YouVersion Logo
Search Icon

Yokaana 16

16
1 # Yok 14:29 Ebyo mbibabuulidde muleme okusittazibwanga. 2#Yok 9:22, Mat 5:11; 24:9, Luk 6:22Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro; weewaawo, ekiseera kijja, buli anaabattanga anaalowoozanga ng'aweerezza Katonda. 3#Yok 15:21N'ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamutegeera newakubadde nze. 4#Luk 22:53, Yok 17:12Naye ebyo mbibabuulidde, era ekiseera kyabyo bwe kituukanga mujjukire nga nze nnababuulira. N'ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe. 5#Yok 7:33Naye kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; era tewali ku mmwe ambuuza nti Ogenda wa? 6Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku. 7#Yok 14:16,26Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli. 8#1 Kol 14:24, Beb 4:12Ye bw'alijja, alirumiriza ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'omusango; 9#Yok 3:18, Bar 1:18olw'ekibi, kubanga tebanzikiriza nze; 10#Bik 5:31, Bar 4:25olw'obutuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, so nammwe temukyandaba nate; 11#Yok 12:31; 14:30olw'omusango, kubanga omukulu w'ensi eno asaliddwa omusango. 12#1 Kol 3:1Nkyalina bingi okubabuulira, naye temuyinza kubigumiikiriza kaakano. 13#Yok 14:26, 1 Yok 2:27Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by'anaawuliranga by'anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja. 14Oyo anangulumizanga nze: kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe. 15#Yok 17:10Byonna byonna Kitange by'ali nabyo bye byange: kyenvudde ŋŋamba nti Anaatoolanga ku byange n'abuulira mmwe. 16#Yok 14:19Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba nate; era nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba. 17Abayigirizwa be abamu kyebaava boogera bokka na bokka nti Kiki kino ky'atugamba nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba; nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba; era nti Kubanga ŋŋenda eri Kitange? 18Kyebaava bagamba nti Kiki kino ky'agamba nti Ekiseera kitono? Tetumanyi ky'agamba. 19Yesu n'ategeera nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti Mwebuuzaganya mwekka olw'ekyo kye mbagambye nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba, era nate walibaawo ekiseera kitono ne mundaba? 20Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku zammwe zirifuuka ssanyu. 21#Is 26:17Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi. 22#Is 66:14Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammwe girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu alibaggyako. 23#Yok 14:13; 14:20, 1 Yok 5:14, Mat 7:7, Mak 11:24Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange. 24#Yok 15:11Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.
25 # Yok 10:6 Ebyo mbibabuuliridde mu ngero: naye obudde bugenda okujja, mwe siryogerera nammwe mu ngero, naye ndibibabuulira ebya Kitange mu lwatu. 26Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange: so sibagamba nti ndibasabira eri Kitange; 27#Yok 14:21kubanga Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagadde nze, mukkirizza nga nnava eri Kitange. 28Nnava eri Kitange, ne njija mu nsi: nate ensi ngireka, ŋŋenda eri Kitange. 29#Yok 16:25Abayigirizwa be ne bamugamba nti Laba, kaakano oyogera lwatu, toyogera lugero. 30#Yok 2:25Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, so teweetaaga muntu yenna okukubuuza; kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda. 31Yesu n'abaddamu nti Kaakano mukkirizza? 32#Zek 13:7, Mat 26:31,45, Mak 14:27,50, Yok 8:29Laba, ekiseera kijja, era kituuse, mwe munaasaasaanira, buli muntu mu bibye, munandeka nze nzekka: so si nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange. 33#Yok 14:27, Bar 5:1, 1 Yok 5:4Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.

Currently Selected:

Yokaana 16: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in