Olubereberye Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kino kiyitibwa Olubereberye kubanga kitegeeza entandikwa oba okusooka kwe bintu byonna nga bwe byatondebwa Katonda. Ebiri mu kitabo kino biviira ddala ku butonzi okutuuka mu kiseera ky'abaana ba Isiraeri we basengukira e Misiri nga banoonya emmere. Ekitabo kino kirimu ebitundu ebikulu bibiri: Essuula 1—11 ezitegeeza ebyafaayo by'ensi ebyasooka; essuula 12—50, ezitegeeza bajjajja b'eggwanga lya Isiraeri.
Ebiri mu kitabo
I. Ebyafaayo ebyasooka (1:1—11:26).
A. Obutonzi (1:1—2:3).
B. Abantu abaasooka ku nsi (2:4—4:26).
C. Abantu abaasibuka mu Adamu (5:1—6:8).
D. Abantu abaasibuka mu Nuuwa (6:9—9:29).
E. Abantu abaasibuka mu batabani ba Nuuwa (10:1—11:9).
F. Abantu abaasibuka mu Seemu (11:10-26).
II. Ebyafaayo bya bajjajja ba Isiraeri (11:27—50:26).
A. Ebyafaayo by'abantu abaasibuka mu Teera (11:27—25:18).
B. Ebyafaayo by'abantu abaasibuka mu Isaaka (25:19—37:1).
C. Ebyafaayo by'abantu abaasibuka mu Yakobo (37:2—50:26).

Markering

Deel

Kopiëren

None

Wil je jouw markerkingen op al je apparaten opslaan? Meld je aan of log in