Yokaana 6
6
1 #
Mat 14:13-21; 15:32-39, Mak 6:32-44; 8:1-10, Luk 9:10-17 Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'agenda emitala w'ennyanja ey'e Ggaliraaya ey'e Tiberiya. 2Ekibiina ekinene ne kimugoberera kubanga baalaba obubonero bwe yakola ku balwadde. 3Yesu n'alinnya ku lusozi n'atuula eyo n'abayigirizwa be. 4#Yok 2:13; 11:55, Luk 22:1N'Okuyitako, embaga y'Abayudaaya, kwali kunaatera okutuuka. 5Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba ekibiina ekinene nga kijja gy'ali, n'agamba Firipo nti Tunaagula wa emmere, bano gye banaalya? 6Yayogera atyo kumukema, ng'amanyi yekka ky'agenda okukola. 7Firipo n'amuddamu nti Emmere egulibwa dinaali ebikumi ebibiri teebabune, buli muntu okulyako akatono. 8Omu ku bayigirizwa be, ye Andereya muganda wa Simooni Peetero, n'amugamba nti 9#2 Bassek 4:42,43Waliwo omulenzi wano alina emigaati etaano egya sayiri n'ebyennyanja bibiri; naye bino binaabagasa ki abenkanidde awo obungi? 10Yesu n'agamba nti Mutuuze abantu. Era waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abasajja ne batuula, omuwendo ng'enkumi ttaano. 11Awo Yesu n'atoola emigaati ne yeebaza; n'agabira bali abatudde; n'ebyennyanja bw'atyo nga bwe baayagala. 12Bwe bakkuta n'agamba abayigirizwa be nti Mukuŋŋaanye obukunkumuka obusigaddewo, waleme okubula ekintu. 13Awo ne babukuŋŋaanya ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri n'obukunkumuka obw'emigaati etaano egya sayiri, bali abaalya bwe baalemwa. 14#Ma 18:15Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi.
15 #
Yok 18:36
Awo Yesu bwe yategeera nga bagenda okujja okumukwata, bamufuule kabaka, n'addayo nate ku lusozi yekka.
16 #
Mat 14:22-33, Mak 6:45-52 Naye obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja; 17ne basaabala mu lyato, baali bawunguka ennyanja okugenda e Kaperunawumu. N'obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali. 18Ennyanja n'esiikuuka, omuyaga mungi nga gukunta. 19Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng'amakumi abiri mu ttaano, oba makumi asatu, ne balaba Yesu ng'atambulira ku nnyanja, ng'asemberera eryato; ne batya. 20Naye n'abagamba nti Nze nzuuno, temutya. 21Awo ne bakkiriza okumuyingiza mu lyato; amangu ago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
22Olunaku olw'okubiri, ekibiina ekyali kiyimiridde emitala w'ennyanja bwe baalaba nga teriiyo lyato ddala, wabula erimu, era nga ne Yesu tasaabadde wamu mu lyato n'abayigirizwa be, naye abayigirizwa be nga bagenda bokka, 23#Yok 6:11(naye amaato amalala gaava e Tiberiya nga gagoba kumpi ne gye baaliira emigaati Mukama waffe bwe yamala okwebaza): 24awo ekibiina bwe baalaba nga Yesu taliiyo, newakubadde abayigirizwa be, bo bennyini ne basaabala mu maato gali ne bajja e Kaperunawumu, nga banoonya Yesu. 25Bwe baamulabira emitala w'ennyanja ne bamugamba nti Labbi, ozze ddi wano? 26Yesu n'abaddamu n'agamba nti Ddala ddala mbagamba nti Munnoonya si kubanga mwalaba obubonero naye kubanga mwalya ku migaati ne mukkuta. 27#Yok 4:14; 5:36, Mat 16:12Temukolerera kyakulya ekiggwaawo, naye ekyokulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga Kitaffe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero. 28Awo ne bamugamba nti Tugire tutya okukola emirimu gya Katonda? 29#1 Yok 3:23Yesu n'addamu n'abagamba nti Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma. 30#Yok 2:18, Mak 8:11Awo ne bamugamba nti Kale kabonero ki ggwe k'okola, tulabe, tukukkirize? okola mulimu ki? 31#Kuv 16:13,14, Zab 78:24Bajjajjaffe baaliiranga emmaanu mu ddungu; nga bwe kyawandiikibwa nti Yabawa emmere okulya eyava mu ggulu. 32#Yok 6:49Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eyava mu ggulu; naye Kitange ye yabawa emmere ey'amazima eva mu ggulu. 33#Yok 6:51Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu. 34Awo ne bamugamba nti Mukama waffe, tuwenga bulijjo emmere eyo. 35#Yok 4:14; 6:48; 7:37Yesu n'abagamba nti Nze mmere ey'obulamu: ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono. 36#Yok 6:26,29Naye n'abagamba nti mundabye, era temukkirizza. 37#Yok 17:6-8, Mat 11:28Buli Kitange gw'ampa, alijja gye ndi: ajja gye ndi sirimugobera bweru n'akatono. 38#Yok 4:34, Mat 26:39Kubanga saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky'ayagala. 39#Yok 10:28,29; 17:12Eyantuma ky'ayagala kino mu bonna be yampa aleme okumbula n'omu naye mmuzuukirize ku lunaku olw'enkomerero. 40#Yok 5:29; 11:24Kubanga Kitange ky'ayagala kye kino buli muntu yenna alaba Omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.
41Awo Abayudaaya ne bamwemulugunyira kubanga yagamba nti Nze mmere eyava mu ggulu. 42#Luk 4:22Ne bagamba nti Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu, gwe tumanyiiko kitaawe ne nnyina? kaakano agamba atya nti Nnava mu ggulu? 43Yesu n'addamu n'abagamba nti Temwemulugunya mwekka na mwekka. 44#Yok 6:65Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw'atamuwalula; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero. 45#Is 54:13, Yer 31:33,34Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi. 46#Yok 1:18Si kubanga waliwo omuntu eyali alabye ku Kitange, wabula eyava eri Katonda, oyo ye yalaba Kitange. 47#Yok 3:16Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza alina obulamu obutaggwaawo. 48#Yok 6:35Nze mmere ey'obulamu. 49#Yok 6:31,32, 1 Kol 10:3,5Bajjajja bammwe baaliiranga emmaanu mu ddungu, ne bafa. 50Eno ye mmere eva mu ggulu, omuntu agiryeko, aleme okufa. 51#Beb 10:5,10Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw'alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe: era emmere gye ndigaba gwe mubiri gwange, olw'obulamu bw'ensi.
52 #
Yok 6:60
Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya? 53Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe. 54Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero. 55Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala, n'omusaayi gwange kye ky'okunywa ddala. 56#Yok 15:4, 1 Yok 3:24; 2:24Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, abeera mu nze, nange mu ye. 57Nga Kitange omulamu bwe yantuma, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange; bw'atyo andya ye aliba omulamu ku bwange. 58Eno ye mmere eyava mu ggulu: si nga bajjajja bwe baalya ne bafa: alya emmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe. 59Ebyo yabyogerera mu kkuŋŋaaniro ng'ayigiriza mu Kaperunawumu.
60Awo bangi ab'omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza? 61Naye Yesu bwe yamanya munda mu ye nti abayigirizwa be beemulugunyira kino, n'abagamba nti Kino kibeesittaza? 62#Yok 3:13kale kiriba kitya bwe muliraba Omwana w'omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye? 63#2 Kol 3:6Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu. 64#Yok 13:11Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza. Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe baali, era n'agenda okumulyamu olukwe bw'ali. 65#Yok 6:44N'agamba nti Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw'atakiweebwa Kitange.
66Ab'oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate. 67Awo Yesu n'agamba ekkumi n'ababiri nti Era nammwe mwagala okugenda? 68#Yok 6:63Simooni Peetero n'amuddamu nti Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo. 69#Yok 1:49; 11:27, Mat 14:33; 16:16Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda. 70Yesu n'abaddamu nti Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n'ababiri, era omu ku mmwe ye setaani? 71Yayogera ku Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda kumulyamu olukwe, ye omu ku kkumi n'ababiri.
Chwazi Kounye ya:
Yokaana 6: LUG68
Pati Souliye
Pataje
Kopye
Ou vle gen souliye ou yo sere sou tout aparèy ou yo? Enskri oswa konekte
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: