YouVersion logo
Ikona pretraživanja

Olubereberye 6:1-4

Olubereberye 6:1-4 LBR

Awo abantu bwe beeyongera obungi ku nsi, nga bazadde n'abaana ab'obuwala, abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi; ne bawasanga mu bo bonna be baayagala. Mukama n'ayogera nti, “Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri, naye anaawangaalanga emyaka egitasukka kikumi mu abiri (120). ” Mu biro ebyo, waaliwo Abanefiri mu nsi, abaazaalibwa abaana ba Katonda mu bawala b'abantu, abo be bantu ab'amaanyi era abaayatiikirira mu mirembe egy'edda.