1
Yokaana 15:5
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola.
Compare
Explore Yokaana 15:5
2
Yokaana 15:4
Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze.
Explore Yokaana 15:4
3
Yokaana 15:7
Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga.
Explore Yokaana 15:7
4
Yokaana 15:16
Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga.
Explore Yokaana 15:16
5
Yokaana 15:13
Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.
Explore Yokaana 15:13
6
Yokaana 15:2
Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo: na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okubala.
Explore Yokaana 15:2
7
Yokaana 15:12
Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe.
Explore Yokaana 15:12
8
Yokaana 15:8
Mukino Kitange agulumizibwa, mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange.
Explore Yokaana 15:8
9
Yokaana 15:1
Nze muzabbibu ogw'amazima, ne Kitange ye mulimi.
Explore Yokaana 15:1
10
Yokaana 15:6
Omuntu bw'atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, akala; bagakuŋŋaanya, bagasuula mu muliro, ne gaggya.
Explore Yokaana 15:6
11
Yokaana 15:11
Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mu mmwe, era essanyu lyammwe lituukirire.
Explore Yokaana 15:11
12
Yokaana 15:10
Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe.
Explore Yokaana 15:10
13
Yokaana 15:17
Mbalagidde bino, mwagalanenga.
Explore Yokaana 15:17
14
Yokaana 15:19
Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa.
Explore Yokaana 15:19
Home
Bible
Plans
Videos