1
Yow 4:24
BIBULIYA ENTUKUVU
Kubanga Katonda mwoyo, n'abamusinza bateekwa kumusinziza mu mwoyo ne mu mazima.”
Uporedi
Istraži Yow 4:24
2
Yow 4:23
Kyokka obudde buli kumpi, n'okutuuka butuuse abasinza abatuufu mwe bagenda okusinziza Taata mu mwoyo ne mu mazima; ne Taata abamusinza bwe batyo b'anoonya.
Istraži Yow 4:23
3
Yow 4:14
naye alinywa ku mazzi ge ndimuwa, taliddayo kulumwa nnyonta; amazzi ge ndimuwa, mu ye galifuuka nsulo ya mazzi agaligenda gatumbiira okutuusa mu bulamu obutaggwaawo.”
Istraži Yow 4:14
4
Yow 4:10
Yezu n'amwanukula nti: “Oba kutegeera kirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti: ‘Mpa nnyweko,’ wamma ggwe wandimusabye, ye n'akuwa amazzi amalamu.”
Istraži Yow 4:10
5
Yow 4:34
Yezu n'abagamba nti: “Emmere yange, kwe kukola eyantuma ky'ayagala n'okumaliriza omulimu gwe.
Istraži Yow 4:34
6
Yow 4:11
Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, tolina kya kusenesaamu, n'oluzzi nalwo luwanvu; kale amazzi amalamu onoogaggya wa?
Istraži Yow 4:11
7
Yow 4:25-26
Omukazi n'amugamba nti: “Mmanyi nga Messiya, ayitibwa Kristu, ajja. Oyo bw'alijja alitutegeeza byonna.” Yezu n'amugamba nti: “Nze ayogera naawe nze wuuyo.”
Istraži Yow 4:25-26
8
Yow 4:29
“Mujje mulabe omuntu aŋŋambye byonna bye nakola. Teyandiba nga ye Kristu?”
Istraži Yow 4:29
Početna
Biblija
Planovi
Video zapisi