ekibiina ky'abantu kyonna ne kisanyuka olwa byonna eby'ettendo bye yali akola.
Olugero lw'akasigo ka kaladaali
(Laba ne Mat 13:31-32; Mak 4:30-32)
18Yesu ate n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa na ki, era nnaabugeraageranya na ki? 19Bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali, omuntu ke yatwala n'akasuula mu nnimiro ye, ne kamera, ne kavaamu omuti, era ebinyonyi ne bizimba ebisu mu matabi gaagwo.”
Olugero lw'ekizimbulukusa
(Laba ne Mat 13:33)
20Yesu era n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda nnaabugeraageranya na ki? 21Bufaanaanyirizibwa n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akitabula mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.”
Omulyango omufunda
(Laba ne Mat 7:13-14,21-23)
22Awo Yesu n'ayitaayita mu bibuga ne mu byalo ng'ayigiriza, ng'agenda e Yerusaalemu. 23Omu n'amubuuza nti: “Mukama wange, abalokolebwa be batono?” Yesu n'abagamba nti: 24“Mufube okuyingirira mu mulyango omufunda. Mbagamba nti bangi baligezaako okuyingira, ne batasobola. 25Nnannyini nnyumba bw'aliba amaze okusituka n'aggalawo oluggi, muliyimirira wabweru, ne mutandika okukonkona ku luggi nga mugamba nti: ‘Ssebo, tuggulirewo!’ Alibaddamu nti: ‘Sibamanyi gye muva.’ 26Olwo mulitandika okugamba nti: ‘Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigirizanga mu nguudo zaffe.’ 27Aliddamu ng'agamba nti: ‘Simanyi gye muva. Muve we ndi, mwenna abakozi b'ebibi.’#Laba ne Zab 6:8 28Walibaawo okukaaba n'okuluma obujiji, bwe muliraba Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, n'abalanzi bonna, mu Bwakabaka bwa Katonda, naye mmwe nga musuuliddwa ebweru.#Laba ne Mat 22:13; 25:30#Laba ne Mat 8:11-12 29Era abantu baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono ne ddyo, ne batuula ku mbaga mu Bwakabaka bwa Katonda. 30Era laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.”#Laba ne Mat 19:30; 20:16; Mak 10:31
Yesu akungubagira Yerusaalemu
(Laba ne Mat 23:37-39)
31Mu kiseera ekyo kyennyini, Abafarisaayo abamu ne bajja, ne bagamba Yesu nti: “Va wano ogende, kubanga Herode ayagala kukutta.” 32Yesu n'abagamba nti: “Mugende mugambe ekibe ekyo nti: ‘Laba, ngoba emyoyo emibi ku bantu, era mponya abalwadde leero ne jjo, ate luli mmaliriza.’ 33Naye leero ne jjo ne luli, nteekwa okwongera okutambula, kubanga tekiyinzika omulanzi okuttirwa awantu awalala okuggyako mu Yerusaalemu.
34“Yerusaalemu, Yerusaalemu, ggwe atta abalanzi era akuba amayinja abatumibwa gy'oli! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, ne mutakkiriza? 35Laba ennyumba yammwe ebalekerwa nga kifulukwa. Era mbagamba nti temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”#Laba ne Zab 118:26; Yer 22:5
S'ha seleccionat:
LUKKA 13: LBwD03
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.