YOWANNE 1
1
Kigambo ow'obulamu
1Ensi bwe yali nga tennatondebwa, Kigambo nga w'ali. Kigambo yali ne Katonda, era nga ye omu ne Katonda. 2Okuviira ddala olubereberye, Kigambo yali ne Katonda. 3Katonda yayita mu ye okutonda ebintu byonna. Tewali kintu na kimu ku bitonde, ekyatondebwa w'atali. 4Obulamu bwali mu ye, era obulamu obwo ne buleeta ekitangaala mu bantu. 5Ekitangaala ne kyakira mu kizikiza, ekizikiza ne kitasobola kuwangula kitangaala.
6Katonda yatuma omuntu, erinnya lye Yowanne,#Laba ne Mat 3:1; Mak 1:4; Luk 3:1-2 7n'ajja okutegeeza abantu ebifa ku kitangaala. Yajja okubategeeza, bonna balyoke bawulire era bakkirize. 8Yowanne ono si ye yali ekitangaala, wabula yajja ategeeze abantu ebifa ku kitangaala. 9Ekitangaala kyennyini, ekyakira buli muntu, kyali kijja mu nsi.
10Kigambo yali mu nsi. Katonda yatonda ensi ng'ayita mu ye. Naye Kigambo bwe yali mu nsi, ensi teyamutegeera. 11Yajja mu nsi ye, abantu be ne batamwaniriza. 12Naye abo abaamwaniriza ne bamukkiriza, yabasobozesa okufuuka abaana ba Katonda. 13Baafuuka abaana ba Katonda, mu ngeri eteri ya bulijjo abantu gye bazaalibwamu, wabula Katonda yennyini ye Kitaabwe.
14Kigambo yafuuka omuntu, n'abeera wamu naffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng'ajjudde ekisa era n'amazima. Ekitiibwa ekyo, kye yafuna ye, Omwana omu bw'ati yekka owa Katonda. 15Yowanne yakangula eddoboozi ng'amwogerako nti: “Ono gwe nayogerako, bwe nagamba nti: ‘Oyo anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga yabaawo nga nze sinnabaawo.’ ”
16Ku bugagga bwe obutakoma, ffenna kwe twagabana, ng'atuwa ebirabo eby'okumukumu. 17Katonda yawa Amateeka ng'ayita mu Musa, kyokka okusaasira era n'amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo. 18Tewali yali alabye Katonda, wabula Omwana we omu yekka, nga ye omu ne Katonda era abeerera ddala okumpi ne Kitaawe, ye yatubuulira Katonda bw'ali.
Obubaka bwa Yowanne Omubatiza
(Laba ne Mat 3:1-12; Mak 1:1-8; Luk 3:1-18)
19Bino bye bigambo Yowanne Omubatiza bye yayogera, Abayudaaya ab'omu Yerusaalemu bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti: “Ggwe ani?” 20Teyagaana kuddamu, wabula yayatulira ddala nti: “Si nze Kristo.”
21Ne bamubuuza nti: “Kale ggwe ani? Ggwe Eliya?” Yowanne n'addamu nti: “Nedda.”#Laba ne Ma 18:15,18; Mal 4:5
22Awo ne bamugamba nti: “Abaatutumye tunaabagamba nti ggwe ani? Weeyita otya?”
23N'addamu nti: “Nze ddoboozi ly'oyo ayogerera mu ddungu nti: ‘Mutereeze ekkubo lya Mukama,’ nga Yisaaya omulanzi bwe yayogera.”#Laba ne Yis 40:3
24Abaatumibwa baali ba mu Bafarisaayo. 25Awo ne babuuza Yowanne nti: “Kale lwaki obatiza oba nga si ggwe Kristo oba Eliya, oba Omulanzi oli?”
26Yowanne n'abaddamu nti: “Nze mbatiza na mazzi, naye wakati mu mmwe wayimiriddewo gwe mutamanyi, 27anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.”
28Ebyo byabaawo e Betaniya, emitala w'omugga Yorudaani. Yowanne gye yabatirizanga.
Omwana gw'Endiga owa Katonda
29Ku lunaku olwaddirira, Yowanne n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Laba, Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo, aggyawo ebibi by'ensi. 30Ye wuuyo gwe nayogerako nti: ‘Waliwo omuntu anvaako emabega, ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’ 31Nange nali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n'amazzi, ye alyoke amanyibwe abantu ba Yisirayeli.”
32Yowanne n'ayatula ng'agamba nti: “Nalaba Mwoyo ng'ava mu ggulu, ng'afaanana ng'enjiibwa, ng'akka ku ye. 33Nze nali sinnamumanya, wabula Katonda eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaŋŋamba nti: ‘Gw'oliraba nga Mwoyo akka n'abeera ku ye, ye wuuyo abatiza ne Mwoyo Mutuukirivu.’ 34Ekyo nakiraba, era mbategeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda.”
Abayigirizwa ba Yesu ababereberye
35Ku lunaku olwaddirira, era Yowanne yali akyali awo ng'ayimiridde wamu n'ababiri ku bayigirizwa be, 36n'alaba Yesu ng'atambula, n'agamba nti: “Laba Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo!”
37Abayigirizwa bombi ne bamuwulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu. 38Awo Yesu n'akyuka n'atunula emabega, n'abalaba nga bamugoberera, n'ababuuza nti: “Munoonya ki?” Ne bamuddamu nti: “Rabbi, osula wa?” (Rabbi, amakulu gaakyo, Muyigiriza).
39Yesu n'abagamba nti: “Mujje mulabeyo.” Ne bagenda ne balaba gy'asula, ne bamala naye olunaku olwo. Obudde bwali nga essaawa kkumi ez'olweggulo.
40Omu ku abo abaawulira Yowanne ng'ayogera ne bagenda ne Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni. 41Ono yasooka kusanga muganda we Simooni, n'amugamba nti: “Messiya, tumulabye.” (Messiya, kwe kugamba nti “Kristo,” ekitegeeza nti “Eyafukibwako Omuzigo”). 42N'aleeta Simooni eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti “Ggwe Simooni, omwana wa Yona, onooyitibwanga Keefa” (Keefa ye Peetero, ekitegeeza nti “Lwazi”).
Yesu ayita Filipo ne Natanayili
43Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'asalawo okugenda e Galilaaya. N'asanga Filipo, n'amugamba nti: “Yitanga nange.” 44Filipo yali w'e Betusayida, ekibuga Andereya ne Peetero gye baabeeranga.
45Filipo n'asanga Natanayili, n'amugamba nti: “Oyo Musa gwe yayogerako mu Kitabo ky'Amateeka, era n'abalanzi gwe baayogerako mu bye baawandiika, tumulabye. Ye Yesu ow'e Nazaareeti.”
46Natanayili n'amubuuza nti: “E Nazaareeti eyinza okuvaayo akalungi?” Filipo n'amuddamu nti: “Jjangu olabe.”
47Yesu bwe yalaba Natanayili ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti: “Laba Omuyisirayeli wawu, ataliimu bukuusa!”
48Natanayili n'amubuuza nti: “Wammanyira wa?” Yesu n'amuddamu nti: “Nakulabye ng'oli wansi w'omuti omutiini, Filipo nga tannakuyita.”
49Natanayili n'amuddamu nti: “Muyigiriza, ggwe Mwana wa Katonda, ggwe Kabaka wa Yisirayeli!”
50Yesu n'amugamba nti: “Okkirizza olw'okuba nga nkugambye nti nakulabye ng'oli wansi w'omuti omutiini? Oliraba ebisinga ebyo.” 51Era n'amugamba nti: “Mazima ddala nkugamba nti muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku Mwana w'Omuntu.”#Laba ne Nta 28:12
Đang chọn:
YOWANNE 1: LB03
Tô màu
Chia sẻ
Sao chép
Bạn muốn lưu những tô màu trên tất cả các thiết bị của mình? Đăng ký hoặc đăng nhập
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.