Olubereberye 13

13
1 # Lub 12:9 Ibulaamu n'alinnya n'ava mu Misiri, ye ne mukazi we ne byonna bye yalina, ne Lutti wamu naye, ne bagenda mu bukiika obwa ddyo. 2#Lub 24:35, Zab 112:3, Nge 10:22Era Ibulaamu yalina obugagga bungi, ente, ne ffeeza, ne zaabu. 3N'agenda ng'atambula n'ava mu bukiika obwa ddyo n'atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye mwe yasooka okubeera, wakati w'e Beseri ne Ayi; 4#Lub 12:8mu kifo eky'ekyoto kye yakola eyo olubereberye: Ibulaamu n'akaabira eyo erinnya lya Mukama. 5Era ne Lutti, eyagenda ne Ibulaamu, yalina embuzi n'ente n'eweema. 6#Lub 36:7Ensi n'etebayinza bombi okutuula awamu: kubanga ebintu byabwe byali bingi, n'okuyinza ne batayinza kutuula wamu. 7#Lub 12:6; 26:20Ne wabaawo empaka eri abasumba b'ente za Ibulaamu n'abasumba b'ente za Lutti: era Omukanani n'Omuperizi baatuula mu nsi mu nnaku ezo. 8#Zab 133:1, Bik 7:26, 1 Kol 6:7Ibulaamu n'agamba Lutti nti Waleme okubaawo empaka, nkwegayiridde eri nze naawe, n'eri abasumba bange n'abasumba bo; kubanga tuli ba luganda. 9#Lub 20:15; 34:10; 47:6Ensi yonna teri mu maaso go? Yawukana nange nkwegayiridde: obanga oneeroboza omukono ogwa kkono, nange naagenda ku mukono ogwa ddyo; naawe bw'oneeroboza omukono ogwa ddyo, nange naagenda ku mukono ogwa kkono. 10#Lub 2:8; 19:17,24,25,28, Ma 34:3, Zab 107:34Lutti n'ayimusa amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, nga mulimu amazzi mangi wonna wonna, Mukama nga tannazikiriza Sodoma ne Ggomola, nga lufaanana ng'olusuku lwa Mukama, ng'ensi y'e Misiri, ng'ogenda mu Zowaali. 11Awo Lutti ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yoludaani; Lutti n'atambula ebuvanjuba: ne baawukana bokka na bokka. 12Ibulaamu n'atuula mu nsi ya Kanani, ne Lutti n'atuula mu bibuga eby'omu lusenyi, n'ajjulula eweema ye n'agituusa e Sodoma. 13#Lub 18:20, Ez 16:49, 2 Peet 2:7,8N'abantu ab'omu Sodoma baali babi era boonoonyi nnyini mu maaso ga Mukama. 14#Lub 28:14Mukama n'agamba Ibulaamu, Lutti bwe yamala okwawukana naye, nti Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng'oyima mu kifo mw'oli, obukiika obwa kkono n'obwa ddyo n'ebuvanjuba n'ebugwanjuba: 15#Lub 12:7, 2 Byom 20:7, Bik 7:5kubanga ensi yonna gy'olabye, ndigiwa ggwe, n'ezzadde lyo emirembe gyonna. 16#Lub 22:17; 28:14; 32:12, Kubal 23:10, Beb 11:12Era ndifuula n'ezzadde lyo ng'enfuufu ey'oku nsi: era omuntu bw'ayinza okubala enfuufu ey'oku nsi, era n'ezzadde lyo liribalika. 17Golokoka, otambule obune ensi obuwanvu bwayo n'obugazi bwayo; kubanga ndigiwa ggwe. 18#Lub 35:27Ibulaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'atuula awali emivule gya Mamule egiri mu Kebbulooni, n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama.

Արդեն Ընտրված.

Olubereberye 13: LUG68

Ընդգծել

Կիսվել

Պատճենել

None

Ցանկանու՞մ եք պահպանել ձեր նշումները ձեր բոլոր սարքերում: Գրանցվեք կամ մուտք գործեք