LUKKA 23
23
Yesu mu maaso ga Pilaato
(Laba ne Mat 27:1-2,11-14; Mak 15:1-5; Yow 18:28-38)
1Awo bonna abaali mu lukiiko ne basituka, ne batwala Yesu eri Pilaato. 2Ne batandika okumuwawaabira nga bagamba nti: “Ono twamusanga atabulatabula abantu b'eggwanga lyaffe, era ng'abagaana okuwa Kayisaari omusolo, era nga yeeyita Kristo, Kabaka.” 3Pilaato n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'ogambye.” 4Awo Pilaato n'agamba bakabona abakulu n'ekibiina ky'abantu nti: “Sizudde musango ku muntu ono.” 5Naye bo ne balumiriza nga bagamba nti: “Asasamaza abantu ng'ayigiriza. Yatandikira Galilaaya, n'ayita mu Buyudaaya bwonna okutuuka wano.”
Yesu mu maaso ga Herode
6Awo Pilaato bwe yawulira ebyo, n'abuuza oba ng'omuntu oyo Mugalilaaya. 7Bwe yamanya nti Yesu ava mu kitundu ekifugibwa Herode, n'amuweereza ewa Herode, era naye eyali mu Yerusaalemu mu nnaku ezo. 8Herode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo, kubanga yali awulidde ebimufaako, era okuva edda yayagalanga okumulaba, era ng'asuubira okulaba bw'akola ekyamagero. 9N'abuuza Yesu ebibuuzo bingi, kyokka Yesu n'atamuddamu n'akatono. 10Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka ne beesimbawo nga bamulumiriza n'obusungu. 11Awo Herode n'abaserikale be ne bamunyooma, ne bamukudaalira, ne bamwambaza olugoye olunekaaneka, ne bamuddiza Pilaato. 12Herode ne Pilaato abaali bakyawaganye nga kino tekinnabaawo, ne bafuuka ba mukwano ku lunaku olwo.
Yesu asalirwa ogw'okufa
(Laba ne Mat 27:15-26; Mak 15:6-15; Yow 18:39–19:16)
13Awo Pilaato n'ayita bakabona abakulu n'abakungu n'ekibiina ky'abantu, 14n'abagamba nti: “Mwaleese omuntu ono gye ndi nga mugamba nti atabulatabula abantu. Laba, mmubuuzizza mu maaso gammwe, ne sizuula musango ku muntu ono mu ebyo bye mumuwawaabira. 15Era ne Herode bw'atyo, kubanga amuzzizza gye tuli. Omuntu ono tewali kye yakola kimusaanyiza kusalirwa gwa kufa. 16Kale nga mmaze okumubonereza, nnaamuta.” [ 17Ku buli Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, Pilaato yateekwanga okuta omusibe gwe baamusabanga.]#23:17 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno (Laba ne Mak 15:6). 18Ekibiina ky'abantu kyonna ne kireekaanira wamu nti: “Ono muzikirize, otuteere Barabba!” 19Barabba oyo yali asibiddwa mu kkomera olw'akajagalalo akaaliwo mu kibuga, n'olw'obutemu.
20Pilaato n'ayogera nabo nate ng'ayagala okuta Yesu. 21Naye bo ne baleekaana nga bagamba nti: “Mukomerere ku musaalaba, mukomerere ku musaalaba!”
22Awo Pilaato n'abagamba omulundi ogwokusatu nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze? Sizudde nsonga ku ye emusaliza gwa kufa. Kale nga mmaze okumubonereza, nnaamuta.” 23Kyokka bo ne beeyongera okuleekaana ennyo nga basaba nti Yesu akomererwe ku musaalaba. 24Pilaato n'asalawo nti kye basabye kikolebwe. 25Awo n'ata oyo gwe baamusaba, eyali aggaliddwa mu kkomera olw'akajagalalo n'obutemu. N'awaayo Yesu nga bwe baagala.
Yesu akomererwa ku musaalaba
(Laba ne Mat 27:32-44; Mak 15:21-32; Yow 19:17-27)
26Awo abaserikale bwe baali batwala Yesu, ne bakwata Simooni Omukireene, eyali ava mu kyalo, ne bamussaako omusaalaba okugwetikka ng'avaako Yesu emabega.
27Ekibiina ky'abantu kinene ne kigoberera Yesu. Mu kibiina ekyo, abakazi ne bagenda nga bakungubaga era nga bakaaba olwa Yesu. 28Kyokka Yesu n'abakyukira n'agamba nti: “Abakazi, ab'e Yerusaalemu, muleke kukaabira nze, naye mwekaabire mwennyini, era mukaabire baana bammwe, 29kubanga ennaku zirituuka, abantu ze baligambiramu nti abakazi abagumba ba mukisa, era embuto ezitazaalangako n'amabeere agatayonsanga, nabyo bya mukisa. 30Olwo baligamba ensozi nti: ‘Mutubuutikire,’ n'obusozi nti: ‘Mutuvuunikire.’#Laba ne Hos 10:8; Kub 6:16 31Ggwe ate we bakolera bino ku muti omubisi, ku mukalu kiriba kitya?”
32Waaliwo abalala babiri, abamenyi b'amateeka, abaatwalibwa okuttibwa awamu ne Yesu. 33Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa eky'Ekiwanga, ne bakomerera awo Yesu ku musaalaba n'abamenyi b'amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono. 34Yesu n'agamba nti: “Kitange, basonyiwe, kubanga tebategeera kye bakola.” Awo ne bagabana engoye ze nga bazikubira akalulu.#Laba ne Zab 22:18 35Abantu ne bayimirira awo nga batunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti: “Yawonyanga balala, yeewonye yennyini, oba ng'ono ye Kristo Omulonde wa Katonda!”#Laba ne Zab 22:7 36Abaserikale nabo ne bajja w'ali, ne bamukudaalira nga bamuwa omwenge omukaatuufu,#Laba ne Zab 69:21 37nga bagamba nti: “Oba nga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weewonye!”
38Era waggulu we waaliwo ekiwandiiko ekiwandiikiddwa nti: “ONO YE KABAKA W'ABAYUDAAYA.” 39Omu ku bamenyi b'amateeka abaawanikibwa ku musaalaba, n'avuma Yesu ng'agamba nti: “Si ggwe Kristo? Weewonye, naffe otuwonye.”
40Kyokka oli omulala n'addamu ng'anenya munne, n'agamba nti: “Ggwe, n'okutya totya Katonda nga tuli ku kibonerezo kye kimu? 41Ku ffe, ggwe nange, kituufu, kubanga twakola ebikolwa ebikitugwanyiza; kyokka ono talina kibi kye yakola.” 42Awo n'agamba nti: “Yesu, onzijukiranga lw'olijjira mu kitiibwa ky'Obwakabaka bwo.” 43Yesu n'amugamba nti “Mazima nkugamba nti olwaleero, onooba nange mu kifo eky'okwesiima.”
Okufa kwa Yesu
(Laba ne Mat 27:45-56; Mak 15:33-41; Yow 19:28-30)
44Awo essaawa zaali nga mukaaga ez'emisana, enjuba n'erekayo okwaka era ekizikiza ne kibikka ensi yonna, okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo. 45Olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi.#Laba ne Kuv 26:31-33 46Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Kitange, nkukwasa omwoyo gwange!” Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'afa.#Laba ne Zab 31:5
47Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale bwe yalaba ebibaddewo, n'atendereza Katonda nga bw'agamba nti: “Ddala ono abadde muntu mulungi!”
48Abantu bonna enkumu, abaali bakuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo, ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu bifuba. 49Kyokka mikwano gya Yesu bonna, n'abakazi abajja naye okuva e Galilaaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo.#Laba ne Luk 8:2-3
Okuziikibwa kwa Yesu
(Laba ne Mat 27:57-61; Mak 15:42-47; Yow 19:38-42)
50-51Waaliwo omusajja erinnya lye Yosefu, eyava mu kibuga ky'omu Buyudaaya ekiyitibwa Arimataya. Yali musajja mulungi era ng'alindirira Obwakabaka bwa Katonda. Yali mukiise mu lukiiko lw'Abayudaaya olukulu, wabula teyakkiriziganya nalwo mu kuteesa ne mu bikolwa byalwo. 52Yosefu ono n'agenda eri Pilaato, n'amusaba omulambo gwa Yesu, 53n'aguwanula, n'aguzinga mu lugoye olweru olulungi. N'aguteeka mu ntaana ey'empuku esimiddwa mu lwazi, era eyali teteekebwangamu muntu. 54Lwali lunaku lwa kweteekateeka, nga Sabbaato eneetera okutandika.
55Abakazi abajja ne Yesu okuva e Galilaaya, ne bagoberera Yosefu, ne balaba entaana, n'omulambo gwa Yesu nga bwe guteekeddwamu. 56Ne baddayo ewaabwe, ne bategeka ebyobuwoowo, n'omuzigo ogw'okusiiga. Ku lunaku lwa Sabbaato ne bawummula ng'etteeka bwe liragira.#Laba ne Kuv 20:10; Ma 5:14
Currently Selected:
LUKKA 23: LB03
Tya elembo
Share
Copy
Olingi kobomba makomi na yo wapi otye elembo na baapareyi na yo nyonso? Kota to mpe Komisa nkombo
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: