Olubereberye 16
16
Salaayi ne Agali
1Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, teyamuzaalira baana. Naye yalina omuzaana Omumisiri, erinnya lye Agali; 2Salaayi n'agamba Ibulaamu nti, “Laba nno, Mukama nze anziyizza okuzaala; nkwegayiridde, twala omuzaana wange ono, oboolyawo alinzaalira abaana.” Ibulaamu n'akkiriza Salaayi by'amugambye.#Lub 30:3 3Ibulaamu yali yakamala emyaka kkumi ng'atudde mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we, n'amuwa Agali, omuzaana we Omumisiri, okuba mukazi we. 4Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n'aba olubuto. Awo Agali bwe yalaba ng'ali lubuto n'anyooma mugole we.#1 Sam 1:6,7 5Salaayi n'agamba Ibulaamu nti, “Mukama asalewo ani mutuufu wakati wo nange, kubanga nze nakuwa omuzaana wange mu kifuba kyo, naye bw'alabye ng'ali lubuto, n'annyooma, naye naawe tofuddeyo kumunenya.”#Lub 31:53, 1 Sam 24:12 6Naye Ibulaamu n'agamba Salaayi nti, “Laba, Agali muzaana wo, ggw'omulinako obuyinza, mukole nga bw'oyagala.” Salaayi n'alyoka akambuwalira nnyo Agali, Agali n'amuddukako. 7Awo malayika wa Mukama n'asisinkana Agali mu ddungu, awali oluzzi, mu kkubo eriraga e Ssuuli. 8N'amugamba nti, “Agali, omuzaana wa Salaayi, ova wa, era ogenda wa?” Agali n'amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.” 9Naye malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo, omugondere.” 10Malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ndikuwa ezzadde lingi nnyo, nga terisoboka na kubalika olw'obungi.”#Lub 17:20; 25:12-16 11Era malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Laba, oli lubuto, olizaala omwana wa bulenzi; era olimutuuma erinnya Isimaeri,#16:11: Isimaeri Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Katonda awulira.” kubanga Mukama awulidde okubonyaabonyezebwa kwo.#Lub 29:32 12Era aliba ng'ensolo ey'omu nsiko etefugika. Anaalwanaga na buli muntu, era buli muntu anaalwananga naye, era aneeyawulanga ku baganda be.”#Lub 25:18, Yob 39:5-8 13Agali n'ayita Mukama eyayogera naye erinnya nti, “Ggwe Katonda alaba.”#16:13 Ggwe Katonda Alaba Mu Lwebbulaniya kiri, “El Roi.” Kubanga yeebuuza nti, “Ddala ndabye Katonda ne nsigala nga ndi mulamu?” 14Oluzzi Olwo oluli wakati wa Kadesi ne Beredi kye lwava luyitibwa erinnya Beerirakairo.#16:14: Beerirakairo Mu Lwebbulaniya kitegeeza Oluzzi lw'Omulamu Andaba 15Agali n'azaalira Ibulaamu omwana; Ibulaamu n'atuuma omwana oyo erinnya Isimaeri#Lub 16:11 16Ibulaamu we yazaalira Isimaeri, yali awezezza emyaka kinaana mu mukaaga (86).
Trenutno odabrano:
Olubereberye 16: LBR
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: