Olubereberye 8
8
Amataba gakoma
1Katonda n'ajjukira Nuuwa, n'ensolo, na buli kiramu, ekyali awamu naye mu lyato. Katonda n'akunsa empewo ku nsi, amazzi ne gatandika okukendeera.#Lub 19:29; 30:22, Kuv 2:24, Zab 104:7 2Ensulo ez'ennyanja n'ebituli eby'omu ggulu ne biggalirwa. Enkuba n'erekera awo okutonnya,#Lub 7:11, 1 Bassek 8:35 3amazzi ne gagenda nga gakendeera mpolampola, okumala ennaku kikumi mu ataano (150)#Lub 7:24 4Ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu, olw'omwezi ogw'omusanvu, eryato ne lituula ku nsozi za Alalati. 5Amazzi ne geeyongera okukendeera obutayosa. Ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi, entikko z'ensozi ne zirabika. 6Awo oluvannyuma lw'ennaku ana (40), Nuuwa n'aggulawo eddirisa ery'eryato lye yakola, 7n'atuma nnamuŋŋoona n'afuluma, n'addiŋŋananga okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi. 8N'atuma ejjiba alabe ng'amazzi gakendedde ku nsi; 9naye ejjiba teryalaba kifo wa kuwummuza ekigere kyalyo, ne likomawo gy'ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali mangi ku nsi yonna. N'afulumya omukono gwe, n'alikwata n'aliyingiza mu lyato. 10N'alindako ennaku endala musanvu, n'alyoka atuma nate ejjiba okuva mu lyato. 11Ejjiba ne likomawo olw'eggulo nga lirina akakoola akabisi ak'omuzeeyituuni mu kamwa kaalyo. Nuuwa n'alyoka amanya nti amazzi gakendedde ku nsi. 12N'alindako ennaku endala musanvu, n'addamu okutuma ejjiba; ku olwo neritakomawo gy'ali. 13Mu mwaka lukaaga mu gumu (601) ogwa Nuuwa, ku lunaku olwolubereberye, olw'omwezi ogwolubereberye, amazzi ne gakalira ku nsi. Nuuwa n'aggyako ekisaanikira ky'eryato, n'atunula, n'alaba ng'amazzi gakalidde ku nsi. 14Ku lunaku olw'abiri mu omusanvu olw'omwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde ddala. 15Katonda n'agamba Nuuwa nti, 16“Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, n'abaana bo, n'abakazi b'abaana bo.#Lub 7:13 17Fulumya ebiramu byonna ebiri naawe mu lyato mu ngeri yabyo: ebibuuka waggulu, ensolo enfuge n'ez'omu nsiko, n'eby'ewalula ku nsi.”#Lub 1:22,28 18Nuuwa n'afuluma, ne mukazi we, n'abaana be n'abakazi baabwe. 19Buli nsolo, na buli ekyewalula ku ttaka, na buli ekibuuka mu bbanga, ne bifuluma mu lyato mu ngeri zaabyo.
Nuuwa Awaayo Ssaddaaka
20Nuuwa n'azimbira Mukama ekyoto; n'alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto.#Lub 7:2,3 21Mukama n'asanyuka olw'evvumbe eddungi; n'ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddamu nate kukolimira nsi olw'ebikolwa by'omuntu; kubanga ebirowoozo by'omutima gwe bibi okuviira ddala mu buto bwe. Era sikyazikiriza nate buli kiramu nga bwe nkoze.#Lub 3:17; 6:5, Kuv 29:19, Leev 1:9, Is 54:9, Ez 20:41, Bar 3:23, Bef 5:2, Baf 4:18 22Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, empewo n'ebbugumu, ekyeya ne ttoggo, emisana n'ekiro tebiggwengawo.”#Yer 5:24; 33:20,25
Obecnie wybrane:
Olubereberye 8: LBR
Podkreślenie
Udostępnij
Kopiuj
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.