YOWANNE 9
9
Yesu awonya omuntu eyazaalibwa nga muzibe
1Yesu bwe yali ng'ayitawo, n'alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe. 2Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, ono okuzaalibwa nga muzibe, ani yayonoona, ono yennyini, oba bazadde be?”
3Yesu n'addamu nti: “Ono teyayonoona, wadde abazadde be, wabula yazaalibwa nga muzibe, eby'amaanyi Katonda by'akola biryoke biragibwe ku ye. 4Ffe tuteekwa okukola emirimu gy'oyo eyantuma, ng'obudde bukyali misana. Ekiro kijja, omuntu ky'atayinza kukoleramu. 5Nga nkyali ku nsi, ndi kitangaala ekigyakira.”#Laba ne Mat 5:14; Yow 8:12
6Bwe yamala okwogera ebyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'asiiga muzibe ettaka eryo ku maaso, 7n'amugamba nti: “Genda onaabe mu kidiba ky'e Silowaamu” (ekitegeeza “Eyatumibwa”). Awo omuntu oyo n'agenda, n'anaaba, n'adda ng'alaba.
8Ab'omuliraano n'abalala abaamulabanga ng'asabiriza, ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyatuulanga n'asabiriza?” 9Abamu ne bagamba nti: “Ye wuuyo.” Abalala ne bagamba nti: “Nedda, amufaanana bufaananyi.” Ye n'agamba nti: “Ye nze.”
10Ne bamubuuza nti: “Kale amaaso go gaazibuka gatya?” 11Ye n'addamu nti: “Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'alinsiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti: ‘Genda ku Silowaamu onaabe.’ Ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nsobola okulaba.”
12Ne bamubuuza nti: “Ali ludda wa oyo?” N'addamu nti: “Simanyi.”
Abafarisaayo bakemereza eyawonyezebwa
13Awo eyali muzibe ne bamutwala eri Abafarisaayo. 14Olunaku olwo, Yesu lwe yatabulirako ettaka, n'azibula omuntu oyo amaaso, lwali lwa Sabbaato. 15Awo Abafarisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo nga bwe yazibuka amaaso. N'abagamba nti: “Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nsobola okulaba.”
16Abafarisaayo abamu ne bagamba nti: “Omuntu oyo eyakola ekyo tayinza kuba nga yava wa Katonda, kubanga takwata tteeka lya Sabbaato.” Naye abalala ne bagamba nti: “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola ebyewuunyo ebyenkanidde awo?” Ne wabaawo obutakkiriziganya mu bo.
17Awo eyali muzibe ne baddamu okumubuuza nti: “Oyo nga bwe yakuzibula amaaso, ggwe omuyita otya?” Ye n'addamu nti: “Mulanzi.”
18Naye Abayudaaya ne batakkiriza ng'omuntu oyo yali muzibe, oluvannyuma n'asobola okulaba, okutuusa lwe baayita bazadde be, 19ne bababuuza nti: “Ono ye mwana wammwe, gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe? Kale kaakano kiki ekimusobozesezza okulaba?”
20Abazadde be ne baddamu nti: “Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe. 21Naye tetumanyi kimusobozesezza kulaba kaakano, era eyamuzibula amaaso, ffe tetumumanyi. Mumubuuze, muntu mukulu, aneeyogerera.”
22Bazadde be baayogera bwe batyo lwa kutya Bayudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamaze okukkaanya nti buli muntu ayatula nti Yesu ye Kristo, wa kugobebwa mu kkuŋŋaaniro. 23Bazadde be kyebaava bagamba nti: “Muntu mukulu, mubuuze ye.”
24Omulundi ogwokubiri ne bayita oyo eyali muzibe, ne bamugamba nti: “Gulumiza Katonda, oyogere amazima.#9:24 Gulumiza…oyogere amazima: Oba “Yogera amazima mu maaso ga Katonda.” Oba “Layira mu maaso ga Katonda, oyogere amazima.” Ffe tumanyi ng'omuntu oyo mwonoonyi.”
25Ye n'addamu nti: “Oba mwonoonyi, simanyi. Kye mmanyi, nali muzibe, naye kaakano ndaba.”
26Ne bamubuuza nti: “Kiki kye yakukolako? Yakuzibula atya amaaso?”
27N'abaddamu nti: “Nababuulidde dda ne mutawuliriza. Kiki ate ekibaagaza okuwulira omulundi ogwokubiri? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?”
28Ne bamuvuma, era ne bagamba nti: “Ggwe muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 29Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa. Naye oyo tetumanyi gy'ava.”
30Omuntu ono n'abaddamu nti: “Kino kitalo, mmwe obutamanya gy'ava, sso nga yanzibula amaaso! 31Tumanyi nga Katonda aboonoonyi tabawulira, wabula awulira abo abamussaamu ekitiibwa, era abakola by'ayagala. 32Okuva edda n'edda tewawulirwanga yali azibudde maaso ga muntu yazaalibwa nga muzibe. 33Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kintu na kimu.”
34Ne bamugamba nti: “Ggwe eyazaalibwa era eyakulira mu bibi, ggwe oyigiriza ffe?” Ne bamusindiikiriza ebweru.
Obuzibe bw'amaaso obw'omwoyo
35Yesu n'awulira nga bamusindiikirizza ebweru. Bwe yamusanga n'amugamba nti: “Ggwe okkiriza Omwana w'Omuntu?” 36Ye n'amuddamu nti: “Ssebo, ye ani mmukkirize?”
37Yesu n'amugamba nti: “Omulabye! Ye wuuyo ayogera naawe.” 38Ye n'agamba nti: “Mukama wange, nzikiriza.” N'asinza Yesu.
39Yesu n'agamba nti: “Najja ku nsi okusala omusango, ababadde batalaba balabe, ate ababadde balaba, babe bamuzibe.”
40Abafarisaayo abamu abaali awo ne Yesu, ne bawulira ng'ayogera bw'atyo, ne bamubuuza nti: “Kwe kugamba naffe tuli bamuzibe?”
41Yesu n'abagamba nti: “Singa mubadde bamuzibe, temwandibadde na kibi. Naye kaakano nga bwe mugamba nti: ‘Tulaba’, ekibi kyammwe kibasigalako.”
Nu markerat:
YOWANNE 9: LB03
Märk
Dela
Kopiera
Vill du ha dina höjdpunkter sparade på alla dina enheter? Registrera dig eller logga in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.