Olubereberye 28
28
Isaaka asindika Yakobo ewa Labbaani
1Isaaka n'ayita Yakobo, n'amusabira omukisa, n'amukuutira, n'amugamba nti, “Towasanga omukazi omukanani.#Lub 24:3-6 2Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize eyo omukazi aliva mu bawala ba Labbaani mwannyina nnyoko.#Lub 25:20 3Era Katonda Omuyinza w'ebintu byonna akwazenga, ofuuke kitaawe w'amawanga amangi;#Lub 17:1,6 4era akuwe omukisa gwa Ibulayimu, ggwe n'ezzadde lyo; osikire ensi eno gy'olimu, Katonda gye yawa Ibulayimu.”#Lub 12:2,3; 17:8 5Isaaka n'asindika Yakobo; n'agenda e Padanalaamu eri Labbaani, omwana wa Bessweri Omusuuli, mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Yakobo ne Esawu.#Kos 12:12
Esawu awasa omukazi omulala
6Era Esawu n'ategeera nti Isaaka yasabira Yakobo omukisa, era n'amusindika okugenda e Padanalaamu okwewasizaayo omukazi; era n'ategeera nti bwe yamusabira omukisa yamukuutira obutawasanga mukazi Mukanani. 7Era Esawu n'ategeera nga Yakobo yawulira kitaawe ne nnyina, era ng'agenze e Padanalaamu. 8Esawu bwe yategeera nga kitaawe tayagala bakazi Bakanani;#Lub 26:35 9n'agenda ewa Isimaeri, omwana wa Ibulayimu, n'awasa muwala we Makalasi, mwannyina Nebayoosi, okuba mukazi we.#Lub 25:13; 36:3
10Yakobo n'ava mu Beeruseba n'ayolekera e Kalani.#Lub 26:33; 27:43 11N'atuuka mu kifo ekimu, n'asulawo, kubanga enjuba yali egudde; n'addira erimu ku mayinja ag'omu kifo ekyo, n'alyezizika wansi w'omutwe gwe, n'agalamira okwebaka. 12N'aloota ng'alaba amadaala agasimbiddwa ku ttaka, n'entikko yaago ng'etuuka mu ggulu, era laba, bamalayika ba Katonda nga balinnya, era nga bakka ku go.#Yob 33:15,16, Yok 1:51 13Era, laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti, “Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo;#Lub 13:15; 26:24; 35:1; 48:3 14n'ezzadde lyo linaabanga ng'enfuufu ey'oku nsi, era olibuna ebugwanjuba, n'ebuvanjuba, n'obukkiikkakkono, n'obukiikaddyo: ne mu ggwe ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.#Lub 12:3; 13:16 15Era, laba, nze ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko.”#Lub 26:24; 31:3; 35:6 16Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'ayogera nti, “Mazima Mukama ali mu kifo kino; nange mbadde simanyi!” 17N'atya, n'ayogera nti, “Ekifo kino nga kya ntiisa! Kino, mazima, ye nnyumba ya Katonda ddala, era gwe mulyango gw'eggulu.”
18Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'addira ejjinja lye yeezizise wansi w'omutwe gwe, n'alisimba okuba empagi, n'alifukako amafuta ku ntikko yaalyo.#Lub 31:13,45; 35:14, 1 Sam 7:12 19N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri;#28:19: Beseri Mu Lwebbulaniya kitegeeza “ennyumba ya Katonda.” naye erinnya ly'ekibuga ekyo olubereberye lyali Luuzi.#Lub 35:7, Balam 1:2 20Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti, “Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye ŋŋendamu, era bw'anaampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala,#Lub 31:13 21n'okudda ne nzira mu nnyumba ya kitange n'emirembe, Mukama n'alyoka abeera Katonda wange,#Ma 26:17, Balam 11:31, 2 Sam 15:8 22n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda; era ku byonna by'on'ompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi.”#Lub 14:20; 35:7,14, Leev 27:30
Trenutno odabrano:
Olubereberye 28: LBR
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: