Olubereberye 4
4
Kayini ne Abeeri
1Adamu ne yeegatta ne Kaawa mukazi we; Kaawa n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti, “Mpeereddwa omusajja okuva eri Mukama.” 2Era nate n'azaala muganda we Abeeri. Abeeri n'aba mulunzi wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi. 3Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'aleeta ku bibala bye yakungula okubiwaayo eri Katonda.#Kuv 23:19 4Abeeri naye n'aleeta ku baana b'endiga ze ababereberye, n'azitta n'awaayo ebitundu byazo ebisinga obusava. Mukama n'asiima Abeeri ne ky'awaddeyo:#Kuv 13:12; 34:19,20, Kubal 18:17, Beb 11:4 5naye Mukama n'atasiima Kayini ne ky'awaddeyo. Kayini n'asunguwala nnyo, n'atunula bubi.#Nge 21:27 6Mukama n'agamba Kayini nti, “Kiki ekikusunguwaza? Era kiki ekikutunuza obubi bw'otyo? 7Singa okoze ekintu ekirungi, tewandisiimiddwa? Naye kubanga okoze bubi, ekibi kiri ku luggi lwo; kyagala okukufuga, naye ggwe oteekwa okukiwangula.”#Mub 8:12,13, Is 3:10,11 8Kayini n'ayogera ne Abeeri muganda we n'amugamba nti, “Tugende mu nnimiro.” Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abeeri muganda we n'amutta.#Mat 23:35, 1 Yok 3:12, Yud 11 9Mukama n'abuuza Kayini nti, “Aluwa Abeeri muganda wo?” N'addamu nti, “Simanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”#Yok 8:44 10Mukama n'amugamba nti, “Okoze ki? Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.#Beb 12:24 11Kale kaakano okolimiddwa, kubanga osse mugandawo, era ensi eyasamizza akamwa kaayo n'ennywa omusaayi gwe.#Kubal 35:33, Ma 27:24 12Okuva kaakano bw'on'olimanga ettaka, teribazenga mmere, era onoobanga mmomboze era omutambuze mu nsi.” 13Kayini n'agamba Mukama nti, “Ekibonerezo ky'ompadde kisusse obunene, siyinza kukigumira. 14Laba, ongobye mu maaso go, sikyalina bukuumi bwo, nfuuse mmomboze era omutambuze mu nsi; na buli anandabanga ananzitanga bussi.”#Lub 9:6, 2 Bassek 24:20, Zab 51:11 15Mukama n'amugamba nti, “Buli alitta Kayini aliwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero, buli anaamulabanga alemenga okumutta.#Ez 9:4,6
16Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'atuula mu nsi eyitibwa Nodi,#4:16: Nodi Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Okubungeeta” mu buvanjuba bwa Edeni.#2 Bassek 13:23, Yer 23:39
Abaana n'abazzukulu ba Kayini
17Kayini ne yeegatta ne mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka. Kayini n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'erinnya ly'omwana we. 18Enoka n'azaala Iradi; Iradi n'azaala Mekuyaeri, Mekuyaeri n'azaala Mesusaeri, Mesusaeri n'azaala Lameka. 19Lameka n'awasa abakazi babiri; owolubereberye erinnya lye Ada, n'owokubiri erinnya lye Zira. 20Ada n'azaala Yabali; oyo ye jjajja w'abalunzi ababeera mu weema. 21Muganda we ye Yubali; oyo ye jjajja w'abo bonna abakuba ennanga n'abafuuyi b'endere. 22Zira n'azaala Tubalukayini, omuweesi wa buli ekisaala eky'ekikomo n'eky'ekyuma; ne mwannyina Tubalukayini ye Naama. 23Lameka n'agamba bakazi be nti,
“Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange;
Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange;
Kubanga n'atta omusajja kubanga yanfumita nze,
Era omuvubuka kubanga yambetenta nze.
24Oba nga Kayini aliwalanirwa eggwanga emirundi musanvu,
Lameka aliwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”
Seezi ne Enosi
25Adamu ne yeegatta ne mukazi we nate; n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Seezi; eritegeeza nti, “Katonda ampadde omwana omulala okudda mu kifo kya Abeeri, Kayini gwe yatta.” 26Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi; mu kiseera ekyo abantu mwe batandikira okukoowoola erinnya lya Mukama.
Trenutno izabrano:
Olubereberye 4: LBR
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
Želiš li da tvoje istaknuto bude sačuvano na svim tvojim uređajima? Kreiraj nalog ili se prijavi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.