Lukka 16
16
1Awo n'agamba abayigirizwa be nabo nti Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we; oyo ne bamuloopa gy'ali ng'asaasaanya ebintu bye. 2N'amuyita n'amugamba nti Kiki kino kye mpulira ku ggwe? bala omuwendo ogw'obuwanika bwo; kubanga toyinza nate kubeera muwanika. 3Oyo omuwanika n'ayogera munda mu ye nti Nnaakola ntya, kubanga mukama wange anziyako obuwanika bwange? sirina galima; n'okusabiriza nkwatibwa ensonyi. 4Mmanyi kye nnaakola, bwe nnaagobebwa mu buwanika, bansembeze mu nnyumba zaabwe. 5Nnaayita buli alina ebbanja lya mukama we, nnaagamba ow'olubereberye nti Mukama wange akubanja ki? 6N'agamba nti Ebigera by'amafuta kikumi. Nnaamugamba nti Twala ebbaluwa yo, otuule mangu owandiike amakumi ataano. 7Ate nnaagamba omulala nti Naawe obanjibwa ki? N'agamba nti Emitwalo gy'eŋŋaano kikumi. Nnaamugamba nti Twala ebbaluwa yo, owandiike kinaana. 8#Bef 5:8, 1 Bas 5:5Awo mukama we n'atendereza oyo omuwanika omulyazaamaanyi kubanga akoze bya magezi: kubanga abaana ab'ebiro bino bagezigezi mu mirembe gyabwe okusinga abaana b'omusana. 9#Luk 14:14, Mat 6:20; 10:40; 19:21Nange mbagamba nti Mwekwanirenga emikwano mu mamona atali mutuukirivu; bw'aliggwaawo, babasembeze mu weema ziri ezitaggwaawo. 10#Luk 19:17Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi. 11Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw'amazima? 12Era bwe mutaabenga beesigwa ku ekyo ekya beene, ekyammwe ani alikibawa? 13#Mat 6:24Tewali muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu n'anyooma omulala. Temuyinza kuweerezanga Katonda ne mamona.
14 #
Mat 23:14
N'Abafalisaayo, abaali abaagazi b'effeeza, ne bawulira ebyo byonna; ne bamusekerera. 15#Luk 18:9-14, Mat 23:28, Zab 7:9, Nge 6:16,17N'abagamba nti Mmwe muumwo abeefuula abatuukirivu mu maaso g'abantu; naye Katonda amanyi emitima gyammwe; kubanga ekigulumizibwa mu bantu kya muzizo mu maaso ga Katonda. 16#Mat 11:12,13Amateeka ne bannabbi byabaawo okutuuka ku Yokaana: okuva olwo enjiri y'obwakabaka bwa Katonda ebuulirwa, era buli muntu abuyingiramu lwa maanyi. 17#Mat 5:18Naye kyangu eggulu n'ensi okuggwaawo, okusinga ennukuta emu ey'amateeka okuggwaawo. 18#Mat 5:32; 19:9Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we n'awasa omulala, ng'ayenze; n'oyo anaawasanga eyagobebwa bba ng'ayenze.
19Awo waaliwo omuntu omugagga eyayambalanga olugoye olw'effulungu ne bafuta ennungi, ng'asanyukanga bulijjo mu kwesiima: 20era waaliwo n'omwavu erinnya lye Laazaalo eyagalamizibwanga ku mulyango gwe, eyali awummusewummuse amabwa, 21#Mat 15:27nga yeegomba okukkuta ebyagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; era embwa nazo zajjanga ne zimukombereranga amabwa ge. 22Awo olwatuuka omwavu n'afa, n'asitulibwa bamalayika n'assibwa mu kifuba kya Ibulayimu. N'omugagga n'afa, n'aziikibwa. 23N'ayimusiza amaaso ge mu Magombe ng'ali mu kulumizibwa, n'alengera Ibulayimu wala, ne Laazaalo ng'ali mu kifuba kye. 24N'ayogerera waggulu n'agamba nti Kitange Ibulayimu, nsaasira, otume Laazaalo, annyike ensonda y'olunwe lwe mu mazzi, ampozeewoze olulimi lwange; kubanga nnumwa mu muliro guno. 25Naye Ibulayimu n'amugamba nti Mwana wange, jjukira nga waweebwanga ebirungi byo mu bulamu bwo, era ne Laazaalo bw'atyo ebibi; naye kaakano ye asanyusibwa, ggwe olumwa. 26Era ku ebyo byonna, wakati waffe nammwe waliwo olukonko oluwanvu olwateekebwawo, abaagala okuva eno okujja gye muli balemenga okuyinza, era balemenga okuva eyo okuyitawo okujja gye tuli. 27N'agamba nti Kale, nkwegayiridde, kitange, omutume mu nnyumba ya kitange; 28kubanga nnina ab'oluganda bataano; abategeeze baleme okujja nabo mu kifo kino ekirimu okulumwa. 29#2 Tim 3:16Naye Ibulayimu n'agamba nti Balina Musa ne bannabbi; babawulirenga abo. 30N'agamba nti Nedda, kitange Ibulayimu; naye omu ku bafu bw'aligenda gye bali balyenenya. 31#Yok 11:45-53N'amugamba nti Nga bwe batawulira Musa ne bannabbi, era newakubadde omu ku bafu bw'alizuukira, talibakkirizisa.
Chwazi Kounye ya:
Lukka 16: LUG68
Pati Souliye
Pataje
Kopye
Ou vle gen souliye ou yo sere sou tout aparèy ou yo? Enskri oswa konekte
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: