1
YOWANNE 13:34-35
Luganda Bible 2003
“Mbawa ekiragiro ekiggya, mwagalanenga. Nga nze bwe nabaagala mmwe, nammwe bwe muba mwagalananga. Bwe munaayagalananga, bonna kwe banaategeereranga, nga muli bayigirizwa bange.”
Kokisana
Luka YOWANNE 13:34-35
2
YOWANNE 13:14-15
Kale oba nga nze Mukama wammwe, era Omuyigiriza wammwe mbanaazizza ebigere, nammwe kibagwanidde buli omu okunaazanga munne ebigere, kubanga mbawadde ekyokulabirako. Nga bwe nkoze ku mmwe, nammwe bwe mubanga mukola.
Luka YOWANNE 13:14-15
3
YOWANNE 13:7
Yesu n'amuddamu nti: “Kye nkola, ggwe kaakano tokitegeera, naye olikitegeera oluvannyuma.”
Luka YOWANNE 13:7
4
YOWANNE 13:16
Mazima ddala mbagamba nti omuddu takira mukama we, n'omutume tasinga yamutuma.
Luka YOWANNE 13:16
5
YOWANNE 13:17
Oba nga ebyo mubimanyi, muli ba mukisa bwe mubituukiriza.
Luka YOWANNE 13:17
6
YOWANNE 13:4-5
Awo n'ava we yali atudde ng'alya, ne yeeggyako omunagiro gwe, n'akwata ekiremba, ne yeesiba ekimyu. N'ateeka amazzi mu bbenseni, n'atandika okunaaza abayigirizwa ebigere, n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye.
Luka YOWANNE 13:4-5
Ndako
Biblia
Bibongiseli
Bavideo