Yokaana 14
14
1 #
Yok 14:27, Mak 11:22 Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize. 2Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. 3#Yok 12:26; 17:24Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo. 4Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi. 5Tomasi n'amugamba nti Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda; ekkubo tulimanyi tutya? 6#Beb 10:20, Mat 11:27, Yok 11:25, Bar 5:1,2Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze. 7Singa muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mumutegeera era mumulabye. 8Firipo n'amugamba nti Mukama waffe, tulage Kitaffe, kale kinaatumala. 9#Yok 12:45, Beb 1:3, Mat 17:17Yesu n'amugamba nti Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti tulage Kitaffe? 10#Yok 12:49Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw'abeera mu nze akola emirimu gye. 11#Yok 14:20, Yok 10:25,38Munzikirize nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange mu nze: oba munzikirize olw'emirimu gyokka. 12#Mak 16:19,20Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola; era alikola egisinga egyo obunene; kubanga nze ŋŋenda eri Kitange. 13#Yok 15:7, Mak 11:24, 1 Yok 5:14Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana. 14#Yok 16:23,24Bwe munansabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga. 15#Yok 15:10, 1 Yok 5:3Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. 16#Yok 14:26; 15:26; 16:7, 1 Yok 2:1Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe. 17#Yok 7:39; 16:13, Mat 10:20, Bar 8:26Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe. 18Siribaleka bamulekwa; nkomawo gye muli. 19#Yok 16:16Esigadde ekiseera kitono, ensi obutandaba nate; naye mmwe mundaba: kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu. 20#Yok 17:21-23Ku lunaku olwo mulitegeera mmwe nga nze ndi mu Kitange, nammwe mu nze, nange mu mmwe. 21#2 Kol 3:18, 1 Yok 5:3Alina ebiragiro byange, n'abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga. 22#Bik 10:41Yuda (atali Isukalyoti) n'amugamba nti Mukama waffe, kibadde kitya ggwe okugenda okutulabikira ffe, so si eri ensi? 23#Yok 13:34; 14:21, Nge 8:17, Mat 18:20; 28:20, Bef 3:17, 2 Kol 6:16Yesu n'amuddamu n'amugamba nti Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tunaatuulanga gy'ali. 24#Yok 7:16, 1 Yok 2:5Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma.
25Ebigambo ebyo mbabuulidde nga nkyali nammwe. 26#Yok 14:16, Mat 10:19Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba. 27#Yok 14:1; 16:23, Baf 4:7Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga. 28#Yok 14:3,6,18Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu. 29#Yok 13:19Kaakano mbagambye nga tekinnaba kubaawo, lwe kiribaawo mulyoke mukkirize. 30#Yok 12:31, Bef 2:2Sikyayogera nnyo nate nammwe; kubanga afuga ensi ajja: naye tandiiko kigambo; 31#Yok 10:18, Mat 26:46, Mak 14:42naye ensi etegeere nga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano.
Currently Selected:
Yokaana 14: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.