Amas 13
13
1Aburaamu n'ayambuka okuva mu Misiri, ye yennyini ne mukazi we na byonna bye yalina, nga ne Loti ali naye, n'alaga e Negevu. 2Aburaamu yali mugagga nnyo, ng'alina ebisolo by'awaka, ffeeza ne zaabu. 3#12,8.Yagendanga, ava wano adda wali, okuva e Negevu okutuuka mu kifo awaali eweema ye mu kusooka wakati wa Beteli ne Ayi, 4mu kifo awaali omwaliiro gwe yali asoose okukola; n'akoowoolera awo erinnya ly'Omukama.
5Ne Loti yennyini eyagendanga ne Aburaamu yalina endiga, ente, ebisolo by'awaka ne weema, 6naye ng'ekitundu tekibamala kubeeramu bombi. Ebintu byabwe byali bingi, nga tebasobola bulungi kubeeramu wamu. 7Olumu oluyombo lwabalukawo wakati w'abalunzi b'amagana ga Aburaamu n'abalunzi b'amagana ga Loti. Mu budde obwo Abakanaani n'Abaperizzi nga be babeera mu kitundu ekyo. 8Aburaamu kwe kugamba Loti nti: “Wattu nze naawe tuleme kuyomba, wadde abalunzi bange okuyomba n'abalunzi bo; anti tuli ba luganda. 9Ensi yonna tekuli awo mu maaso go? Twawukane: bw'onoolaga ku kkono, nze nnaakwata ddyo; ggwe bw'onoolondawo ogwa ddyo, nze nnaalaga ku gwa kkono.”
10Loti bwe yayimusa amaaso n'alaba omuseetwe gwonna ogwa Yorudani, gwonna nga gufukiriddwa, nga guli ng'ennimiro y'Omukama, nga bw'olaba Misiri ng'ogenda e Zowari. Olwo Omukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomorra. 11Loti ne yeeronderawo omuseetwe ogwo gwonna ogw'oku Yorudani, n'asengukira ebuvanjuba. Ab'oluganda ne baawukana. 12Aburaamu n'abeera mu nsi Kanaani; ye Loti n'asenga mu bibuga by'omu museetwe gwa Yorudani, n'asimba weema kumpi ne Sodoma. 13Abantu b'e Sodoma baali babi, nga boonoonyi nnyo mu maaso g'Omukama.
14Loti bwe yamala okwawukana ne Aburaamu, Omukama n'agamba Aburaamu nti: “Yimusa amaaso go, sinziira wano w'oli, laba okuva wano w'oli otunule emambuka n'emaserengeta, ebuvanjuba n'ebugwanjuba. 15#Gal 3,16. Ensi eyo yonna gy'olaba nzija kugikuwa n'ezzadde lyo emirembe gyonna. 16Ezzadde lyo nzija kulyenkanya enfuufu y'ettaka: oba waliwo asobola okubala enfuufu y'ettaka, oyo y'alibala n'ezzadde lyo. 17Situka oyiteeyite mu nsi mu busimba ne mu bukiika kubanga ŋŋenda kugikuwa.” 18Awo Aburaamu n'asitula weema n'agenda n'asenga kumpi n'omuvule omunene ogwa Mamure ow'e Keburoni, eyo n'azimbirayo Omukama omwaliiro.
Entabaalo za bakabaka abasatu
Trenutno izabrano:
Amas 13: BIBU1
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
Želiš li da tvoje istaknuto bude sačuvano na svim tvojim uređajima? Kreiraj nalog ili se prijavi
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.