1
Yokaana 14:27
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga.
Compare
Explore Yokaana 14:27
2
Yokaana 14:6
Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.
Explore Yokaana 14:6
3
Yokaana 14:1
Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize.
Explore Yokaana 14:1
4
Yokaana 14:26
Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.
Explore Yokaana 14:26
5
Yokaana 14:21
Alina ebiragiro byange, n'abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga.
Explore Yokaana 14:21
6
Yokaana 14:16-17
Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe. Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe.
Explore Yokaana 14:16-17
7
Yokaana 14:13-14
Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana. Bwe munansabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga.
Explore Yokaana 14:13-14
8
Yokaana 14:15
Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange.
Explore Yokaana 14:15
9
Yokaana 14:2
Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo.
Explore Yokaana 14:2
10
Yokaana 14:3
Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.
Explore Yokaana 14:3
11
Yokaana 14:5
Tomasi n'amugamba nti Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda; ekkubo tulimanyi tutya?
Explore Yokaana 14:5
Home
Bible
Plans
Videos