ENTANDIKWA 12
12
Katonda ayita Aburaamu
1Awo Mukama n'agamba Aburaamu nti: “Va mu nsi yo, oleke baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga.#Laba ne Bik 7:2-3; Beb 11:8 2Ndikuwa abazzukulu bangi, abaliba eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, era ndikuza erinnya lyo, obeerenga wa mukisa.
3Ndiwa omukisa abo
abakusabira omukisa,
era ndikolimira oyo
alikukolimira.
Era mu ggwe amawanga gonna
mwe galiweerwa omukisa.#12:3 Era mu ggwe…galiweerwa omukisa: Oba “Amawanga gonna galisaba okugawa omukisa, nga gwe mpadde ggwe.”#Laba ne Bag 3:8
4Awo Aburaamu bwe yali awezezza emyaka nsanvu mu etaano egy'obukulu, n'ava mu Harani, nga Mukama bwe yamugamba. Ne Looti n'agenda naye. 5Aburaamu n'atwala mukazi we Saraayi, ne Looti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baalina, n'abantu bonna be baafunira mu Harani, ne batambula okutuuka mu nsi y'e Kanaani.
Bwe baatuuka mu Kanaani, 6Aburaamu n'ayita mu nsi eyo, n'atuuka mu kifo ky'e Sekemu, awali omuvule gwa More. Mu biseera ebyo, Abakanaani baali bakyali mu nsi eyo. 7Mukama n'alabikira Aburaamu n'agamba nti: “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno.” Aburaamu n'azimbira eyo alutaari Mukama eyamulabikira.#Laba ne Bik 7:5; Bag 3:16 8N'avaayo n'alaga ku lusozi, ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Beteli, n'asimba eweema ye, nga Beteli kiri ebugwanjuba, ate nga Ayi kiri ebuvanjuba. Era n'eyo n'azimbayo alutaari, n'asinza Mukama. 9Aburaamu n'ayongera okutambula, ng'ayolekedde ebukiikaddyo obwa Kanaani.#12:9 ebukiikaddyo obwa Kanaani: Oba “Negebu.”
Aburaamu mu Misiri
10Ne wagwa enjala mu nsi eyo, Aburaamu n'aserengeta mu Misiri, agira abeera eyo, kubanga enjala yali nnyingi mu Kanaani. 11Bwe yali ng'anaatera okuyingira mu Misiri, n'agamba mukazi we Saraayi nti: “Mmanyi ng'oli mukazi mubalagavu. 12Kale Abamisiri bwe banaakulaba, bajja kugamba nti: ‘Oyo mukazi we.’ Olwo nze banzite, naye ggwe bakuleke ng'oli mulamu. 13Nkwegayiridde gamba nti oli mwannyinaze, balyoke bampise bulungi, era obulamu bwange buwone ku lulwo.”#Laba ne Nta 20:2; 26:7
14Awo Aburaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba omukazi nga mulungi nnyo. 15N'abakungu b'omu lubiri bwe baamulaba, ne bamutendera kabaka, era ne bamutwala mu nnyumba ya kabaka.
16Olwa Saraayi oyo, kabaka n'ayisa bulungi Aburaamu n'amuwa ente n'endiga, n'embuzi, n'endogoyi, abaddu n'abazaana, n'eŋŋamiya.
17Naye kubanga kabaka yatwala Saraayi muka Aburaamu, Mukama n'aleetera kabaka n'ab'omu nnyumba ye endwadde ez'amaanyi, ezaababonyaabonya. 18Awo kabaka n'atumya Aburaamu, n'amugamba nti: “Kiki kino ky'onkoze? Lwaki tewambuulira nti mukazi wo? 19Lwaki wagamba nti mwannyoko, nze ne mmufuula mukazi wange? Kale mukazi wo wuuyo, mutwale, ogende.” 20Awo kabaka, n'alagira basajja be, ne bawerekera Aburaamu ne mukazi we, ne byonna bye yalina.
S'ha seleccionat:
ENTANDIKWA 12: LB03
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.