LUKKA 19
19
Yesu ne Zaakayo
1Awo Yesu n'ayingira mu kibuga Yeriko, n'atambula n'akiyitamu. 2Waaliwo omusajja erinnya lye Zaakayo eyali omukulu w'abasolooza b'omusolo era nga mugagga. 3N'agezaako okulaba Yesu bw'afaanana, n'atasobola olw'ekibiina ky'abantu, kubanga Zaakayo ono yali mumpi. 4N'adduka, n'abeesooka mu maaso, n'alinnya omuti Omusikamoreya, alabe Yesu eyali agenda okuyita mu kkubo eryo. 5Yesu bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'atunula waggulu, n'amugamba nti: “Zaakayo, kka mangu, kubanga olwaleero nteekwa okuba omugenyi wo.”
6Zaakayo n'akka mangu, n'ayaniriza Yesu n'essanyu. 7Bonna bwe baalaba, ne beemulugunya, ne bagamba nti: “Agenze okukyala ew'omusajja omwonoonyi.”
8Zaakayo n'ayimirira, n'agamba Mukama waffe nti: “Mukama wange, laba, nnaagabanyiza wakati ebintu byange, ekitundu ekimu nkiwe abaavu. Era oba nga waliwo gwe nalyazaamaanya, nnaamuliyira emirundi ena.”
9Awo Yesu n'amugamba nti: “Olwaleero okulokoka kuzze mu nnyumba eno, kubanga ono naye muzzukulu wa Aburahamu. 10Omwana w'Omuntu yajja okunoonya n'okulokola abaabula.”#Laba ne Mat 18:11
Olugero olw'ensimbi
(Laba ne Mat 25:14-30)
11Awo bwe baawulira ebyo, Yesu n'ayongera okubagerera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemu, era kubanga baali balowooza nti Obwakabaka bwa Katonda bwali bwa kulabika mangwago.#Laba ne Mat 25:14-30 12Kyeyava agamba nti: “Waaliwo omuntu oweekitiibwa eyagenda mu nsi ey'ewala okufuulibwa kabaka, alyoke akomewo. 13N'ayita abaddu be kkumi, n'abawa ensimbi eziwera mina#19:13 mina: Emu yali yenkana omusaala gw'omupakasi gwa myezi esatu. kkumi, n'abagamba nti: ‘Musuubuze ensimbi zino okutuusa lwe ndidda.’ 14Kyokka ab'omu nsi ye baali bamukyaye. Ne batuma ababaka okugenda gye yalaga, bagambe nti: ‘Tetwagala oyo kufuuka kabaka waffe.’
15“Awo olwatuuka, bwe yakomawo ng'amaze okufuulibwa kabaka, n'alagira okumuyitira abaddu abo be yawa ensimbi, amanye bwe baasuubula. 16Eyasooka n'ajja n'agamba nti: ‘Mukama wange, ensimbi zo ze wampa, mina emu, zaaleeta mina kkumi.’ 17N'amugamba nti: ‘Weebale ggwe, omuddu omulungi. Nga bwe wali omwesigwa mu kintu ekitono, nnaakuwa obuyinza okufuga ebibuga kkumi.’ 18Owookubiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, ensimbi zo ze wampa, mina emu, zaaleeta mina ttaano.’ 19N'oyo n'amugamba nti: ‘Naawe ojja kufuga ebibuga bitaano.’
20“N'omulala n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, laba, ensimbi zo ze wampa, mina emu, ziizino. Nazitereka mu kiwero, 21kubanga nakutya, kubanga oli muntu mukakanyavu. Otwala ekitali kikyo, era okungula ky'otaasiga.’ 22Kabaka n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi, by'oyogedde kwe nnaasinziira okukusalira omusango. Wali omanyi nti ndi muntu mukakanyavu, atwala ekitali kyange, era akungula kye ssaasiga. 23Kale lwaki ensimbi zange tewaziteresa basuubuzi, nze nga nkomyewo ne nzifuna n'amagoba gaazo?’
24“N'agamba abaali bayimiridde awo nti: ‘Mumuggyeeko ensimbi z'alina, mina emu, muziwe oli alina mina ekkumi.’ 25Ne bamugamba nti: ‘Ssebo, alina mina kkumi ddamba!’ 26N'addamu nti: ‘Mbagamba nti buli alina ebingi alyongerwako n'ebirala, ate oyo atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.#Laba ne Mat 13:12; Mak 4:25; Luk 8:18 27Naye abalabe bange abo, abataayagala nze kufuuka kabaka waabwe, mubaleete wano, era mubatte nga ndaba.’ ”
Yesu ayingira mu Yerusaalemu n'ekitiibwa
(Laba ne Mat 21:1-11; Mak 11:1-11; Yow 12:12-19)
28Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'akulemberamu, ng'ayambuka e Yerusaalemu. 29Awo olwatuuka, bwe yali ng'asemberedde ebibuga Betufaage ne Betaniya, okumpi n'olusozi oluyitibwa olw'emiti Emizayiti, n'atuma babiri ku bayigirizwa be 30ng'abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera. Bwe munaaba mukayingira bwe muti, mujja kulaba endogoyi entoototo esibiddwa, eteebagalwangako muntu. Mugiyimbule mugireete. 31Singa wabaawo ababuuza nti: ‘Lwaki mugisumulula?’ Muddamu bwe muti: ‘Mukama waffe agyetaaga.’ ”
32Awo abaatumibwa ne bagenda, ne basanga byonna nga biri nga bwe yabagamba. 33Bwe baali nga basumulula endogoyi, bannannyiniyo ne babagamba nti: “Lwaki endogoyi mugisumulula?”
34Bo ne bagamba nti: “Mukama waffe agyetaaga.” 35Awo ne bagitwalira Yesu. Ne bassa ku ndogoyi eyo ekkooti zaabwe, ne bagyebagazaako Yesu. 36Bwe yali ng'agenda, abantu ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe. 37Ate bwe yali ng'asemberedde Yerusaalemu, ng'aserengeta Olusozi olw'emiti Emizayiti, ekibiina ky'abayigirizwa be kyonna ne kitendereza Katonda n'eddoboozi ery'omwanguka nga kisanyuka olw'ebyamagero byonna bye kyali kirabye. 38Ne kigamba nti:
“Kabaka ono
ajja mu linnya lya Mukama,
atenderezebwe.
Emirembe gibe mu ggulu,
n'ekitiibwa kibe eri Katonda Atenkanika.”#Laba ne Zab 118:26
39Awo abamu ku Bafarisaayo abaali mu kibiina ky'abantu ne bagamba Yesu nti: “Muyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.” 40Yesu n'addamu nti: “Mbagamba nti singa bano basirika, amayinja ganaaleekaana.”
Yesu akaaba olwa Yerusaalemu
41Awo Yesu n'atuuka kumpi n'ekibuga Yerusaalemu. Bwe yakiraba, n'akaaba olw'okukirumirwa, 42nga bw'agamba nti: “Singa ggwe omanya wadde ku lunaku luno ebyo ebireeta emirembe! Naye kaakano bikwekeddwa amaaso go. 43Ekiseera kirikutuukirira, abalabe bo ne bakuzimbako ekigo okukwetooloola, ne bakutaayiza. Balikuzingiza ku njuuyi zonna. 44Balikusaanyaawo awamu n'abantu bo abalisangibwa mu ggwe. Era mu ggwe tebalireka jjinja lizimbiddwa ku linnewaalyo, kubanga tewamanya kiseera Katonda kye yajjiramu okukulokola.”
Yesu mu Ssinzizo
(Laba ne Mat 21:12-17; Mak 11:15-19; Yow 2:13-22)
45Awo Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'agobamu abaali batundiramu, 46nga bw'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kunsinzizaamu.’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi.”#Laba ne Yis 56:7; Yer 7:11
47Yesu yayigirizanga buli lunaku mu Ssinzizo. Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abalala abakulu mu ggwanga, ne basala amagezi okumuzikiriza.#Laba ne Luk 21:37 48Ne batalaba kye banaakola, kubanga abantu bonna omwoyo gwabwe baali bagutadde ku ye, nga bamuwuliriza.
S'ha seleccionat:
LUKKA 19: LBwD03
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.