Olubereberye 23
23
Okufa n'okuziikibwa kwa Saala
1Saala yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu (127), 2n'afiira mu Kiriasualaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Ibulayimu n'amukungubagira, era n'amukaabira amaziga.#Yer 32:9 3Ibulayimu n'ava awali omulambo, n'agenda eri abaana ba Keesi n'abagamba nti, 4“Nze ndi mugenyi era mutambuze mu nsi yammwe; munguze ekifo eky'okuziikangamu abafu bange, kibe obutaka bwange mu nsi yammwe.”#Zab 105:12, Bik 7:5, Beb 11:9 5Abaana ba Keesi ne baddamu Ibulayimu, ne bamugamba nti, 6“Mukama waffe, tuwulire; ggwe oli mukungu mukulu mu ffe: ziika omulambo gwo mu ntaana yaffe gy'oneeroboza mu zonna; tewali mu ffe agenda okukumma entaana ye, wadde okukuziyiza okuziikamu omufu wo.”#Lub 13:2; 14:14 7Ibulayimu n'asituka, n'avuunamira abaana ba Keesi, bannannyini nsi eyo. 8N'ayogera nabo, n'abagamba nti, “ Nga bwe munzikirizza okuziika omufu wange, munneegayiririre Efulooni, omwana wa Zokali 9anguze empuku ye eri e Makupeera, ekomererayo mu lusuku lwe; omuwendo gwayo omujjuvu, nga mulaba, ebeere obutaka bwange obw'okuziikangamu.” 10Awo Efulooni yali atudde wamu n'abaana ba Keesi; mu kifo ekikuŋŋaanirwamu mu mulyango gw'ekibuga, n'addamu Ibulayimu ng'abalala bonna bawulira nti,#Lub 34:20, Luus 4:1,4 11“Nedda, mukama wange, ompulire; olusuku n'empuku erulimu ngikuwadde ng'abantu bonna balaba; ziikamu omufu wo.”#2 Sam 24:20-24 12Ibulayimu n'avuunama mu maaso ga bannannyini nsi eyo. 13N'agamba Efulooni abantu ab'omu nsi eyo nga bamuwulira nti, “Nkwegayiridde wulira kye ŋŋamba, olusuku lwonna kkiriza ndugule omuwendo gwalwo omujjuvu nziikemu omufu wange.” 14Efulooni n'addamu Ibulayimu, ng'amugamba nti, 15“Mukama wange, ompulire; akasuku akagula Essekeri eza ffeeza ebina (400) katono nnyo gye ndi. Katwale butwazi oziikemu omufu wo. Omuwendo gwako essekeri eza ffeeza ebina (400) kintu ki eri nze naawe? Kale ziika omulambo gwo.”#Kuv 30:13 16Ibulayimu n'akkiriza omuwendo Efulooni gwe yamugamba. Ibulayimu n'atoola effeeza bina (400) ng'ezomuwendo ez'obuguzi bwe ziri n'azimuwa.#Yer 32:9 17Awo olusuku lwa Efulooni, olwali mu Makupeera, etunuulira Mamule, olusuku n'empuku eyalimu, n'emiti gyonna egyali mu lusuku, egyali mu nsalo yaalwo yonna okwetooloola, 18byanywezebwa eri Ibulayimu okuba obutaka bwe mu maaso g'abaana ba Keesi, mu maaso ga bonna abaayingira mu mulyango gw'ekibuga kye. 19Oluvannyuma lw'ebyo Ibulayimu n'aziika Saala mukazi we mu mpuku ey'omu lusuku olwa Makupeera etunuulira Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi y'e Kanani. 20N'olusuku n'empuku erulimu ne binywezebwa abaana ba Keesi eri Ibulayimu okuba obutaka bwe, okuba ekifo eky'okuziikangamu.#Luus 4:7-10, Yer 32:10,11
Trenutno odabrano:
Olubereberye 23: LBR
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: