1
YOWANNE 1:12
Luganda Bible 2003
Naye abo abaamwaniriza ne bamukkiriza, yabasobozesa okufuuka abaana ba Katonda.
Kokisana
Luka YOWANNE 1:12
2
YOWANNE 1:1
Ensi bwe yali nga tennatondebwa, Kigambo nga w'ali. Kigambo yali ne Katonda, era nga ye omu ne Katonda.
Luka YOWANNE 1:1
3
YOWANNE 1:5
Ekitangaala ne kyakira mu kizikiza, ekizikiza ne kitasobola kuwangula kitangaala.
Luka YOWANNE 1:5
4
YOWANNE 1:14
Kigambo yafuuka omuntu, n'abeera wamu naffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng'ajjudde ekisa era n'amazima. Ekitiibwa ekyo, kye yafuna ye, Omwana omu bw'ati yekka owa Katonda.
Luka YOWANNE 1:14
5
YOWANNE 1:3-4
Katonda yayita mu ye okutonda ebintu byonna. Tewali kintu na kimu ku bitonde, ekyatondebwa w'atali. Obulamu bwali mu ye, era obulamu obwo ne buleeta ekitangaala mu bantu.
Luka YOWANNE 1:3-4
6
YOWANNE 1:29
Ku lunaku olwaddirira, Yowanne n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Laba, Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo, aggyawo ebibi by'ensi.
Luka YOWANNE 1:29
7
YOWANNE 1:10-11
Kigambo yali mu nsi. Katonda yatonda ensi ng'ayita mu ye. Naye Kigambo bwe yali mu nsi, ensi teyamutegeera. Yajja mu nsi ye, abantu be ne batamwaniriza.
Luka YOWANNE 1:10-11
8
YOWANNE 1:9
Ekitangaala kyennyini, ekyakira buli muntu, kyali kijja mu nsi.
Luka YOWANNE 1:9
9
YOWANNE 1:17
Katonda yawa Amateeka ng'ayita mu Musa, kyokka okusaasira era n'amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo.
Luka YOWANNE 1:17
Ndako
Biblia
Bibongiseli
Bavideo