YOWANNE 3
3
Yesu ne Nikodemo
1Waaliwo omuntu, erinnya lye Nikodemo, omukulembeze mu Bayudaaya, nga wa mu kibiina kya Bafarisaayo. 2Oyo n'ajja ekiro eri Yesu, n'amugamba nti: “Rabbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyatumibwa Katonda, kubanga tewali ayinza kukola byewuunyo ggwe by'okola, wabula nga Katonda ali naye.”
3Yesu n'amuddamu nti: “Mazima ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwakubiri, tayinza kulaba Bwakabaka bwa Katonda.”
4Nikodemo n'amubuuza nti: “Omuntu akuze ayinza atya okuzaalibwa nate? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina, n'azaalibwa omulundi ogwokubiri?”
5Yesu n'addamu nti: “Mazima ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo Mutuukirivu, tayinza kuyingira Bwakabaka bwa Katonda. 6Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, n'ekizaalibwa omwoyo, kiba mwoyo.
7“Teweewuunya kubanga nkugambye nti muteekwa okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. 8Empewo gy'eyagala gy'ekuntira. Owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy'eva na gy'eraga. Buli muntu azaalibwa Mwoyo, bw'atyo bw'aba.”
9Nikodemo n'amubuuza nti: “Ebyo biyinzika bitya?” 10Yesu n'amuddamu nti: “Ggwe omuyigiriza wa Yisirayeli n'ototegeera ebyo? 11Mazima ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi. Tukakasa kye twalaba, sso temukkiriza bye tubategeeza. 12Oba nga mbabuulidde eby'oku nsi ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby'omu ggulu? 13Tewali yali alinnye mu ggulu, wabula oyo eyava mu ggulu, ye Mwana w'Omuntu.”
14Nga Musa bwe yawanika omusota ogw'ekikomo ku muti mu ddungu, n'Omwana w'Omuntu bw'atyo bw'ateekwa okuwanikibwa,#Laba ne Kubal 21:9 15buli muntu amukkiriza, afune obulamu obutaggwaawo mu ye. 16Kubanga Katonda yayagala nnyo ensi, kyeyava awaayo Omwana we omu yekka, buli amukkiriza aleme kuzikirira, wabula abe n'obulamu obutaggwaawo. 17Katonda teyatuma Mwana we mu nsi agisalire musango, wabula yamutuma, ensi eryoke erokolerwe mu ye. 18Buli amukkiriza, tegumusinga. Atamukkiriza, guba gumaze okumusinga, kubanga takkirizza Omwana omu bw'ati owa Katonda.
19Guno gwe musango. Ekitangaala kyajja mu nsi, naye abantu ne baagala ekizikiza okusinga ekitangaala, olw'ebikolwa byabwe ebibi. 20Buli muntu akola ebikolwa ebibi, akyawa ekitangaala, era tajja eri kitangaala, ebikolwa bye bireme kulabibwa. 21Naye buli akolera ku mazima, ajja mu kitangaala, ekitangaala kirage nti ebikolwa bye bikoleddwa, nga byesigamye ku Katonda.
Yesu ne Yowanne Omubatiza
22Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'ajja n'abayigirizwa be mu kitundu eky'e Buyudaaya, n'abeera eyo nabo, n'abatiza. 23Yowanne naye yali ng'abatiriza mu Enoni, okumpi ne Saalimu, kubanga amazzi gye gaali amangi. Abantu ne bagendayo, ne babatizibwa. 24Olwo Yowanne yali tannaggalirwa mu kkomera.#Laba ne Mat 14:3; Mak 6:17; Luk 3:19-20
25Awo olwatuuka, abayigirizwa ba Yowanne ne baba n'empaka n'Omuyudaaya, ku bifa ku mukolo ogw'okunaaba okw'okutukuzibwa. 26Ne bagenda eri Yowanne, ne bamugamba nti: “Rabbi, oli eyali naawe emitala w'omugga Yorudaani era gwe wayogerako, kaakano abatiza, era abantu bonna bagenda gy'ali.”
27Yowanne n'addamu nti: “Omuntu tayinza kuba na kintu, wabula nga Katonda ye akimuwadde. 28Mmwe mwennyini munjulira nga nayogera nti: ‘Si nze Kristo, wabula natumibwa kumukulemberamu.’#Laba ne Yow 1:20 29Omugole aba w'oyo awasizza. Mukwano gw'oyo awasizza omugole, amubeera kumpi n'awuliriza, n'asanyuka nnyo okuwulira eddoboozi ly'oyo awasizza omugole. Bwe kityo essanyu lyange lituukiridde. 30Ye ateekwa okukula, naye nze okutoowala.”
Oyo ava mu ggulu
31Oyo ava mu ggulu ye afuga byonna. Oyo ava ku nsi aba wa ku nsi, era ayogera ku bya ku nsi. Ava mu ggulu ye afuga byonna. 32Ayogera ku kye yalaba era kye yawulira, wabula tewali akkiriza bigambo bye. 33Oyo akkiriza ebigambo bye, akakasa nti Katonda wa mazima, 34kubanga oyo Katonda gwe yatuma, ayogera ebigambo bya Katonda, kubanga Katonda amuwa Mwoyo we omujjuvu. 35Kitaawe w'Omwana ayagala Omwana we, era byonna yabissa mu buyinza bwe.#Laba ne Mat 11:27; Luk 10:22 36Akkiriza Omwana, aba n'obulamu obutaggwaawo. Kyokka atakkiriza Mwana, taba na bulamu obutaggwaawo, wabula asunguwalirwa Katonda.
S'ha seleccionat:
YOWANNE 3: LB03
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.