YouVersion logo
Ikona pretraživanja

Olubereberye 20

20
Ibulayimu ne Abimereki
1Ibulayimu n'ava e Mamule n'agenda mu nsi ey'obukiikaddyo, n'atuula wakati wa Kadesi ne Ssuuli. Awo bwe yali ng'ali mu Gerali;#Lub 12:10-20; 26:6-11 2Ibulayimu n'ayogera ku Saala mukazi we nti, “Ye mwannyinaze.” Awo Abimereki kabaka w'e Gerali kwe kutuma bamuleetere Saala. 3Naye Katonda n'ajjira Abimereki ekiro mu kirooto n'amugamba nti, “Laba, ggwe oli mufu bufu, olw'omukazi gwe watwala; kubanga alina bba.”#Yob 33:15,16, Zab 105:14 4Naye Abimereki yali tanegatta ne Saala; n'ayogera nti, “Mukama, onotta eggwanga eritalina musango?#Lub 18:23 5Ibulayimu teyaŋŋamba ye yennyini nti, ‘Ye mwannyinaze?’ Era n'omukazi yennyini n'ayogera nti, ‘Ye mwannyinaze?’ Kye nnakola, nnakikola mu mutima mulungi.” 6Katonda n'amugamba mu kirooto nti, “Weewaawo, mmanyi nga wakikola mu mutima mulungi, era nange kye nnava nkuziyiza okwonoona, ne sikuganya kumukwatako.#Lub 39:9 7Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga omusajja oyo nnabbi, ajja ku kusabira oleme kufa; naye bw'otomuzzeeyo, tegeera nga ojja kufa ggwe n'abantu bo bonna.”#1 Sam 7:5, Yob 42:8 8Abimereki n'agolokoka enkya mu makya, n'ayita abaddu be bonna, n'abategeeza ebyo byonna, ne batya nnyo. 9Abimereki n'alyoka ayita Ibulayimu, n'amugamba nti, “Nakukola ki? Kibi ki kye nnakukola ggwe, olyoke ondeetere nze n'obwakabaka bwange okwonoona kuno okunene?” 10Abimereki n'agamba Ibulayimu nti, “Wagenderera ki okukola bw'otyo?” 11Ibulayimu n'addamu nti, “Nnalowooza nti mu kifo kino temuli kutya Katonda; era nti bagenda kunzita olw'omukazi wange.#Lub 12:12; 26:7; 42:18, Nge 16:6 12Naye kyo kituufu, Saala mwannyinaze, kubanga mwana wa kitange so si wa mmange, kyennava muwasa. 13Kale, Katonda bwe yanzigya mu nnyumba ya kitange n'antambuzatambuza mu nsi endala, ne ŋŋamba Saala nti ‘Kino kye ky'ekisa ky'onoonkoleranga. Mu buli kifo mwe tunaatuukanga; ogambanga nti ono mwannyinaze.’ ”#Lub 12:1,3 14Awo Abimereki n'awa Ibulayimu endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, n'amuddiza ne Saala mukazi we. 15Abimereki n'agamba Ibulayimu nti, “ Ensi yange yiiyo; tuula wonna w'oyagala.”#Lub 13:9 16N'agamba Saala nti, “Laba, mpadde mwannyoko ebitundu lukumi (1,000) ebya ffeeza; nga ke kabonero akakasa bonna b'oli nabo nti tolina musango” 17Ibulayimu n'asaba Katonda; Katonda n'awonya Abimereki, ne mukazi we, n'abazaana be; ne bazaala abaana;#1 Sam 12:23, Yob 42:8 18kubanga Mukama yali asibidde ddala embuto zonna ez'omu nnyumba ya Abimereki, olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.

Trenutno odabrano:

Olubereberye 20: LBR

Istaknuto

Podijeli

Kopiraj

None

Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj