Yokaana 12
12
Malyamu afuka ku Yesu amafuta ag'omuwendo e Bessaniya
(Mat 26:6-13, Mak 14:3-9)
1 #
Mat 26:6-13, Mak 14:3-9 Awo bwe zaali nga zisigaddeyo ennaku omukaaga okutuuka ku Kuyitako, Yesu n'ajja e Bessaniya, eyali Lazaalo, Yesu gwe yazuukiza mu bafu.#Yok 11:1,43 2Awo ne bamufumbirayo emmere ey'ekyeggulo: ne Maliza n'aweereza; naye Lazaalo n'aba omu ku bo abaali batudde naye ku mmere.#Luk 10:40 3Awo Malyamu n'addira laatiri ey'amafuta ag'omugavu, ag'omuwendo omungi ennyo, n'agisiiga ku bigere bya Yesu, n'attaanya ebigere bye n'enviiri ze: ennyumba n'ejjula akaloosa ak'amafuta.#Luk 7:38 4Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa be, eyali agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti, 5“Kiki ekirobedde okutunda amafuta gano okugaggyamu eddinaali bisatu (300), ne zigabirwa abaavu?” 6Kale yayogera bw'atyo, si lwa kulumirwa baavu; naye kubanga yali mubbi, ye yakwatanga ensawo, n'atwalanga bye baateekangamu.#Luk 8:3 7Awo Yesu n'agamba nti, “Mumuleke agaterekere olunaku lw'okuziikibwa kwange. 8Kubanga abaavu be muli nabo ennaku zonna; naye nze temuli nange ennaku zonna.”#Ma 15:11
Olukwe olw'okutta Lazaalo
9Awo ekibiina kinene eky'Abayudaaya ne bategeera nti Yesu ali Bessaniya, ne bajja si ku lwa Yesu yekka, era naye balabe ne Lazaalo, gwe yazuukiza mu bafu. 10Naye bakabona abakulu ne basala amagezi okutta ne Lazaalo; 11kubanga ku lulwe bangi ku Bayudaaya abaabavangako ne bakkiriza Yesu.
Yesu ayingira mu Yerusaalemi ne kitiibwa
(Mat 21:1-11, Mak 11:1-11, Luk 19:28-40)
12Olunaku olwokubiri ekibiina kinene abaali bazze ku mbaga, bwe baawulira nga Yesu ajja e Yerusaalemi,#Mat 21:1-11, Mak 11:1-10, Luk 19:29-40 13ne batwala ensansa ez'enkindu ne bagenda okumusisinkana, ne boogerera waggulu nti, “Ozaana: aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama, ye Kabaka wa Isiraeri.”#Zab 118:25,26 14Naye Yesu bwe yalaba ennyana y'endogoyi, n'agyebagala; nga bwe kyawandiikibwa nti,#Zek 9:9 15“Totya, muwala wa Sayuuni: laba, Kabaka wo ajja, nga yeeberese omwana gw'endogoyi.” 16Ebyo abayigirizwa be tebaabitegeera olubereberye: naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ng'ebyo byamuwandiikwako, era nga baamukola bwe batyo.#Yok 7:39 17Awo ekibiina ekyali naye bwe yayita Lazaalo okuva mu ntaana n'amuzuukiza mu bafu, ne babeera abajulirwa bebyo bye yakola. 18Era ekibiina kyekyava kigenda okumusisinkana, kubanga baawulira nti yakola akabonero ako. 19Awo Abafalisaayo ne boogeragana nti, “Mulabe bwe mutalina kye mugasizza; laba, ensi zonna zimusenze.”#Yok 11:48
Abayonaani baagala okulaba Yesu
20Naye mu abo abagenda ku mbaga okusinza mwalimu Abayonaani:#Yok 7:35; 11:55 21awo abo ne bajja eri Firipo, eyava e Besusayida eky'omu Ggaliraaya, ne bamugamba nti, “Ssebo, twagala okulaba Yesu.” #Yok 1:44, Luk 19:3; 23:8 22Firipo n'ajja n'abuulira Andereya; Andereya n'ajja, ne Firipo, ne babuulira Yesu. 23Yesu n'abaddamu, n'agamba nti, “Obudde butuuse, Omwana w'omuntu agulumizibwe. 24Ddala ddala mbagamba nti Empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka; naye bw'efa, ebala emmere nnyingi.#Bar 14:9, 1 Kol 15:36 25Ayagala obulamu bwe bumubula; naye akyawa obulamu bwe mu nsi eno alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.#Mat 10:39, Luk 14:26; 17:33 26Omuntu bw'ampeereza, angobererenga; nange gye ndi, eyo omuweereza wange naye gy'anaabeeranga: omuntu bw'ampeereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa.”#Yok 14:3; 17:24
Yesu ayogera ku kufa kwe
27 “Kaakano omwoyo gwange gweraliikiridde; era njogere ntya? Kitange, ndokola okunzigya mu kiseera kino. Naye kyennava ntuuka mu kiseera kino. #
Zab 6:3; 42:5, Mat 26:38 28Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti, “Nnaligulumiza, era ndirigulumiza nate.”#Yok 1:51; 5:37, Mat 3:17; 17:5 29Awo ekibiina ekyali kiyimiridewo, bwe kyaliwulira, ne kigamba nti, “Kubadde kubwatuka,” abalala ne bagamba nti, “Malayika ayogedde.”#Luk 22:43 30Yesu n'addamu n'agamba nti, “Eddoboozi lino terizze ku bwange, naye ku bwammwe.#Yok 11:42 31Kaakano ensi eno esalirwa omusango; kaakano omukulu w'ensi eno anaagoberwa ebweru.#Yok 14:30; 16:11, Luk 10:18 32Nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira abantu bonna gye ndi.”#Yok 8:28 33Naye yayogera atyo, ng'alaga okufa bwe kuli kw'agenda okufa. 34Awo ekibiina ne kimuddamu nti, “Ffe twawulira mu mateeka nti Kristo abeereraawo emirembe n'emirembe: naawe kiki ekikugambya nti, Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa? Oyo Omwana w'omuntu ye ani?”#Zab 110:4, Is 9:7, Dan 7:14 35Awo Yesu n'abagamba nti, “Esigaddeyo ebiro bitono ng'omusana gukyali gye muli. Mutambule nga mukyalina omusana, ekizikiza kireme okubakwatira mu kkubo: atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda.#Yok 8:12; 9:5; 11:10 36Bwe mukyalina omusana mukkirize omusana, mufuuke abaana b'omusana.”#Bef 5:8, Mat 23:39 Yesu bwe yamala okwogera ebyo n'agenda n'abeekweka.
Obutakkiriza bw'Abayudaaya
37Naye newakubadde nga yakola obubonero bungi obwenkanidde awo mu maaso gaabwe, tebaamukkiriza: 38ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire, kye yayogera nti,#Is 53:1, Bar 10:16
“Mukama, ani eyakkiriza ebigambo byaffe?”
Era omukono gwa Mukama gubikkuliddwa ani?
39Kyebaava balema okuyinza okukkiriza, kubanga Isaaya yayogera nate nti
40Yabaziba amaaso, n'abakakanyaza omutima;
Baleme okulaba n'amaaso n'okutegeera n'omutima,
Bakyuke,
Ndyoke mbawonye.#Is 6:9,10, Mat 13:14,15
41Ebyo Isaaya yabyogera, kubanga yalaba ekitiibwa kya Yesu; era n'amwogerako. #Is 6:1, Yok 13:12 42Naye bangi ne mu bakulu abaamukkiriza, naye olw'okutya Abafalisaayo tebaayatula, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro:#Yok 7:48; 9:22 43kubanga baayagala ekitiibwa ky'abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.#Yok 5:44
Ebigambo bya Yesu birisaliza abantu omusango
44Yesu n'ayogerera waggulu n'agamba nti, “Anzikiriza, takkiriza nze, wabula oli eyantuma.#Mat 10:40 45Era alaba nze ng'alabye oli eyantuma.#Yok 14:9 46Nze nzize kuba musana mu nsi, buli muntu anzikiriza aleme okutuulanga mu kizikiza.#Yok 8:12; 12:35 47Naye awulira ebigambo byange, n'atabikwata, nze simusalira musango: kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okulokola ensi.#Yok 3:17; 8:15, Luk 9:56 48Agaana nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango: ekigambo kye nnayogera kye kirimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero.#Beb 4:12, Kub 19:15 49Kubanga saayogeranga nze ku bwange; naye Kitange eyantuma, ye yandagira bye nteekwa okugamba era n'okwogera. 50Nange mmanyi ng'ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo: kale nze bye njogera, nga Kitange bwe y'abiŋŋamba, bwe ntyo bwe njogera.”#Yok 8:26,28
Trenutno odabrano:
Yokaana 12: LBR
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapistaging.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Fhr.png&w=128&q=75)
Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapistaging.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Fen.png&w=128&q=75)