Logo ng YouVersion
Hanapin ang Icon

Olubereberye 18

18
1 # Lub 13:18 Mukama n'amulabikira awali emivule gya Mamule, bwe yali ng'atudde mu mulyango mu ttuntu; 2#Lub 19:1, Beb 13:2n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge: awo bwe yabalaba, n'ava mu mulyango gw'eweema n'adduka mbiro okubasisinkana, n'avuunama, 3n'ayogera nti Mukama wange, oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, tova wali muddu wo, nkwegayiridde: 4#Lub 19:2; 43:24, Luk 7:44, Yok 13:14, 1 Tim 5:10kale nno baleete otuzzi, munaabe ebigere, muwummulire wansi w'omuti: 5nange naaleeta akamere, musanyuke emitima gyammwe; ne mulyoka mugenda: kubanga mutuuse eri omuddu wammwe. Ne boogera nti Kola bw'otyo, nga bw'oyogedde. 6Ibulayimu n'ayanguwa n'ayingira mu weema eri Saala n'ayogera nti Teekateeka mangu ebigero bisatu eby'obutta, obugoye, ofumbe emmere. 7Ibulayimu n'adduka mbiro eri ekisibo, n'akima ennyana eŋŋonvu ennungi, n'agiwa omuddu; n'ayanguwa okugifumba. 8N'addira omuzigo, n'amata, n'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso gaabwe; n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya. 9Ne bamugamba nti Ali ludda wa Saala mukazi wo? N'ayogera nti Laba, ali mu weema. 10#Lub 21:2, 2 Bassek 4:16, Bar 9:9N'ayogera nti Sirirema kukomawo w'oli ekiseera bwe kiridda; era, laba, Saala mukazi wo alizaala omwana ow'obulenzi. Saala n'awulira mu mulyango gw'eweema, eyali ennyuma we. 11#Lub 17:17, Bar 4:19, Beb 11:11,12Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye, era nga bayitiridde obukadde; so nga Saala takyabeera ng'empisa ey'abakazi bw'eri. 12#Luk 1:18, 1 Peet 3:6Saala n'aseka munda ye, ng'ayogera nti Nga mmaze okukaddiwa ndisanyuka, era ne mukama wange ng'akaddiye? 13Mukama n'agamba Ibulayimu nti Kiki ekimusesezza Saala, ng'ayogera nti Mazima ndizaala omwana nga nkaddiye? 14#Yob 42:2, Yer 32:17, Zek 8:6, Mat 19:16, Luk 1:37, Bar 4:21; 9:9Waliwo ekirema Mukama? Mu biro ebyateekebwawo ndikomawo w'oli, ekiseera bwe kiridda, ne Saala alizaala omwana ow'obulenzi. 15Saala n'alyoka yeegaana, ng'ayogera nti Sisese: kubanga yatya. N'ayogera nti Nedda; naye okuseka osese.
16Abasajja ne bagolokoka okuva eyo, ne batunuulira e Sodoma: Ibulayimu n'agenda nabo okubawerekerako. 17#Zab 25:14, Am 3:7, Yok 15:15Mukama n'ayogera nti Ibulayimu naamukisa kye nkola? 18#Lub 12:3kubanga Ibulayimu talirema kufuuka ggwanga ddene ery'amaanyi, era amawanga gonna ag'omu nsi galiweerwa omukisa mu ye. 19#Ma 4:9, Yos 24:15Kubanga kyennava mmumanya, alyoke abalagire abaana be n'ennyumba ye eriddawo, okukwatanga ekkubo lya Mukama, okukolanga eby'obutuukirivu n'eby'ensonga; Mukama alyoke aleete ku Ibulayimu bye yamwogerako. 20#Lub 4:10; 19:13, Yak 4:5Mukama n'ayogera nti Kubanga okukaaba okw'e Sodoma ne Ggomola kunene, era kubanga okwonoona kwabwe kwa kitalo: 21#Lub 11:5, Kuv 3:8nnakka kaakano ndabe nga bakolera ddala ng'okukaaba kwayo bwe kuli, okwatuuka eri nze; era obanga tekyali bwe kityo, naamanya. 22#Lub 19:1, Zab 106:23Abasajja ne bava eyo, ne bagenda e Sodoma: naye Ibulayimu ng'akyayimiridde mu maaso ga Mukama. 23#Lub 20:4, Kubal 16:22, 2 Sam 24:17Ibulayimu n'asembera, n'ayogera nti Olizikiriza abatuukirivu awamu n'ababi? 24Mpozzi mu kibuga mulimu abatuukirivu ataano: olizikiriza ekifo n'otokisonyiwa ku bwa batuukirivu ataano abakirimu? 25#Yob 8:3,20; 34:10, Zab 58:11, Bar 3:5,6Kitalo okole bw'otyo, okutta abatuukirivu awamu n'ababi; n'okwenkana abatuukirivu ne benkana n'ababi; kitalo ekyo: Omulamuzi w'ensi zonna talikola bya butuukirivu? 26#Yer 5:1, Ez 22:30, Mat 24:22Mukama n'ayogera nti Bwe nnaalaba mu Sodoma abatuukirivu ataano munda mu kibuga, ne ndyoka nsonyiwa ekifo kyonna ku bwabwe. 27#Luk 18:1Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti Laba nno, ngezezza nze okwogera ne Mukama newakubadde nga ndi nfuufu bufuufu n'evvu: 28mpozzi ku batuukirivu ataano kunaabulako abataano: olizikiriza ekibuga kyonna kubanga abataano babulako? N'ayogera nti Sirikizikiriza bwe nnaalabayo ana mu abataano. 29N'ayogera naye nate era nti Mpozzi munaalabikamu ana. N'ayogera nti Sirikola bwe ntyo ku bw'ana. 30N'ayogera nti Nkwegayiridde, Mukama tasunguwala, nange ka njogere: mpozzi munaalabikamu asatu. N'ayogera nti Sirikola bwe ntyo, bwe nnaalabayo asatu. 31N'ayogera nti Laba nno, ngezezza nze okwogera ne Mukama: mpozzi munaalabikamu abiri. N'ayogera nti Sirikizikiriza, ku bw'abiri abo. 32#Balam 6:39N'ayogera nti Nkwegayiridde, Mukama tasunguwala, nange ka njogere nate omulundi guno ogumu gwokka: mpozzi munaalabikamu ekkumi. N'ayogera nti Sirikizikiriza ku bw'ekkumi abo. 33Mukama ne yeegendera, bwe yamala okwogera ne Ibulayimu: Ibulayimu n'addayo mu kifo kye.

Kasalukuyang Napili:

Olubereberye 18: LUG68

Haylayt

Ibahagi

Kopyahin

None

Gusto mo bang ma-save ang iyong mga hinaylayt sa lahat ng iyong device? Mag-sign up o mag-sign in