Yokaana 15
15
1 #
Yer 2:21, Zab 80:8 Nze muzabbibu ogw'amazima, ne Kitange ye mulimi. 2#Mat 15:13Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo: na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okubala. 3Mmwe kaakano mumaze okuba abalongoofu olw'ekigambo kye mbagambye. 4Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. 5#1 Kol 12:12,27, 2 Kol 3:5Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola. 6#Mat 3:10; 13:40Omuntu bw'atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, akala; bagakuŋŋaanya, bagasuula mu muliro, ne gaggya. 7#Mak 11:24Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga. 8#Mat 5:16Mukino Kitange agulumizibwa, mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange. 9Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbagadde mmwe: mubeerenga mu kwagala kwange. 10#Yok 8:29; 14:15, 1 Yok 2:4,8Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe. 11#Yok 17:13Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mu mmwe, era essanyu lyammwe lituukirire. 12#Yok 13:34, 1 Yok 3:11, Mak 12:30Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe. 13#Yok 10:12, 1 Yok 3:16Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 14#Yok 8:31, Mat 12:50; 28:20Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira. 15Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanyi mukama we by'akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange mbibabuulidde mmwe. 16#Yok 6:70; 13:18Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga. 17Mbalagidde bino, mwagalanenga. 18#Yok 7:7, 1 Yok 3:13Ensi bw'ebakyawanga mumanyi nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe. 19#1 Yok 4:5, Yok 17:14, Luk 6:22Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa. 20#Yok 13:16, Mat 10:24Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjiggannya nze, nammwe banaabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe banaakikwatanga. 21#Yok 16:3, Mat 5:11; 10:22, Mak 13:13Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw'erinnya lyange, kubanga tebamumanyi eyantuma. 22Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi; naye kaakano tebalina kya kuwoza olw'ekibi kyabwe. 23#1 Yok 2:23, Luk 10:16Ankyawa nze akyawa ne Kitange. 24#Yok 14:11Singa saakolera mu bo mirimu egitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi; naye kaakano balabye ne bankyawa ne Kitange. 25#Zab 35:19; 69:4Naye ekigambo kituukirire ekyawandiikibwa mu mateeka gaabwe nti Bankyayira bwereere. 26#Yok 14:26, Luk 24:49Naye Omubeezi bw'alijja, gwe ndibatumira ava eri Kitange, Omwoyo ow'amazima, ava eri Kitange, oyo alitegeeza ebyange: 27#Luk 1:2, Bik 1:8; 5:32era nammwe mutegeeza ebyange kubanga okuva ku lubereberye mwali nange.
Currently Selected:
Yokaana 15: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.