YOWANNE 20

20
Okuzuukira kwa Yesu
(Laba ne Mat 28:1-8; Mak 16:1-8; Luk 24:1-12)
1Mu makya g'olunaku olusooka mu wiiki, Mariya Magudaleena n'alaga ku ntaana, ng'obudde tebunnalaba bulungi, n'alaba ejjinja nga liggyiddwa ku mulyango, gw'entaana. 2N'olwekyo n'adduka, n'agenda eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala, Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti: “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era tetumanyi gye bamutadde!”
3Awo Peetero n'omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana. 4Bombi baagenda badduka nga bali wamu, wabula omuyigirizwa oli omulala n'asinga Peetero okudduka, n'amusooka ku ntaana. 5N'akutama, n'alaba engoye enjeru, nga ziteekeddwa awo, kyokka n'atayingira.
6Olwo ne Simooni Peetero n'atuuka ng'amugoberera. N'ayingira mu ntaana, n'alaba engoye enjeru, nga ziteekeddwa awo. 7N'alaba n'ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa, era nga kiteekeddwa waakyo. 8Olwo omuyigirizwa oli eyasooka okutuuka ku ntaana, naye n'ayingira. N'alaba, era n'akkiriza. 9Ddala baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Yesu ateekwa okuzuukira.
10Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe.
Yesu alabikira Mariya Magudaleena
(Laba ne Mat 26:9-10; Mak 16:9-11)
11Mariya Magudaleena yali ayimiridde wabweru w'entaana, ng'akaaba. Yali akyakaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana, 12n'alaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye njeru, nga batudde, omu emitwetwe, n'omulala emirannamiro w'ekifo, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa. 13Ne bamubuuza nti: “Owange omukyala, okaabira ki?” Ye n'abaddamu nti: “Mukama wange bamuggyeemu, era simanyi gye bamutadde!”
14Bwe yamala okwogera ebyo, n'akyuka n'atunula emabega, n'alaba Yesu ng'ayimiridde awo, kyokka n'atamanya nti ye Yesu. 15Yesu n'amubuuza nti: “Owange omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Mariya n'alowooza nti omuntu oyo, ye mukuumi w'ennimiro, era n'amugamba nti: “Ssebo, oba nga ggwe wamuggyeemu, mbuulira gye wamutadde, ŋŋende mmuggyeyo.”
16Yesu n'amugamba nti: “Mariya!” Mariya n'akyukira Yesu, n'amugamba mu Lwebureeyi nti: “Rabbooni!” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”). 17Yesu n'amugamba nti: “Tonneekwatako, kubanga sinnalinnya mu ggulu eri Kitange. Naye genda eri baganda bange, obategeeze nti: ‘Nninnya mu ggulu eri Kitange era Kitammwe, eri Katonda wange era Katonda wammwe.’ ”
18Mariya Magudaleena n'agenda, n'abuulira abayigirizwa nti alabye Mukama, era n'abategeeza Mukama by'amugambye.
Yesu alabikira abayigirizwa be
(Laba ne Mat 28:16-20; Mak 16:14-18; Luk 24:36-49)
19Ku lunaku olwo olusooka mu wiiki, obudde bwe bwali buwungedde, abayigirizwa we baali, enzigi zaali nsibe, olw'okutya Abayudaaya. Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti: “Emirembe gibe na mmwe.” 20Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka okulaba Mukama waabwe. 21N'abagamba nate nti: “Emirembe gibe na mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.”
22Bwe yamala okwogera ebyo, n'abafuuwako omukka, n'abagamba nti: “Mufune Mwoyo Mutuukirivu, 23ebibi by'abantu bye munaasonyiwanga, nga bisonyiyiddwa. Eby'abo bye munaagaananga okusonyiwa, abo nga tebibasonyiyiddwa.”#Laba ne Mat 16:19; 18:18
Yesu ne Tomasi
24Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, ayitibwa Didimo (Omulongo), teyali na banne, Yesu bwe yajja. 25Abayigirizwa banne ne bamugamba nti: “Tulabye Mukama waffe.” Kyokka ye n'abagamba nti: “Okuggyako nga ndabye enkovu ez'emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo, era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”
26Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu ng'era bali mu nnyumba, Tomasi naye ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga nsibe, n'ayimirira wakati mu bo, n'agamba nti: “Emirembe gibe na mmwe.”
27Awo n'agamba Tomasi nti: “Leeta wano olunwe lwo, era laba ebibatu byange. Era leeta ekibatu kyo, okiteeke mu mbiriizi zange. Leka kuba atakkiriza, naye akkiriza.”
28Tomasi n'amuddamu nti: “Mukama wange, era Katonda wange!” 29Yesu n'amugamba nti: “Olw'okuba ng'ondabye, kyovudde okkiriza? Ba mukisa abakkiriza nga tebalabye.”
Ekyawandiisa ebigambo bino
30Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng'abayigirizwa be balaba, ebitawandiikiddwa mu kitabo kino. 31Naye bino biwandiikiddwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda, era olw'okukkiriza okwo, mulyoke mufune obulamu mu ye.

Nu markerat:

YOWANNE 20: LB03

Märk

Dela

Kopiera

None

Vill du ha dina höjdpunkter sparade på alla dina enheter? Registrera dig eller logga in